TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Pulezidenti Museveni akubirizza abantu okwewala akawuka ka siriimu

Pulezidenti Museveni akubirizza abantu okwewala akawuka ka siriimu

By Muwanga Kakooza

Added 6th February 2016

Pulezidenti Museveni akubirizza abantu okwewala akawuka ka siriimu

Pap2 703x422

Pulezidenti Museveni ng'ayogerera mu kusaba e Munyonyo

AKULIRA kkampuni ya  Vision Group efulumya ne Bukedde Mw. Robert Kabushenga akwasizza Klezia ensimbi akawumbi kamu n’obukadde 340 kkampuni ze yakung’anya ng’eggwanga lyetegekera okukyala kwa Paapa Francis.  

Ensimbi Kabushenga yazikwasizza Ssabasumba w’esaza ekkulu e Kampala Cyprian Kizito Lwanga mu kusaba okw’okwebaza olw’okukyala kwa Paapa okwabadde ku kiggwa ky’omujjulizi Andereya Kaggwa e Munyonyo okwetabiddwako ne Pulezidenti Museveni.

Pulezidenti Museveni yagambye nti ne gavumenti yawaayo ensimbi ezisoba mu buwumbi 80 okutegeka emikolo gy’okukyala kwa Paapa.  

Yagambye nti gavumenti yagula ettaka lya Klezia erisangibwa okumpi n’ekisaawe e Ntebe ku buwumbi 32 era n’ewa ne Klezia ensimbi endala obukadde 36 kwe yagatta n’endala obuwumbi busatu ze yawa Abapolositante e Nakiyanja okukola ku kukyala kuno.

 ‘’Ndi musanyufu kuba gavumenti yammwe yasobola okukola ku kukyala kwa Paapa era okujja kwe kituyamba ng’eggwanga okwongera okuleeta abalambuzi’’ Museveni bwe yagambye.            

Yakubirizza abantu okukola ennyo baggaggawaze amaka, gaabwe kiyamba abantu okuba obulungi  n’okutumbula emirimu gya Klezia n’okuwa gavumenti emisolo.

Era n’akunga abantu okwewala okufuna Siriimu n’okuwanyisa ettamiiro. ‘’ N’olaba omuntu ng’amatama gazimbye nga yenna ayengedde ng’eryenvu.Okunywa omwenge ssi kirungi’’ Museveni eyabadde ne mukazi Janet Museveni bwe yagmbye.

Ssabasumba Cyprian Kizito  Lwanga yebazizza gavumenti olw’okuwa abantu emirembe n’asaba n’abakiriza okugikuuma mu maka.

Ku nsonga z’okutunda sapule, Ssabasumba yagambye nti Klezia tetunda mukisa n’agamba nti kino kyakolebwa ng’akabonero k’okujjukira okukyala kwa Paapa n’asaba ababadde bawalampa Klezia bakikomye. Yavumiridde aboboona erinnya lya Klezia n’agamba bakikomye kuba ebyogerwa ssi bituufu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lib2 220x290

Ab'omukago gwa IPOD bateekateeka...

Ab'omukago gwa IPOD bateekateeka kutwala ssabawolereza wa Gavumenti mu kkooti

Web 220x290

Nnaalongo akubye omwana wa muggya...

OMUKAZI atuze omwana wa muggya we n’amutta poliisi n’emutaasa ku batuuze nga baagala kumugajambula.

Kit2 220x290

Kitatta bamuggye e Makindye n'atwalibwa...

Kitatta bamuggye e Makindye n'atwalibwa e Luzira

Hip2 220x290

Olunaku lw'okuyonja akamwa lukuziddwa...

Olunaku lw'okuyonja akamwa lukuziddwa e Kayunga

Gat2 220x290

Abagambibwa okutigomya Matugga...

Abagambibwa okutigomya Matugga Poliisi ebakutte