TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Gen. Kayihura akoze enkyukakyuka mu Poliisi: Arinaitwe eyafuuyira Besigye kaamulari agudde mu bintu

Gen. Kayihura akoze enkyukakyuka mu Poliisi: Arinaitwe eyafuuyira Besigye kaamulari agudde mu bintu

By Eria Luyimbazi

Added 3rd February 2016

Abalala abakyusiddwa ye ASP Gilbert Arinaitwe Bwana, aggyiddwa mu ofiisi ekola ku mbeera z’aba poliisi n'asindikibwa mu kitongole kya poliisi ekikessi ( Crime Intelligence).

20148largeimg225aug2014121946973703422 703x422

Gilbert Arinaitwe Bwana bwe yafuuyira Besigye kaamulari n'amuwalaawala

OMUDUUMUZI wa poliisi mu ggwanga, Gen Kale Kayihura akoze enkyukakyuka mu basirikale 31 okuva mu ofiisi ezimu n'abasindika mu ndala gye balina okukakkalabiza emirimu gyabwe..

Amyuka omwogezi wa poliisi mu ggwanga, Polly Namaye yagambye nti abasirikale abakyusiddwa  n’okuweebwa ofiisi ez’enjawulo beebo ababadde baakava mu mirimu emitongole ebweru w’eggwanga ate abalala babadde bamalirizza okutendekebwa mu 'kkoosi' ez’enjawulo.

Yagambye nti mu nkyukakyuka zino, abasirikale abamu basindikiddwa mu kitongole kyayo eky’enyonyi okukisobozesa okukola obulungi  oluvannyuma lw'okufuna nnamunkanga endala.

Yategeezezza nti mu nkyakakyuka zino, SP Ibin Ssenkumbi, eyaliko omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emirirwano ng'ono abadde yaakava e Somalia asindikiddwa okubeera omwogezi wa poliisi mu kitundu kya Greater Masaka.

SP Vincent Ssekate naye abadde yaakava mu ggwanga lya Sudan nga yaliko omumyuka w'omwogezi wa poliisi mu ggwanga afuuliddwa omwogezi wa poliisi mu kitundu kya Rwizi ( Mbarara)  SP Samson Lubega aziddwaayo okubeera omwogezi w’ekitundu kya Kiira ate ASP Lydia Tumushabe n'afuulibwa omwogezi wa poliisi mu bitundu bya Rwenzori East ne West.

Abalala abakyusiddwa ye ASP Gilbert Arinaitwe Bwana, aggyiddwa mu ofiisi ekola ku mbeera z’aba poliisi n'asindikibwa mu kitongole kya poliisi ekikessi ( Crime Intelligence).

Arinaitwe ajjukirwako okwasa mmotoka ya Dr. Kizza Besigye endabirwamu ku nkulungo y'e Mulago n’amufuuliramu omukka gwa ttiyaggaasi oluvannyuma n'amuggyamu  n'amuteeka ku kabangali .

Ate SP Jamada Wandera yasindikiddwa Kumi nga DPC,  SP Charles Mugisha ne SP Simon Acidia, SP Joseph Kihamba yasindikiddwa mu Field Force Unit (FFU) , ASP Christopher Ssonko abadde akulira poliisi y’ebidduka e Mukono atwaliddwa okukulira ofiisi y'emu mu kitundu kya Rwenzori East, ASP Moses Diba yasindikiddwa mu kitongole ekivunaanyizibwa ku kutendeka abasirikale, ASP Teresa Awelo yasindikiddwa ku kitebe kya CID.

ASP Bob Matsanga yasindikiddwa Kumi nga OC Station , ASP  Lucy Auma yasindikiddwa mu ofiisi ekola ku nsonga z’abakyala mu poliisi , ASP Bruno Tumwesigye yasindikiddwa mu Intepol,  ASP Mable Suburo yasindikiddwa mu kitundu kya SIPI ng'avunaanyizibwa ku bikozesebwa ,  ASP Innocent Mubangizi yasindikiddwa mu kitindu kya SIPI, ASP Paul Katamba
Ssemakula yasindikiddwa  Kapchorwa nga OC Station, Kairindori Kamugira yasindikiddwa Kween  OC Station .

C/ASP Chrisistom Busingye  ne Richard Nuwandinda basindikiddwa okukolera mu kitngole kya poliisi ekivunaanyizibwa ku nnyonyi.

Mu ngeri eyenjawulo, Gen Kayihura yasazeewo okulonda abamyuka b'aboogezi ba Poliisi mu bitundu ebyenjawulo nga mu Kampala n’emirirwano yasindiseeyo C/ASP John Paul Kangave , C/ASP Soweali  Kamulya  yasindikiddwa Bukedi,  C/ASP Norbert Ochom  yasindikiddwa Great Masaka , C/ASP James Mubi  yasindikiddwa Busoga East  C/ASP Julius Hakiza yasindikiddwa mu kitundu kya Albertine  ne Michael Kasadha n'asindikibwa mu kitundu kya Busoga North.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Isco 220x290

Isco agenda ku 'kiso'

Abakungu ba Real Madrid baategeezezza nti abasawo beekebezze Isco, ne basanga ng'alina okulongoosebwa mu bwangu...

Mic3webuse1 220x290

Bayiiyizza sigiri eneetaasa obutonde...

Obutonde bw'ensi busaanyiziddwaawo abantu mu kwokya amanda, okutema enku n'ebirala ng'obwetaavu bw'okuyiiya ebintu...

Butwa2 220x290

Babateze obutwa mu busera, omu...

EKIKANGABWA kigudde ku kyalo Katuulo mu ggombolola y'e Kyazanga mu disitulikiti y'e Lwengo omuntu atanamanyika...

Nakiwala 220x290

Nakiwala avuddeyo ku mwana omubaka...

Minisita Nakiwala Kiyingi waakukaka omubaka Onyango okulabirira omwana gwe yasuulawo.

Kambale1 220x290

KCCA etandika ne Soana, Villa ne...

Okusinziira ku nsengeka ya liigi eno eyafulumiziddwa Bernard Bainamani agikulira eggulo, bakyamipiyoni ba sizoni...