TOP

Ensi efunze, kati ebibuga babizimba magombe

By Kizito Musoke

Added 21st January 2016

Ensi efunze, kati ebibuga babizimba magombe

Kib2 703x422

Agamu ku maduuka agasangibwa mu ttaka mu kibuga Montreal ekya Canada.

EKIBUGA Kampala kijjudde omugotteko gw’abantu n’amayumba. Kyokka buli omu awoza kimu ‘sijja kuva Kampala’ kuba we wali akasente akawera.

Embeera ne bw’ezibuwala etya osanga abantu nga beenyigiriza mu kifo ekifunda era ky’ova olaba ng’ebifo by’omujjuzo ebimanyiddwa nga ‘‘Ghetto’ bimeruka buli olukya okwetooloola Kampala n’emiriraano.

Amawanga agamu agaakula edda ekizibu kino bakisalidde amagezi. Batandise okuzimba ebibuga ebirala wansi mu ttaka nga bifaanana ebyo ebiri waggulu. Abasinga bakikola lwa nsonga za byakwerinda, embeera y’obudde, n’okufunda kw’ebifo.

Mu bibuga bino bateekayo amaduuka, ebifo ebisanyukirwamu, ofiisi era emiryango gigenda gigatta ku bizimbe ebirala. Ebibuga bino bisinze kwettanirwa ensi ezirimu obunnyogovu oba ebbugumu erisusse n’ezeekengera endala okuzirumba.

Eno emirimu gitambula ekiseera kyonna nga tebateganyiziddwa mu nkyukakyuka y’obudde. Mu bino mulimu:

MONTREAL’S RESO Bw’olambula ekibuga Montreal ekya Canada n’otatuuka ku kibuga kye baazimba mu ttaka obeera tolambudde.

Ekibuga kino kirambulibwa abantu emitwalo 25 buli lunaku era abantu babeera balwana okukituukamu. Ekitabo ekikuhhanyizibwamu ebyafaayo ekya Guiness Book of Records, kyogera ku kibuga Montreal’s RESO ng’ekibuga ky’omu ttaka ekisinga obunene mu nsi.

Kitudde ku ffuuti 3,999,869. Mu 2004, ekibuga kino baakikyusa erinnya ne bakyongerako erinnya lya RESO, eky’Olufalansa ekitegeeza omukutu. Kiwerako obuwanvu bwa kiromita 32. Kirimu ebizimbe ebisulwamu 60 wamu n’ebyobusuubuzi.

 kimu ku bibuga ebizimbibwa wansi mu ttaka mu ungereza Ekimu ku bibuga ebizimbibwa wansi mu ttaka mu Bungereza.

 

Ekibuga kino kyasooka kuzimbibwamu mikutu abantu mwe batambulira nga kyamalirizibwa mu 1962. Oluvannyuma emikutu emirala gyazimbibwa okwegatta ku kifo ekimanyiddwa nga Central Station. Abantu baatandika okuteekamu ebifo mwe booleseza.

Mu kiseera kino ekibuga kirina ebifo ebiwerako omuli: Place Bonaventure, Windsor Station, Les Cours Mount-Royal, Place Montreal Trust, The Eaton Centre, Place de la Cathedrale, Complexe Les Ailes de la Mode, the Stock Exchange Tower, World Trade Center n’ebirala. E

Ekibuga kino kyatandika n’okwegatta kw’ebizimbe ebiri waggulu ne wansi mu ttaka. Kino kyakolebwa bayinginiya abakugu. Wansi mu mikutu gino eminene baateekamu ebyuma ebisobozesa omuntu abeera aliyo okussa obulungi (air conditioned) wamu n’ekitangaala ekimala.

Kirimu amaduuka, wooteeri, ebifo by’ebyafaayo, banka, amasomero, oluguudo lw’eggaali y’omukka nga bino biri erudda n’erudda. Kuliko amakubo agasukka mu 100 agayingirayo. TORONTO’S PATH Guno omukutu gwazimbibwa mu Canada , nga guwerako obuwanvu bwa kiromita 30. Abantu emitwalo 20 be bagweyambisa buli lunaku.

Omukwesese guno guliko amaduuka n’ebirabo by’emmere era kyangu omuntu okuwangaalirayo mu bulamu obwa bulijjo nga talina ky’ajula. Omukwesese guno ogw’ekibuga guyungiddwa ku bizimbe ebiwanvu nga ku bino 18 ku 25 ebisinga obuwanvu mu kibuga Toronto bikwatagana n’omukwesese guno.

BEIJING EKYA CHINA

Kino ekibuga kyazimbibwa mu myaka gya 1970, mu kiseera omukulembeze wa China, Mao Zedong we yatiira nti eggwanga lya Soviet Union lyali lisobola okubakuba bbomu y’obutwa n’ebasaanyaawo. Ekibuga kino kiriko emiryango nga 90 kyokka nga gyakolebwa ng’amaduuka olw’ebyokwerinda.

Ekibuga kino kirimu ebirabo by’emmere, amasomero, ebifo ebisanyukirwamu, amakolero ne kalonda omulala. Kigambibwa nti kyazimbibwa abakozi emitwalo 30. Wakati wa 2000 ne 2008 kyaggulibwawo eri abantu bonna ng’ekyobulambuzi.

 Kyokka mu kiseera kino kyaggalwa nga Gavumenti egamba nti bakiddaabiriza. CENTRAL GOVERNMENT WAR HEADQUARTERS, UK Ekibuga kino baakizimba nga kya kyama mu kitundu kya Corshsm, Wiltshire mu Bungereza.

Kyazimbibwa Kkwiini wa Bungereza gye yali alina okuddukira mu 1950 ng’atidde Soviet Union eyali eyagala okubakuba bbomu. Omukwesese guno gwe baasima mu ttaka guwerako obuwanvu bwa kiromita emu, nga gusobola okubeeramu abantu 4,000.

Baali bakikoze ng’abantu abalala ab’obuvunaanyizibwa okuli Katikkiro wa Bungereza, baminisita, Olulyo Olulangira nga bonna basobola okubeerayo obulungi. Baayungayo emikutu gy’empuliziganya omuli

THE WIELICZKA SALT MINE, POLAND Kino kye kimu ku bifo ebikadde ebyasooka okusimwamu omunnyo nga balina ne lutikko nnamba.

Okusima omunnyo kwatandika mu kyasa kye 17 ne kukomekkerezebwa mu 2007. Mu kiseera kino mujjuddemu amasinzizo, ebisaawe omuzannyirwa emizannyo era abantu bangi abagendayo okukirambula n’okunoonyereza ku byafaayo by’ekifo kino.

LEAVENWORTH, KANSAS, USA Kino kye kimu ku bibuga Abamerika bye batayagala kwogerako nnyo. Kisangibwa wansi w’ekibuga Kansas Army Town. Emikwesese egyasimwa wansi mu ttaka gigatta ebizimbe ebiwerako mu kibuga.

Kigambibwa nti ekibuga kino kyazimbibwa okusobola okukweka abaddu ate abalala nti baali baagala kukwekayo mwenge gwe baakukusanga naddala okugutakkirizibwa n’ebyamagendo ebirala ne leediyo ya BBC, Katikkiro kw’alina okusinziira okwogerako era ensi. Kyokka nga bamaze okukizimba kyazuulibwa nti waliwo ebyokulwanyisa ebiyinza okukisaanyaawo era tebaakiyingira.

Kyasooka kukuumibwa nga kya kyama okutuuka mu 1981 lwe kyalagibwa eri abantu. Mu 2005, minisitule y’ebyokwe-rinda mu Bungereza yalangirira ng’ekibuga kino bwe kitundibwa era nga mu kiseera kino tekimanyiddwa kye kikozesebwa

DERINKUYU - TURKEY Kino ekibuga kiri mu Butuluuki, kiriko emyaliiro munaana nga kya buwanvu bwa mmita ezisukka 85 okukka mu ttaka. Ku ngulu kuliko emiryango 600 egikutuusa mu kibuga kino.

Omwaka gwe kyatandika okuzimbibwa tegumanyiddwa kyokka ng’ekitongole ekivunaanyizibwa ku by’obuwangwa e Butuluuki kiraga nti kyaliwo mu kyasa ky’omunaana. Kigambibwa nti empuku zino zeeyambisibwa Abakristaayo bwe baali badduka okuttibwa.

Mu kiseera kino kikozesebwa nga kyabulambuzi era abantu bangi bakyettanira ekyawalirizza abantu okuteekayo bizinensi ezitali zimu. KISH, IRAN Kino ekibuga kisangibwa mu kizinga, kyokka nga kyatuttumu nnyo, era kyazimbibwa emyaka nga 1000 emabega.

Kiriko ezimu ku bbiici ezisinga obulungi n’amaduuka amanene. Ekibuga kino ntabiro ya busuubuzi mu Iran kyokka n’abalambuzi bettanirayo nnyo n’okuliirayo ssente. COOBER PEDY, SOUTH AUSTRALIA Ekibuga kino kisangibwa mu Australia ng’abantu abasinga abakibeerako babeera mu mpuku.

Ebbugumu eribeera mu kitundu kino eriyitiridde, lyawaliriza abantu okutandika okubeera mu mpuku. Kyokka mu mpuku muno mulimu amasinzizo, amaduuka nga balinamu n’ekifo we baziika abantu. Empuku ezimu baazisima nga nnene nga zirimu n’ebisenge. Ekibuga kino abantu bakikozesa ng’eky’obulambuzi

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mm 220x290

Kkampuni zisaze omusolo ku ‘Mobilemoney...

KKAMPUNI z’amasimu zitandise okussa mu nkola etteeka ly’okukendeeza gwa ‘mobile money’ (Airtel money, Africel Money...

Monicangalagaobutungulubwatunda500webuse 220x290

Ekigwo ekimu tekyandobera kuddamu...

Omulimu gw'okufumba bwe gwanzigwako tekyandobera kutandika kulimira wafunda era kati nasituka dda sirina agoba....

Skull 220x290

Bamukutte n’akawanga

OMUSAJJA eyasangiddwa n’akawanga k’omufu gamumyuse. Abatuuze baamulinye akagere ne bamukwata n’ekisawo mwe yabadde...

Muhangi3 220x290

Muhangi akkirizza okusisinkana...

OMUGAGGA Charles Muhangi awadde abasuubuzi abakolera ku bizimbe bya Qualicel(Horizoni city) ne Nabukeera (Bazannya...

Zaina2webuse 220x290

Obwakondakita bwamponya ennaku...

Okukola obwakondakita nga ndi mukazi kinnyambye okulabirira abaana bange ate n'okuyiga bwe bakolagana n'abantu...