TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Abasirikale ba Poliisi abaakuziddwa bambaziddwa nnyota zaabwe

Abasirikale ba Poliisi abaakuziddwa bambaziddwa nnyota zaabwe

By Eria Luyimbazi

Added 6th February 2016

Abasirikale ba Poliisi abaakuziddwa bambaziddwa nnyota zaabwe

Ka2 703x422

Gen Kayihura ng'ayambaza omusirikale wa Poliisi

OMUDUUMUZI wa poliisi mu ggwanga Gen Kale Kayihura asabye abasirikale abalina obuvuunanyizibwa ku bantu abalina okulinnyisibwa amadaala baleme ku balemesa kufuna nnyota kibayambe okweyagalira ku mulimu gwabwe.
 
 
Bino Kayihura yabyogeredde ku mukolo ogw’okwambaza amayinja abapoliisi amabadaala agawagulu abakuziddwa enyota zaabwe ku kitebe kya poliisi e Naguru nagamba  aba poliisi abakozi baleme kutuulibwako  wabula basembebwe basobole olinyusibwa amadaala bafune embavu ezeyongera okukola.
 
“ Tulinyisizza abasirikale amayinja okuva kugebabaddeko naye nkimanyi nti waliwo abalekeddwa  era ensonga yaabwe egenda kukolebwako era waliwo abankubidde amasimu nga b'emulugunya  nga wano w’ensabira abalina okuwereza amanya agasemba ab’okulinyisa amadaala obutatuula kwabo abakozi” Kayihura bwe yategeezezza.
 
Yagambye nti enkola eyitibwamu ensangi zino okulinnyisa eddaala omusirikale yenna alina okubeera nga akola bulungi emirimu gye , taliko nziro yonna ssaako n’okufuna okutendekebwa   n’okulaga obukulembeze obulungi.
 
Yategeezezza nti  abakuziddwa kyavudde ku busobozi bwaabwe era n'abalagira obutatuula mu ofiisi bagende bakole emirimu ate nga abalala okubakuza kyadiridde okukulira ofiisi wabula nga amadaala kwebali galiwansi ne ofiisi mwebali.
 
Mu ngeri yeemu Kayihura yalagidde abasirikale okusitukiramu okulwanyisa obubinja obugambibwa nti butereddwawo b’annabyabufuzi  nti bwakukuuma bululu ng’agamba nti obubinja buno bugedereddwamu kutabula by’akulonda.
 
Yagambye nti waliwo obubinja omuli Power 10 ne kifeesi obwetagisa okulwanyisa mu bunambiro kuba mu bikwekweeto ebikoleddwa esobodde okukwatayi bamemba baabwo 6o nga basindikibwa ku alimanda  

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lab12 220x290

Okulonda kwa Ssentebe wa NRM e...

Okulonda kwa Ssentebe wa NRM e Mityna kuzzeemu kigoye wezinge

Gwe1 220x290

Taata bamuwadde emitwalo 30 n'awaayo...

Taata bamuwadde emitwalo 30 n'awaayo omwana we ew'omusamize bamusadaake

Nkumba2jpgweb 220x290

Abadde ayingira mu ofiisi z'ebizimba...

Allan Nkumba omutuuze w'e Kabowa mu Sserwadda zooni ye yakwatiddwa poliisi ya CPS ku Lwokusatu oluvannyuma lw’okugenda...

Sjpgweb 220x290

Eyanfunira omulimu mufiirako

Nze Innocent Katusiime 29, mbeera Nakawa. Buli lwe ndowooza ku ngeri gye nnasisinkanamu maama w’omwana wange essuubi...

Nsamba22pulaaniusewebuse 220x290

Mukuume obumu musobole okwekulaakulanya...

Ab'ekika ky'Engabi beetaaga obukadde 13o okuzimba ekiggwa kyabwe