TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Ba Kondakita abakyala battottodde embeera gye bakoleramu- Abasaabaze tutambula batuweeweeta

Ba Kondakita abakyala battottodde embeera gye bakoleramu- Abasaabaze tutambula batuweeweeta

By Musasi wa Bukedde

Added 21st January 2016

Ba Kondakita abakyala battottodde embeera gye bakoleramu- Abasaabaze tutambula batuweeweeta

Ko2 703x422

Asiimwe ng’ayita abasaabaze.

MAKINDYE, Luwafu, Gombolola, kkooti... omuntu bw’awulira ebigambo bino yeekanga ng’eddoboozi lya mukazi kuba omulimu guno bagumanyidde ku basajja.

Abakazi bongedde okuwamba omulimu guno baddereeza bwe babazudde nti beesimbu mu by’ensimbi, tebeesaasira ate bawulize. Nange nafunye omukisa ne nninya ku takisi eyabaddemu kondakita omukazi. Ono ye Anitah Namiiro akolera ku siteegi ya Bunnamwaya.

Twanyumizzaamu ebitono kubanga yabadde ku mulimu era nga kino kyampalirizza okuddayo ku siteegi gy’akolera twongere okuwayamu. Twanyumiza bwe tuti; Oluvannyuma lw’okutikkirwa mu ttendekero erimu nanoonya emirimu ne gibula.

Nadda awaka nabyo ne bintama era nasalawo okusaba taata anzikirize okukola naye nga kondakita. Yanzikiriza era kati nkakakkalabya. Mu kusooka nalowooza nti omulimu guno muzibu nnyo wabula kati naakamalamu omwaka gumu n’ekitundu.

nita amiiro ngaggala ekiggi Anita Namiiro ng’aggala ekiggi.

 KIKI EKISINDIKA ABAKAZI MU MIRIMU NGA GINO?

Jalia Namiiro akolera ku siteegi ya Salaama Munyonyo agamba nti omulimu guno tegutera kusala nnyo olw’ensonga nti nga kondakita tewali ky’oteekamu okuggyako obudde bwo, amaanyi wamu n’okuba omwesimbu eri bakama bo.

Agamba nti olunaku osobola okufi ssa 20,000/- . Ayongerako nti omulimu guno gwetaaga obwongo kubanga gulimu okubala ssente era nga kino buli mukyala ateekateeka okugwegattako alina okukyerinda.

Ssaalongo Bob avugira ku siteegi ya Kamwokya agamba nti ku mbeera eriwo kati mu ggwanga tekirina buzibu mwami kukola na mukyala we mu mulimu guno anti obufumbo kati bwafuuka bwa kuyambagana.

Agamba nti mu kiseera kino waliwo abawala abatunda ebibala n’ebokulya mu ppaaka abagattako obwakondakita obw’ekiseera. TUBAKUBISA MPISA N’OBWESIMBU Racheal Asimwe ng’ono akolera ku siteegi ya Makindye Luwafu era ng’omulimu guno agumazeemu omwaka gumu, annyonyola nti gye bujja abakazi bagenda kwongera okuwamba omulimu guno kubanga ba mazima, bampisa ate bayonjo.

ABASABAAZE BOOGEDDE

Micheal Ssewankambo, omutuuze w’e Lugoba agamba nti omulimu gw’obwakondakita gunyumira abaami noolwekyo abakyala bandyettanidde emirimu emirala olw’okuba nti omukyala yenna asuubirwa okuba n’obudde obutegekera abeewuwe kyokka ng’ate takisi ezisinga zinnyuka kiro.

Agamba nti kino kiyinza okubaviirako okufi irwa obufumbo bwabwe. Evelyne Nakigudde ow’e Kabuusu agamba nti bakondakita abakazi basingira wala abasajja kubanga tebatera kwereega na basaabaze, bawulize ate bayonjo. Mary Sserwadda ow’e Kibuye annyonyola nti omulimu guno abakyala gubalabisa ng’abayaaye era kizibu omuntu okukuwa ekitiibwa singa abeera akusiηηanye ku kiggi ky’emmotoka.

EBIZIBU BYE BASANGA

Ng’emirimu emirala gyonna, omulimu gw’obwakondakita gulimu okusoomoozebwa kwa maanyi olw’ebizibu ebitali bimu ebisissinkanibwa gamba ng’okuvumwa abasaabaze, abafuluma nga tebasasudde.

BYE WEETAAGA OKUMANYA NGA TONNEEGATTA KU MULIMU GUNO

Wadde ng’oyinza okutunuulira omulimu guno ng’ogwokusaaga,waliwo ebintu ebitono by’olina okubeera omwetegefu okukola nga kondakita era nga muno mwe muli;okusasula siteegi kwogenda okukolera nga, zino zibeera nsimbi ezitakka wansi wa 150,000/- era nga zisasulwa omulundi gumu wabula nga ssente zino zisinziira ku siteegi kw’oli ne paaka mw’ogenda okukolera.

Ssente zino zikuddizibwa mu kiseera ekya kazigizigi gamba ssinga obeera olwadde nga tosobola kukola oba ne ku naku enkulu.

Asiimwe annyonyola nti omukyala aneegatta ku mulimu guno alina okuba nga mwetegefu okukola awatali kwesaasira n’okwambula obulungi okwewala okwesittaza abasaabaze.

Ye Jackie Nassolo akolera ku siteegi ya Bweyogerere mu ppaaka enkadde. Mukyala mufumbo. Annyonyola nti amaze emyaka ebiri mu mulimu guno era nga tagufunyeemu buzibu wadde nga takola na bba.

 alia amiiro ngalinda emmotoka ye etikke akolera ku siteegi ya alaama unyonyo Jalia Namiiro ng’alinda emmotoka ye etikke, akolera ku siteegi ya Salaama Munyonyo.

 

Agamba nti kimusobozesa okutambuza famire ye n’emirimu kwe kuba nti ye yasalawo kukolera mu kibuga mwokka. Agamba abasajja be bakoleramu babawa ekitiibwa wadde abantu bangi babamanyi nti bakwanyi.

Agamba nti omulimu guno agukola agwagala kubanga gumusasaula bulungi. Aisha Kyomuhangi akolera ku siteegi ya Jomayi Nalumunye agamba nti omulimu guno tegumuwa buzibu era ng’afunira ddala ekiseera ekimala okuwummulira mu mmotoka.

Agamba bafuna okusomoozebwa nti abasabaaze bangi bagaala nnyo okubavuma, okubayisaamu amaaso, okubakwana ate n’obutaagala kusasula.

Agukoledde ebbanga lya mwaka gumu. Aba takisi bwe bongedde okwekengera bakondakita abasajja obutabeera beesimbu, kati abamu baasalawo kukola bokka. Bano bavuga takisi nga tebalina bakondakita emirimu gyombi ne bagyekwata nga bagamba nti baakoowa okubabala omufuulo oba okuyomba n’obugayaavu.

Abalala, bakondakita babakozesa misana naddala ku hhendo ennyimpimpi kuba babeera beetaaga ababayamba okuyita abasaabaze olw’engeri gye babeera ab’ekkekwa. Ku ηηendo ez’okumpi okuva mu Kampala, okugenda mu bifo okugeza nga Kabowa, Bweyogerere, Mpereerwe, Bwaise-Kawempe n’awalala, baddereeva ba takisi abamu tebabeera na bakondakita mu biseera by’oku makya ng’abantu bajja okukola n’olweggulo ngbannyuka kuba abasaabaze tebabeera baakunoonya nnyo.

Mu kutikka bakosesa abavubuka abayimirira ku siteegi be babawaayo 500/- oba 1,000/-. Abalala abatabeera na bakondakita be bakolera ku hhendo empanvu nga tekyetaagisa nnyo kugenda ng’otikka abasaabaze.

Wabula abasaabaze waliwo lwe beemulugunya ku takisi ezitaliimu bakondakita nga bagamba nti oluusi balwa mu kkubo olwa ddereeva okukola emirimu ebiri.

Jane Nalwoga asula e Kabowa agamba nti oluusi baddereeva babeera balina okuva ku siteeringi okujja ne baggulirawo abasaabaze abayingira n’abafuluma naddala ku nzigi eziriko ekikyamu oba ezikaluba mu kuggula.

Abalala babamalira ekiseera nga basolooza ssente naddala nga cengi waakunoonya. Embeera y’ebyenfuna bw’etabuse ensimbi n’efuuka ey’ekkekwa, baddereeva ne bannannyini mmotoka baagala nnyo bakondakita abeesimbu okulaba nga ssente tezibulankana era eno y’emu ku nsonga enkulu eyingizza abakazi mu bwakondakita olw’okumanya okukwata obulungi ssente. Abo abatalina bakondakita abeesimbu basalawo kuzivuga nga tezirina kondakita, ddereeva n’asobola okufi ssa akawera

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bobiwine 220x290

Babakutte n'emijoozi gy'abawagizi...

Eggulo abavubuka ba DP bakwatiddwa n’emijoozi egisoba mu 500 ne giyoolebwa okumpi ne ofiisi zaabwe nga kigambibwa...

Pala0 220x290

Boogedde ebikankana mu kuziika...

DR. David Mugimu eyafudde ng’alumiriza abaserikale okumunyagako obulindo bw’ensimbi, eggulo yaziikiddwa e Kagganda...

Occc 220x290

Abagagga 36 baggyiddwaako abaserikale...

ABAGAGGA mu bitundu bya Kampala, Wakiso, Mukono, n’awalala baggyidwaako abaserikale abaabaweebwa eyali akulira...

Nyimba 220x290

Balaze embalirira y’ensimbi z’emisinde...

KATIKKIRO Charles Peter Mayiga yeebazizza minisitule y’ebyobulamu olw’okukwata obulungi ebintu Obwakabaka bye bwagiwa...

Mknsamia4 220x290

Omubaka gwe yazaalamu omwana n'agaana...

Omubaka wa palamenti agaanye okuwa obuyambi omuwala gwe yaggya mu bbaala n’amuzaalamu omwana-yeekubidde enduulu...