TOP

Ayiiridde mukazi we Asidi n'atwaliramu n'omwana

By Musasi wa Bukedde

Added 22nd January 2016

Aisha nkutaddemu azange nnyingi tojja ku njooga-Kaliisa

Ac2 703x422

Aisha ng'abwabadde afaanana ng'atannayirwa Acid

KALIISA nga tannayiira mukaziwe asidi yasoose kwewera nti: Aisha nkutaddemu ezange (ssente) nnyingi, sijja kujoogebwa basajja balala.

Okwewera okw’ekika ekyo amaze emyezi nga mukaaga ng’akukola era olumu yategeeza Aisha nti waakumukola Kakaire kye yakola Namanda.

Aisha yali amanyi bulungi Josephine Namanda kubanga baali bakolera mu kifo kimu ekya Container Village mu Kampala era y’omu ku bannyogoga ennyo ng’amawulire gasaasaanye nti Kassim Kakaire ayiiridde mukaziwe asidi era ekiyongobero kyasukka ng’ategedde nti Namanda afudde.

Kyokka wadde ensisi ya Namanda ebadde ekyamuwuumira mu matu, okwewera kwa bba teyasoose kukweraliikirira nnyo ng’alowooza nti yandiba ng’atiisatiisa tayinza kutuusa bulabe bunene ng’obwo ku mukazi gw’alinamu n’omwana! Aisha Kyomugisha ne Imran Kaliisa 30, babadde baakamala emyaka munaana nga bali bombi e Makindye mu Barracks Zooni gye babadde basula, wabula obufumbo bwabwe bubadde bwa mbirigo era balina omwana omu gwe baazaala mu 2008.

ASIDI ATWALIDDEMU N’OMWANA

Bw’otuuka ku Justine gy’ajjanjabirwa e Mulago amaziga gakuyitamu buyisi; akasusu ne bakazi banne ke babadde beegomba ng’abamu bamweyitira “Kabiri ka liiri”, konna Kaliisa yakasaanyizzaawo.

Amaaso agabadde galigita obuligisi mu kiwanga, asidi wa Kaliisa nago yagamazeewo. Zamu Nalumansi mukwano gwa Aisha yagambye nti waasoose kubaawo kulwanagana era omukazi ne yeesimattula ku Kaliisa n’addukira ewa Nalumansi kubanga ennyumba zaabwe ziriraanaganye.

Omwana waabwe Shamim Kemigisha 7, naye yagoberedde nnyina era Nalumansi n’abaggulira ne bayingira. Aisha yabadde yaakatandika okuttottolera Nalumansi ebiguddewo, Kaliisa n’ajja nga tasalikako musale. Yasoose kubuuza Aisha nti: Kati nnyabo onobedde wano we wali bazadde bo? Genda mu nnyumba oggyeyo ensawo y’engoye zo oddeyo ewammwe.

Aisha yafulumye agende akime ensawo era baatambuddeko ebigere bitono, Kaliisa kwe kubunduggula ekikopo kya asidi mu maaso ga mukaziwe. Mu kavuyo ako, n’omwana Shamim eyabadde atambulira emabega wa bazadde be, naye asidi yamusammukidde mu mugongo ng’agezaako okudduka addeyo ewa Nalumansi.

Nalumansi naye yadduse ajje adduukirire ng’awulidde Aisha alaajana nti, “Munnyambe Taata Shamim anjiiridde asidi” kyokka naye aside eyabadde akulukuta ng’ava mu maaso ga Aisha yamusammukidde ku bigere era naye kati ali ku bujjanjabi olw’ebisago era ajjanjabirwa Nsambya. Aisha ne muwalawe Shamim bajjanjabirwa Mulago.

 

ENGERI OBUTAKKAANYA GYE BUZZE BUKULA

Obutakwatagana buno aba famire y’omuwala baludde nga babukkakkanya era bagamba nti bwatandikira ku Kaliisa kuleka Aisha mu nnyumba ng’ate ali lubuto lukulu.

Kaliisa nti yali agenze Kigali mu Rwanda gye yali afunye omulimu era abadde ajjanga mu maka n’amalawo ennaku ntono n’addayo e Rwanda ate nga n’obuyambi olumu taweereza.

Kino kye kyawaliriza aba famire ya Aisha okwekolamu omulimu ne bayambako muwala waabwe n’atandika okusuubula engatto ku Container Village era nga Kaliisa abadde alumiriza nti omukazi takoma ku kusuubula byamaguzi wabula n’abasajja abasuubuliramu.

Kaliisa yagezaako okulemesa Aisha okukola ng’ayagala ekifo bakiteekemu omukozi okwewala abasajja be yali alumiriza abamutawaanya, wabula omukazi n’agaana ng’agamba nti talina basajja balala wabula ebbuba ly’eritawaanya Kaliisa. Omukazi abadde agaziyizza bizinensi ng’afunye n’emidaala gy’engatto emirala mu Park Yard ne St. Balikuddembe (Owino).

Kaliisa yatandika okulondoola Aisha n’afuna abamutegeeza nti ekiseera kye yamala ng’ali Kigali, mukaziwe yafunayo omusajja omulala era mu December w’omwaka oguwedde, Kaliisa kwe kusalawo akkalire mu Uganda era n’atandika okukolera mu Kikuubo.

Yassaawo amateeka awaka omuli omukazi obutayingiranga kiro wabula mu kiro ekyakeesezza Olwomukaaga nti omukazi yakomyewo buyise, olwo Kaliisa kwe kulumiriza nti ava mu basajja era olutalo ne lutandika.

Poliisi eteebereza nti Kaliisa aludde nga yeetegekera okuyiira Aisha asidi era nga yamugula n’amuteeka okumpi ne we basula kubanga kyamutwalidde akaseera katono nga baakalwana ne mukaziwe, okuleeta asidi mu kikopo n’amumuyiwa mu ‘feesi’.

Akulira okunoonyereza ku buzzi bw’emisango ku poliisi e Katwe Benon Ayebare yagambye nti bayigga Kaliisa kubanga bwe yamaze okuyiira Aisha asidi, n’abulawo.

Omusango guli ku fayiro CRB139/016. Nalumansi yasabye abanaalaba ku Kaliisa okutegeeza poliisi ebaliraanye kyokka n’asaba n’abalina obuyambi bakube ku ssimu 0700273587 bakolere wamu okutaasa obulamu bwa Aisha.

Edina Ayitamya muganda wa Aisha yagambye nti: Teyandibadde Kaliisa n’atukola kino! Tulabiridde mukaziwe n’omwana kubanga yabasuulamu nju emyaka mukaaga, ne tugumira okutujolonga n’okutuyisaamu amaaso nga tamuwa buyambi ate ne yeewaana nti y’amussaamu ssente; kyokka Katonda atalya nguzi agenda kumusasula.

Baasabye n’ebitongole ebinoonyereza ku buzzi bw’emisango okulondoola Kaliisa yonna gy’ali akwatibwe avunaanibwe, obwenkanya bubeewo

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ka1 220x290

Carol Nantongo bamukoledde akabaga...

Omuyimbi Carol Nantongo bamusuddeko akabaga k'amazaalibwa n'akaaba olw'essanyu.

Bak1 220x290

Omukazi afiiridde mu dduuka lye...

Omukazi afiiridde mu dduuka lye

Kab2 220x290

Museveni atongozza okugaba bbasalee...

Museveni atongozza okugaba bbasalee Bunyoro

Tum2 220x290

Bbanka enkulu emenyewo byebaayogera...

Bbanka enkulu emenyewo byebaayogera ku kuggala Banka

Rem2 220x290

Bawambye omuwala mu Kampala ne...

Bawambye omuwala mu Kampala ne bamutta