TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Abateekateeka okutabula okulonda kaakubajjuutuka - Museveni

Abateekateeka okutabula okulonda kaakubajjuutuka - Museveni

By Dickson Kulumba

Added 5th February 2016

“Muwagire okunywezebwa kw’ensawo zino wadde zibaddemu ensimbi ntono obuwumbi 170 nga kwetuggye n'eziyambye abayizi b’e Makerere okukola emmotoka eyo Kiira n’olwekyo tugenda kuzigaziya okutuuka ku buwumbi 500 okusobozesa ebiti ebyo ebyogeddwaako okuggyamu ssente, okukola emirimu gy’enkulaakulana.”

Sika1 703x422

PULEZIDENTI Yoweri Museveni asinzidde mu lukiiko lwa bannamawulire lw'atuuzizza mu maka ge e Rwakitura n'asabaBannayuganda bawagire enteekateeka ye ey’okunyweza ensawo z’okwekulaakulanya ttaano okuli; NAADS, Abavubuka, Abakyala, SACCO ne Ssayansi kubanga bigenda kutumbuka enkulaakulana.

Museveni yagambye nti;

“Muwagire okunywezebwa kw’ensawo zino wadde zibaddemu ensimbi ntono obuwumbi 170 nga kwetuggye n'eziyambye abayizi b’e Makerere okukola emmotoka eyo Kiira n’olwekyo tugenda kuzigaziya okutuuka ku buwumbi 500 okusobozesa ebiti ebyo ebyogeddwaako okuggyamu ssente, okukola emirimu gy’enkulaakulana.”

Olukung'ana luno lwetabiddwaamu n’abakulembeze ba NRM mu kitundu ky’e Masaka era Museveni n'agamba nti mu lutalo lw’okugoba obwavu mu bantu ayagala amaka obukadde okubeera n’obusobozi bw'okulima yiika emu n’okusoba mu birime okuli emmwanyi, ensuku, amajaani n’ebirime ebirala.

Ku nsonga y’obutebenkevu mu ggwanga ng’okulonda kunaatera, Pulezidenti yagambye tewali asobola kunyeenya Uganda era okutiisatiisa kuno n'akuteeka ku banne abamuvuganya, abatiisa abantu baleme kugenda mu kulonda kubanga bamanyi nti agenda kubawangulira waggulu.

Yasubiza okwongera okutumbula enkulaakulana mu kitundu ky’e Masaka okuli okwongera okukola enguudo n’obunyisa amasanyalaze nagamba nti “ Tugenda kukola enguudo ennene okuli Villa Maria- Sembabule.-Lugomba, Ntuusi-  Kyakasa- Kasambya- Lusalira lwetoloole ludde e Mubende.”

Enguudo endala ze yeeyamye okukola kuliko olw’e Bukakata, lwe yategeezezza nti UNRA etandise okunoonya kkampuni enaalukola olwo evvuunike ly’okulukuba kolaasi likolebwe mu May 2016, Mbirizi- Mateete- Sembabule, Bukuya, Kasanda- Myanzi, Rakai- Kiziba.

Museveni yawadde amagezi abategeka enkung'aana ze okuteekanga abakyala abalina abaana mu maaso okwewala okuzifiiramu olw’abantu abangi abazibeerako era n'asasira abazadde b’abaana ababiri abaafiridde mu lukung'ana lw'e e Kiziba mu Disitulikiti y’e Rakai.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kakozaemmotokazeazilabiriraokusikirizabakasitomawebuse 220x290

Mmotoka enkadde mwe nkola ssente...

Wazir Kakooza alaga lwaki omuntu yeetaaga kuyiiya kyokka okukola ssente mu kifo ky'okunoonya emirimu.

Miss 220x290

Abavuganya mu mpaka za Miss Uganda...

Abawala 22 abavuganya mu mpaka za Miss Uganda battunse mu mpaka z'okwolesa talanta

Eyeclinicwebuse 220x290

Kw'olabira amaaso ageetaaga okujjanjabwa...

Kebeza amaaso go buli mwaka okutangira obuzibu okusajjuka ssinga gabeera malwadde

Img20190718132844webuse 220x290

Abakyala mukole ebiraamo okutangira...

Abakyala muve mu kwezza emabega mukole ebiraamo okuwonya abaana bammwe okubbibwa n'obutafuna mu ntuuyo zammwe

Bala3 220x290

Abaabadde ne Prince Omar ng'akwata...

OMUYIMBI amanyiddwa nga Prince Omar bwe yabadde akola vidiyo ye abaamuwerekeddeko baalidde emichomo gyennyama kw'ossa...