TOP

'Abawala mukomye okwanika amabeere mu bantu'

By Musasi wa Bukedde

Added 8th February 2016

Abawala bangi bwe batuuka mu Yunivasite n’amatendekero amalala beeyisa nga bwe balaba ne baanika amabeere mu bantu n’okwambala ebimpi ne baswaza amasomero gye baayita n’eddiini yaabwe.

Twala1 703x422

Leilah Kayondo ne Hellen Lukoma nga balya obulamu. EKIF: MOSES NSUBUGA

Abaana abawala naddala abasomedde mu masomero agalimu eddiini bakubiriziddwa okwewala ennyambala eyanika amabeere ebweru n’okwambala obugoye obumpi kuba emibiri gyabwe ye yeekaalu ya Katonda.

Abawala bangi bwe batuuka mu Yunivasite n’amatendekero amalala beeyisa nga bwe balaba ne baanika amabeere mu bantu n’okwambala ebimpi ne baswaza amasomero gye baayita n’eddiini yaabwe.

Bino byayogeddwa Rev. Canon Augustine Musiwuufu okuva e Namirembe bwe yabadde Buloba akulembedde okusaba okwebaza Katonda olw’abayizi ba Buloba High School abaayitidde waggulu n’agamba nti okutya Katonda n’okwewala emize nga bagenze mu matendekero aga waggulu kijja kubayamba okwanguyirwa obulamu.

Yabakuutidde abayizi okwewala okunywa enjaga, okutamiira n’okukoppa emize kuba kiyinza okwonoona obuwanguzi bwe batuuseeko.

Omukulu w’essomero, Simon Patrick Kimbowa yategeezezza abazadde nti mu bigezo bya S4, abayizi 71 baayitidde mu ddaala erisooka era nti abayizi abataano abaasinze baaweereddwa basale mu Higher.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

A1 220x290

Ekyabadde mu ntujjo ya ‘Floral...

Ekyabadde mu ntujjo ya ‘Floral & Cocktail Party’ e Munyonyo ebyana gye byalagidde emisono n’emibiri nga bwe balya...

Afrigo 220x290

Lutalo ekintu akyekwatiddemu

OMUYIMBI w’ennyimba za laavu, David Lutalo (ku ddyo) kirabika akooye bapulomoota okumulyako ssente.

Tege 220x290

Kyokka mwana ggwe Lydia Jazmine!...

MWANAMUWALA Lydia Jazmine abamu gwe bayita muninkini wa gundi yamalayo. Akola bimusanyusa nga tafuddeyo ku bantu...

Kuba 220x290

Eyagaba abalongo bange yantamya...

NZE Charles Adwor, mbeera Mukono. Nasisinkana munnange mu 2014 nga nkyabeera e Jinja. Ebiseera ebyo nalina omulimu...

Melon1 220x290

Weyune enkola ya kontulakiti ofunemu...

OKUKOLA kontulakiti n’omuguzi y’emu ku ngeri omulimi n’omulunzi mw’asobola okuyita okufuna akatale k’ebintu bye...