TOP

Buubuno obubadi obupya abayimbi bwe bakola ne balalula abadigize

By Josephat Sseguya

Added 22nd January 2016

Buubuno obubadi obupya abayimbi bwe bakola ne balalula abadigize

Kud2 703x422

Omuvubuka ng'anyiga Iren Ntale

OKUVUGANYA kweyongedde mu nsiike y’okuyimba olw’abaana abato okujja n’obubadi obufuukuula abadigize. Kino kitadde abayimbi b’oyinza okuyita abanene ku bunkenke nabo ne bongera okutetenkanya si kulwa ng’abaana babbako sho n’okubasuuza eggaati.

Kyokka obumu ku bubadi buno buwuddiisa abawagizi ne balowooza nti bye balaba ku siteegi bituufu ng’ate bapanga kuwa bantu baabwe ssanyu n’obutalowooza nti baweddemu kubanga ennyimba z’abamu ziringa luyimba lwa ggwanga nga bw’alukuba e Lukaya bw’aluyimba e Nateete ng’ate n’engoye z’ayambadde ze zimu.

Ate bwe bibeera ebivvulu ebinene kisukka kubanga abayimbi babeera mu kuvuganya okw’amaanyi nga buli omu ayagala okulaga amaanyi. Leero tukuleetedde abamu ku bayimbi n’obubadi bwe bakola.

Abawagizi abafuuwa ssente ne bazibaggyako Mulimu abawagizi abeefuula abakwatiddwaako omuyimbi by’akola ku siteegi.

Bajja ne bamufuuwa ssente ennyingi ne bakwasa abalala ekinyegenyege nabo ne balumba nga tebamanyi nti bano bali mu ddiiru. Kino kikolebwa nnyo mu lonki. Omuwagizi ayinza okutegeeza nga bw’awadde omuyimbi obukadde 2 kyokka nga mu mazima amuwadde 200,000/-.

 muvubuka ngakutte ku mmaali ya pice iana Omuvubuka ng’akutte ku ‘mmaali’ ya Spice Diana.

Abapanga abawagizi Abayimbi abanene naddala Chameleone, Bebe Cool ne Bobi Wine balina ebibinja by’abawagizi be batandikirako. Obungi bwabwe businziira ku bunene bw’ekifo n’obungi bw’abantu abaliyo.

Omulimu gw’abantu bano kubasoosowaza buli kadde nga ne bwe wabaawo ensobi ekoleddwa bo babeera bamuwaana oba okukuba emizira okumulaga nti y’asinga. Ye ne wabaawo amwogerako ekikyamu owulira bwe bamwambalira n’oluusi ehhuumi okunyooka. Buli ky’akola ku siteegi bakiwaana era atamanyi nti bali ku kabadi atenda muyimbi kwagalibwa.

Bano babagulira omwenge, ebyokulya era ebivvulu bayingirira bwereere. Enkola eno ne Ziza Bafana yagiyize. Yazze ku bbaala ya Amnesia n’ekibinja kya bawolole be abasukka mu 20 ne babagoba n’asoberwa. Baamukkirizzaako basatu ne yecanga ng’alaba enduulu yaabwe tejja kuvaayo. Abayimbi abasika abasajja bazine nabo ku mpaka Irene Ntale talemwa.

Bw’abakubira omuziki ne mugaana okukkiriza ng’asikayo omu ku basajja ng’azina naye. Ye bw’abatuukako nga banyweddemu, gubula asala. Ono yeewaayo okumukwata wonna w’oyagala okubasanyusa era bamwagala nnyo. Sheebah Karungi Ono si mwangu.

Ajja ku siteegi ng’akunamye ng’alinga ali mu kisenge kye n’atandika okwecanga n’okubakuba omuziki. Bw’aba tayambadde bukete engoye ze zibeerako siriiti empanvu ezikoma mu bisambi.

Kyokka bino tebigaana bantu kumuwagira naddala abagagga n’abakungu era yacamula nnyo Katikkiro Charles Peter Mayiga ku mukolo gwa Kabaka ng’aweza emyaka 60 mu Lubiri e Mmengo.

Bw’obeera ku bivvulu, owulira abasajja nga beeswanta okugenda okuzinako naye ku siteegi nga n’abamu bwe bakuba obufaananyi nti bw’ayambalidde bwatyo mu bantu, olwo bwe mubeera ababiri kirabika teyeekwatakwata.

Kino kimukuumiddeko abawagizi bangi era buli lw’alinnya ku siteegi bamukubira emizira. Abasooka okunywa ne bajja ku siteegi Wadde Daxx Kartel Musiraamu era ye Sulaiman, omwenge gw’asoosa mu buli ky’akola.

 heebah alungi ngali mu kiteeteeyi ekitangaala Sheebah Kalungi ng'ali mu kiteeteeyi ekitangaalaNg’oggyeko okuba n’oluyimba lwe olw’ebbaala olukwata ku mwenge, b’ayimba nabo mu luyimba olwo banywi.Naye kennyini, ajja n’endeku y’omwenge, eggiraasi ya walagi ng’olumu n’enywanto ne kkuleeti ya bbiya.

Bayimba banywa ng’ogumu bwe baguyiwa mu bawagizi. Bw’aba ayimba, afuukira ddala ng’omutamiivu mu by’akola ekimuyamba obutatya by’akola. Mu kivvulu ekimu yayodde omukazi ku siteegi n’amukuba ekigwo enduulu n’etta abantu. Kyokka n’abakazi babeera banyumirwa. Ziza Bafana yeerippa ku bubina bw’abakazi Ziza Bafana ne King Micheal be bamu ku bapanga abawala be bazina nabo.

Bwe bakuba omuziki ng’abantu tebacamuka nga babasikayo. Bakozesa abo abalina obubina obusagala era bagenda ne babunyeenya nga bali ku siteegi abamune balowooza nti munda tebataddemu buwale. Ye bwe babeerippako n’owulira enduulu. Abavubuka bano bamanyi n’okukutama okuwuliriza akabina engeri gye kavugamu nga keenyeenya.

Bino bicamula abasajja era bangi obalaba nga bakuba obufaananyi n’okweyogeza nti wamma abalina enku be balya ebiyidde. Ye ekyo ekyana n’enkikwatako n’ebirooto ebirala bingi.

Abapangira ku mazina Mesach Ssemakula amanyi okukuba emiziki abadigize ne bagaana okucamuka. Ky’akola asuulamu oluyimba lwa ‘Kannyimbire Omutanda’ n’ayita Ssekamatte ne battunka. Ogenda okulaba ng’abadigize bacamuse n’abamu ne balinnya siteegi okubeegattako okulaga kye balinawo.

Balina n’enkola y’okutunuza obubina mu bantu ne babunyenya n’owulira enduulu. Ono akkiriza abasajja okumuzannyirako Spice Diana naye muyimbi muto azze n’amaanyi mu by’obubadi. Ono bw’alinnya ku siteegi, akkiriza abasajja okumuzannyirako nga bamukwata we baagala.

Era abavubuka bwe bawulira nga bamulanze mu kivvulu, bayingira beesunga era batuula kumpi ne siteegi okufuna ku ssanyu. Basindana mu kunyeenya obubina Mu Golden, mulimu abayimbi abalina endoddo z’obubina.

Bano balina enkola y’okulinnya ku siteegi ne bakikinaza obubina ne basindana mu kuzina. Oluusi bayita abawagizi ne basindana okulabako asinga. Kino kitera kukolebwa Catherine Kusaasira ne Stecia Mayanja.

Empaka zino zinyumira abawagizi ne bakuba enduulu okulondako asinze okukankanya ekintu. Chris Evans ne Lutalo bazina n’abakazi Abayimbi Chris Evans ne David Lutalo kizibu okulinnya ku siteegi ne wabulawo omukazi abalumba ku siteegi bazine.

 bakazi ba olden and utiibwa ku kkono antume usaasira ne tecia nga banyeenya obubina Abakazi ba Golden Band, Mutiibwa (ku kkono), Nantume, Kusaasira ne Stecia nga banyeenya obubina.

 Kino kibeerawo mu buli kivvulu ekireetera n’abamu okulowooza nti abakazi bano babeera bapange. Weewaawo waliwo abamu abakyekolera kyokka mulimu abawagizi b’osanga e Kavumba nga bazina n’omuyimbi ate n’obalaba n’e Makindye ne weewuunya.

Natty Nathan akozesa maanyi Ono ye yayimba ‘Bakuwe ky’onywa’. Akamu ku bubadi obumutunze kukozesa maanyi ku bawala b’alumba mu bawagizi n’azina nabo ng’abakwatirira n’okubawanika mu bbanga.

Mu kumansula Abasinga bamanyi Sheebah naye waliwo abalala nga Mina Iza, Minayo, Hellen Lukoma. Bano abawagizi baabwe bava ku bye bayimba ne badda mu kwetegereza bye bambadde.

Mayinja akuba enduulu n’okuleekaana Ono alinnya ku siteegi oluusi abadigize ne bamukubira emizira. Alaba tebamuka bulungi, alina enkola y’okuleekaana n’okunyenya okugulu okumu. Bw’ava awo n’azina kalipuso era ogenda okulaba ng’abantu bamukubira enduuluOBUBADI

BWATANDIKA DDI?

Chameleone, Bebe Cool ne Bobi Wine oyinza okuboogerako ng’abaaleeta obubadi buno mu 2003. Chameleone ye yatandika enkola y’okubuuka n’agwa mu bantu n’okulinnya siteegi. Wabula ennaku zino n’abayimbi abalala nga Gravity Omutujju, Big Eye n’abalala babikola.

Bebe ne Bobi beeyambula Chamilli bwe yafuna Dorotia, Bebe ne Bobi baakuba oluyimba lwa ‘Funtula’ nga bamulumba okwagala omukazi omukadde.

Bwe baakola ekivvulu e Lugogo, beeyambula amasaati ne balaga ‘pajama’ abamu ze baayita empale z’abakazi ne bacamula abawagizi baabwe. Mu 2003, era Bebe Cool yalinnya ku mmeeza ya Nnaabagereka e Munyonyo mu mpaka za PAM Awards.

Mu kiseera kino abayimbi abakazi we baatandikira n’obubadi bw’okulinnya ku siteegi nga tebambadde buwale bwa munda basobole okukankanya obulungi obubina, okusika abawagizi. Ennaku zino abayimbi abasajja nga Coco Finger bamanyi okweyambulamu engoye ne basigala mu pajama ne bakubira abadigize emiziki.

Kino kicamula abamu ate abalala ne banyiiga nga bagamba nti abasajja tebanyuma nga beeyambudde.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

3f74e568a3684a1eac5d6d555644365318 220x290

Magufuli alagidde abaddukanya ekidyeri...

OMUWENDO gw’abantu abaafiiridde mu kidyeri mu nnyanja Nnalubaale gwongedde okulinnya! Pulezidenti wa Tanzania John...

Sevo 220x290

Ab'e Rubirizi basabye Museveni...

ABAKULEMBEZE b’omu disitulikiti y’e Rubiriizi basabye Pulezidenti Museveni okukoma ku bajaasi ba UPDF okukendeeza...

Budgetkasaijaweb 220x290

Bawera kusimbira kkuuli enteekateeka...

ABABAKA ku kakiiko ka palamenti akavunaanyizibwa ku byobulimi bawera kusimbira kkuuli enteekateeka z’okuyisa embalirira...

Kola 220x290

Mukolerere obukadde bwammwe - Minisita...

MINISITA omubeezi ow’ebyenguudo Gen. Edward Katumba Wamala akubirizza abantu okukolerera obukadde bwabwe nga bakyalina...

42312484102150760182472974931861717081653248n 220x290

Bobi Wine eby’okutulugunya abantu...

BOBI Wine ne banne eby’okubatulugunya babitutte mu kibiina ky’amawanga amagatte (UN ), era boongedde okukungaanya...