TOP
  • Home
  • Amawulire
  • ‘Frank Gashumba twamuwa ssente n’atatutwala bweru’

‘Frank Gashumba twamuwa ssente n’atatutwala bweru’

By Lawrence Kitatta

Added 26th January 2016

Frank Businge, Dorah Mwenyango ne Arisen Turingimana babeera Ntebe era bagamba bati: Twasasula ssente eziri wakati wa doola 900 ne 1,000 mu kkampuni ya Sarafina Skills Services esangibwa ku kizimbe kya Energy Center ku mwaliiro ogwokubiri mu kisenge F10 ku Market Street mu Kampala.

Twala1 703x422

Mwenyango agamba Gashumba (ku kkono) yamuggyako obukadde bubiri n’emitwalo 70.

ABAVUVUKA bavuddeyo ne balumiriza Frank Gashumba okubaggyako obutitimbe bwa ssente ng’ayita mu kkampuni ye etwala abantu mu mawanga g’ebweru okukola, kyokka n’atabatwala.

Frank Businge, Dorah Mwenyango ne Arisen Turingimana babeera Ntebe era bagamba bati: Twasasula ssente eziri wakati wa doola 900 ne 1,000 mu kkampuni ya Sarafina Skills Services esangibwa ku kizimbe kya Energy Center ku mwaliiro ogwokubiri mu kisenge F10 ku Market Street mu Kampala.

TUMANYA TUTYA GASHUMBA?

Businge agamba, “Mu 2013 ku yunivasite y’e Nkumba kwaliko omuvubuka Deos Ntaganda ng’olumu yeeyita Tatya muto wa Frank Gashumba.

 usinge baakamuddiza emitwalo 50 Businge baakamuddiza emitwalo 50.

 

Ono yali mukwano gwaffe newakubadde nga ye yali akyasoma. Twawulirizanga nnyo Gashumba ku leediyo era nga buli lw’abaako tetuseguka.

Waliwo ekifo we twakuhhaaniranga abavubuka okuwuliriza omukulu ono ng’ali ku leediyo.

Ntaganda yatugamba nti baaba we yali atwala abantu e Bulaaya okubafunira emirimu.

Abavubaka abawerako twali tumaze okusoma naye nga tetulina mirimu era twatandika okwekubira amasimu nga tubuulira ne ku bannaffe abataaliwo. Era nze nnakubira abawerako, olw’okukkiririza ennyo mu musajja ono.

Ntaganda yatukulembera n’atuleeta ku Sarafina. Bwe twatuukawo twasisinkanawo abakyala babiri Veronica Kemirembe akulira kkampuni eno ne Grace Tuhaire akola ng’omuwandiisi.

Baatubuulira emirimu egyaliwo n’amawanga gye batwala abantu nga kuliko United Arab Emirates e Dubai ne Abu Dhabi ne mu ggwanga lya Quarter wabula ng’okwewandiisa osasula emitwalo 10 nga tebannaba kukuggyako kirala kyonna.

E Ntebe twavaayo abantu mukaaga era twasasula bwe tuti; Moses Mukasa 2,700,000/-, Yakub Ssenveewo 2,700,000/-, Dorah Mwenyango 2,500,000/-, Arisen Twiringiyimana 2,700,000/-, Businge 2,700,000/-, Remmy Nassaka yali asasudde doola 1,000 wabula nga twasangawo n’abalala.

Okusasula ssente zino kwaliwo wakati wa nga April 8, 2015 ne May 2015. Baatutegeeza nti tusitula nga May 31, 2015.

 wiringiyiremana yatunda edduuka lye okufuna ssente Twiringiyiremana yatunda edduuka lye okufuna ssente.

 

Nga wabulayo wiiki bbiri, baatulagira okugenda mu kiriniki e Wandegeya ne batuggyako omusaayi nga tumanyi buli kimu kiwedde kuba baali bamaze n’okutukakasa nti Viza weeziri era nga batusuubizza omusaala oguli wakati wa doola 1,200 ne 1,500 buli mwezi.

Naye olunaku bwe lwatuuka twakanda kulinda nga tewali kye tulaba. Oluvannyuma lw’akabanga Kemirembe yatukubira essimu n’atuyita ku ofiisi ne batutegeeza nti twongerayo doola 100 buli omu.

Nga June 5, 2015 baddamu ne batuyita ne batuwa endagaano nga batugambye nti baali bafunye kkampuni etutwala e Dubai.

Kontulakiti kwe twassa emikono ng’eraga tugenda kukolera kkampuni ya Algamra Group of Companies nga buli wiiki tusasulwa doola 500, omwezi ze doola 2,000 ne batugamba tubaweemu omwezi.

Nga June gunaatera okuggwaako, Kemirembe yagenda e Dubai n’amalayo wiiki bbiri, kyokka aba akyali eyo Gashumba yali ku leediyo emu n’ategeeza nga bw’atakyatwala bantu bweru kukola.

Abamu ku ffe beecanga baddizibwe ssente zaabwe era abamu nga Moses Mukasa, Nassaka, Twiringiyimana nange Businge baatuddizaako ebitundu wabula nga tusimbye kaggo.

Ekyasinze okunnuma, ku Lwokutaano nga January 22, 2016 maama wange yakubidde Gashumba essimu n’amuboggolera nga bw’amubuuza lwaki akeera okumubanja ssente z’atamuwangako.

GASHUMBA AYANUKUDDE

Frank Gashumba Bukedde bwe yamubuuzizza ku nsonga zino yategeezezza nti kituufu kkampuni eno eya Sarafina Skills Services ye yagitandika wabula mu kiseera kino mwannyina Veronica Kemirembe y’agiddukanya.

“Byonna ebyaliwo okuggya ssente ku bavubuka abo byakolebwa sirina kye mmanyi. Era nze ndayira nga ntya Katonda nali ku leediyo ne njogera nti sikyatwala bantu Bulaaya kukola olw’okutulugunya abaana abatwalibwayo n’okutulimba nti babawa emirimu emirungi.

Ensonga z’abaana abo nze nnazitegedde wiiki bbiri eziyise era omuvubuka omu Businge mwannyinaze yamusasuddeko emitwalo 50 nga n’endala agenda kuzimuwa.”

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Grav 220x290

Mujje mbalage ekitone ly’okuyimba...

Oluvannyuma lw’emyezi ebiri ng’ali mu kutendekebwa okwa kasammeme n'okugoggola eddoboozi, Gravity Omutujju ayise...

Uni 220x290

BUKEDDE W’OLWOKUNA AKULEETEDDE...

Bobi Wine olusimbudde okuva mu Amerika, abawagizi be ne batandikirawo okujeemera poliisi. Amagye gakutte owa Flying...

Banyarwanda2 220x290

Abanyarwanda basabye Kabaka ettaka,...

ABANYARWANDA ababeera mu Uganda basabye Kabaka asiime abawe ettaka Ssekabaka Muteesa II lyeyali abawadde e Kibuye...

Fortunessentamu2 220x290

Abagwira 6 bakuvuganya ne Bannayuganda...

Laawundi y'empaka za ddigi eyoomukaaga ku kalenda ya Uganda yakwetabwaamu abagwira 6.

Courtgavelscales1024683 220x290

Kkooti zonna zaakujjukira Benedicto...

Mu 1972 abajaasi ba Amin baalumba Benedicto Kiwanuka mu ofiisi ye ku Kkooti Enkulu ne bamuwalawala mu kifo ekitaategeerekeka...