TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Gen. David Sejusa akomezeddwaawo mu kkooti y'amagye: Ayagala kweyimirirwa

Gen. David Sejusa akomezeddwaawo mu kkooti y'amagye: Ayagala kweyimirirwa

By Musasi wa Bukedde

Added 9th February 2016

Ebyokwerinda binywezeddwa ku kkooti y'amagye e Makindye nga kkooti yeetegekera okuddamu okuwulira omusango gw'eyali omukwanaganya w'ebitongole ebikessi mu ggwanga, Gen. David Sejusa.

Davidsejusa 703x422

Gen. David Sejusa

Ebyokwerinda binywezeddwa ku kkooti y'amagye e Makindye nga kkooti yeetegekera okuddamu okuwulira omusango gw'eyali omukwanaganya w'ebitongole ebikessi mu ggwanga, Gen. David Sejusa.

Gen. Sejusa ayagala kweyimirirwa ave mu kkomera e Luzira gy'amaze wiiki nnamba oluvannyuma lw'okuggulibwako emisango mukaaga (okuli) wiiki nnamba oluvannyuma lw'okuvunaanibwa emisango mukaaga n'aggalirwa okuli;

1. Okwebulankanya ku mulimu nga taweereddwa lukusa. Kigambibwa nti guno yaguzza nga April 30 2015 bwe yali akiikirira amagye mu Palamenti. Sejusa yasaba sipiika wa palamenti Rebecca Kadaga oluwummula lwa wiiki 3 kyokka teyadda waddeokuweereza ensonga emugaanyi.

2. Okwenyigira mu nkuhhaana z’ebibiina by’ebyobufuzi. Emisango gino gibadde esatu; nga November 2, 2015 Sejjusa yatuula mu lwa DP ku ofiisi zaayo ku Luwum Street ne yeeyaama okuwa aba DP obuyambi bwonna bwe baneetaaga.

3. Nga November 4, 2015, Dr. Kizza Besigye lwe yasunsulwamu akakiiko k’ebyokulonda, Sejusa yagenda mu lukuhhaana lwe e Nakivubo n’amusuubiza n’abawagizi be nti ajja kumuwagira.

4. Okugenda ku kitebe ky’ekibiina kya Justice Forum (JEEMA) n’akunga abantu. 5. Okweyisa mu ngeri ekontana n’ebiragiro n’empisa by’amagye bwe yagenda ku mpewo za CBS ku Bulange mu pulogulamu etandika ku ssaawa 1:00 ey’akawungeezi n’akubaganya ebirowoozo. 6. Okujeemera ebiragiro by’omuduumizi wa UPDF, Gen. Katumba Wamala nga July 25, 2015, bwe yamugaana okugenda e Kabale ne Arua mu nkuh− haana z’ebyobufuzi. Sejusa yagambye nti talina ky’ayogera ku misango gino kubanga akyalina omusango gwe gwe yawaaba mu kkooti enkulu, olwo oludda oluwaabi ne luwa Omulamuzi amagezi awandiike nti Sejusa takkirizza misango.

- See more at: http://www.bukedde.co.ug/bukedde/ag%E2%80%99eggwanga/1416151/ensi-eno-museveni-ansibidde-mu-kaduukulu-amin-mwe-yansibira-sejusa#sthash.IkzK7rGO.dpuf

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Fot2 220x290

Omucuula guyamba ku lubuto olwesibye...

Omucuula guyamba ku lubuto olwesibye

Kab3 220x290

Owoolubuto weekwate ekiyondo okutereeza...

Owoolubuto weekwate ekiyondo okutereeza emmeeme

Gat2 220x290

Abayizi n’abaana nabo basobola...

Abayizi n’abaana nabo basobola okulumirirwa abalala mu kisiibo

Wab2 220x290

Nja kufiira ku babba eddagala -...

Nja kufiira ku babba eddagala - Ssentebe

Fut2 220x290

Omusawo bamukutte kufera bantu...

Omusawo bamukutte kufera bantu