TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Aba ‘Ghetto’ basomeseddwa engeri y’okweggya mu bwavu

Aba ‘Ghetto’ basomeseddwa engeri y’okweggya mu bwavu

By Musasi wa Bukedde

Added 24th January 2016

Bino byayogeddwa Farouk Mujumba owa Njumba Group of Companies ne Njumba Foundation.

Sima 703x422

Mujumba ng’aliko by’annyonnyola Col. Kulyigye ku ddyo.

ABAVUBUKA ba Ghetto basabiddwa okuyiga emirimu gy’omutwe bwe baba baagala okwegobako obwavu.

Bino byayogeddwa Farouk Mujumba owa Njumba Group of Companies ne Njumba Foundation.

Ekivvulu kino kyagendereddwaamu okutema empenda abavubuka mwe basobola okuyita okweyimirizaawo nga bakola emirimu gy’omu mutwe omuli okukola obugya bw’oku nguudo (Peeva), okuyiga okukanika, okukola amataala, okuzannya akapiira n’ebirala.

Mujumba yategeezezza Col. Felix Kulayigye, nti mu kifo kya poliisi okukwata abavubuka obwakireereese n’ebatwala e Luzira, waakiri ebatwale mu matendekero agasomesa emirimu gy’omu mutwe kibayambe okukyusa embeera m’okukendeeza obumenyi bw’amateeka.

Mu kiseera kino Mujumba aliko abavubuka abasoba mu 10000 abeegattira mu kibiina kya Njumba Foundation b’akutte ku mukono ng’abayigiriza emirimu gy’omu mutwe.

Col. Kulayigye eyakiikiridde omuduumizi w’amagye Gen. Katumba Wamala yagambye nti Mujumba ky’akoze eky’okuggya abavubuka mu bumenyi bw’amateeka beenyigire mu kusoma emirimu gino kirungi era Gavumenti neetegefu okumukwatirako.

Omugagga Kirumira yategeezezza abavubuka nga naye bwe yakulira ku nguudo wabula okweekiririzaamu n’obumalirivu bibayamba okuva mu mbeera embi.

Oluvannyuma Mujumba yalambuzza Col. Kulayigye n’omugagga Kirumira ebimu ku bintu abavubuka bye bayize omwabadde okusiba yingini, okukola ebitaala by’oku nguudo, amadirisa n’enzigi.

Abayimbi ab’enjawulo okuli Bobi Wine, Ronald Mayinja, Aziz Azion, Ambassador Ssali, Kalangi ne Mugema nabo baabaddeyo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Grav 220x290

Mujje mbalage ekitone ly’okuyimba...

Oluvannyuma lw’emyezi ebiri ng’ali mu kutendekebwa okwa kasammeme n'okugoggola eddoboozi, Gravity Omutujju ayise...

Uni 220x290

BUKEDDE W’OLWOKUNA AKULEETEDDE...

Bobi Wine olusimbudde okuva mu Amerika, abawagizi be ne batandikirawo okujeemera poliisi. Amagye gakutte owa Flying...

Banyarwanda2 220x290

Abanyarwanda basabye Kabaka ettaka,...

ABANYARWANDA ababeera mu Uganda basabye Kabaka asiime abawe ettaka Ssekabaka Muteesa II lyeyali abawadde e Kibuye...

Fortunessentamu2 220x290

Abagwira 6 bakuvuganya ne Bannayuganda...

Laawundi y'empaka za ddigi eyoomukaaga ku kalenda ya Uganda yakwetabwaamu abagwira 6.

Courtgavelscales1024683 220x290

Kkooti zonna zaakujjukira Benedicto...

Mu 1972 abajaasi ba Amin baalumba Benedicto Kiwanuka mu ofiisi ye ku Kkooti Enkulu ne bamuwalawala mu kifo ekitaategeerekeka...