TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Akubye omwana we akakumbi n'amutta lwa bba kumogobaganya awaka!

Akubye omwana we akakumbi n'amutta lwa bba kumogobaganya awaka!

By Paddy Bukenya

Added 9th February 2016

Ono kigambibwa nti oluvannyuma lw'okutta omwana omulambo agututte mu kitanda n'agubikka olwo n'assaako kakokola tondekannyuma.

Bba 703x422

Nabulya ng'ali ku poliisi. EKIF: PADDY BUKENYA

OMUKAZI afunye obutakkaanya ne bba obusungu n'abumalira ku mwana waabwe ow'emyaka ebiri n'amukuba akakumbi mu kyenyi n'amutta.

Ono kigambibwa nti oluvannyuma lw'okutta omwana  omulambo agututte mu kitanda n'agubikka olwo n'assaako kakokola tondekannyuma.

Faustina Nabulya, omutuuze w'e Nama mu muluka gw'e Luvumbula mu ggombolola y'e Kiringente mu disitulikiti y'e Mpigi yakkakkanye ku mwana we Phionah Nabakaabya, gwe yakeera enkya n'azaala n'amukuba akakumbi mu kyenyi n'amutta.

Taata w'omugenzi John Nkologi ategeezezza nti omwana we amusanze mu buliri nga mufu wa jjo kwe kuddukira ku poliisi y'e Nakirebe nayo etandikiddewo omuyiggo Nabulya (nnyina) era ne bamukwata.

Nabulya abadde mu maziga annyonnyodde poliisi nti okutta omwana we gw'abadde alina yekka kyavudde ku bba Nkologi abadde asusse okumuliisa akakanja ng’amukuba n'okumugobaganya awaka.

"Okutta omwana Nkologi yasoose kungoba waka nange ne mbulwa gye ndaga n'omwana," Nabulya bwe yategeezezza Poliisi. 

Akulira ebyokwerinda mu muluka gw'e Luvumbula ye yakwatirizza Nabulya ng'adduka n'amukwata nga tamanyi gubadde, wabula bwe yalabye amameeme gamukuba n'asalawo okumutwala ku poliisi y'e Nakirebe gye baakizuulidde oluvannyuma nti yabadde amaze okutta omwana we era ne bamuggalira.

Akulira okunoonyereza ku buzzi bw'emisango ku poliisi y'e Nakirebe, David Kazibwe agambye nti Nabulya yakkiriza ogw'okutta omwana n'agamba nti yabadde asobeddwa eka ne mu kibira!

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Det2 220x290

Famire ekyasattira olwa ssemaka...

Famire ekyasattira olwa ssemaka okubula

Lip2 220x290

Bakutte abadde alimba abantu okubatwala...

Bakutte abadde alimba abantu okubatwala ku kyeyo

Sab 220x290

adde abba ATM ku bantu akwatiddwa...

adde abba ATM ku bantu akwatiddwa

Fut2 220x290

Akulira kkampuni etwala abantu...

Akulira kkampuni etwala abantu ku kyeyo akwatiddwa lwa kufera

Set1 220x290

Omuyambi wa Museveni bamuloopye...

Omuyambi wa Museveni bamuloopye