TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Abakazi abakola bizinensi entono Gavt. ebawadde obuwumbi 53

Abakazi abakola bizinensi entono Gavt. ebawadde obuwumbi 53

By Muwanga Kakooza

Added 10th February 2016

Ssente zino ezissiddwawo mu pulogulaamu emanyiddwa nga ‘’ Uganda Women Entrepreseurship Programme(UWEP) ’’ zigenda kubaweebwa okumala emyaka esatu egy’omuddiringanywa nga buli mwaka bajeti essibwamu obuwumbi 53 okutandika n’omwaka guno, okusinziira ku Katikkiro Dr. Ruhankana Rugunda.

Rugunda1 703x422

Rugunda ng'ayogera mu lukung'ana lwa bannamawulire. Ku kkono ye mumyuka w'akulira Media Centre Maj. Shaban Bantaliza. EKIF: MUWANGA KAKOOZA

ABAKAZI abali mu busuubuzi n’abaagala okutandikawo bizinensi  balidde! Gavumenti ebateereddewo ettu lya buwumbi 53 ez’okwewola okussa mu bizinensi  nga si za kusabwako magoba.

Ssente zino ezissiddwawo mu pulogulaamu emanyiddwa nga ‘’ Uganda Women Entrepreseurship Programme(UWEP) ’’ zigenda kubaweebwa okumala emyaka esatu egy’omuddiringanywa  nga buli mwaka bajeti essibwamu obuwumbi 53 okutandika n’omwaka guno, okusinziira ku Katikkiro Dr. Ruhankana Rugunda.

Dr. Rugunda bino yabitegeezezza bannamawulire ku ‘Media Centre’ mu Kampala gye yabadde ne Minisita w’ebyemirimu Kamanda Batalingaya n’abakungu ba Minisitule y’ekikula ky’abantu abalala.

Rugunda yagambye nti  abakazi abagenda okufuna ssente zino bali wakati w’emyaka 18-65 kyokka balina okwekolamu ebibiina by’abantu abali wakati wa 10 ne 15.

‘’ Abakazi tebasaanye kutya ssente zino kuba ssi za kussibwako bukwakkulizo bwa kuwaayo misingo nga ebyapa by’ettaka n’ebirala. Ekibiina kye kigenda okukola ng’omusingo era omuntu ajja kuzeewolanga bw’akozesa emirimu bw’amala ng’azizzaayo n’abalala nga bazeewola,’’ Rugunda bwe yagambye.

Rugunda yagambye nti olukiiko lw baminisita lwayisizza ensimbi zino. Zigenda kuyamba abakazi okutandikawo bizinensi , okubayamba okutunda bye bakola era zitandika mu July w’omwaka guno 2016.

Yagambye nti azisuubira okwongera okutumbula eby’obuggagga mu maka n'agamba nti abakazi abasussizza emyaka 65 bagenda kuteerwawo enkola ey’enjawulo ku y'abavubuka.

Disitulikiti za Uganda zonna omuli ne Kampala zigenda kufuna ku ssente z’abakazi zino era ssente zigenda kuyitira mu bitongole bya gavumenti okutuuka ku bantu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lip2 220x290

Abawala Abakristaayo babalaze ebinaabayamba...

Abawala Abakristaayo babalaze ebinaabayamba okuwangula

Deb2 220x290

Ow’Abasodokisi annyonnyodde ku...

Ow’Abasodokisi annyonnyodde ku ky’ebifaananyi Ekisiibo lwe kitandika

Fut2 220x290

Gavt. w’etuuse mu kuleeta obwenkanya...

Gavt. w’etuuse mu kuleeta obwenkanya mu minisitule n’ebitongole byayo

Tip2 220x290

ssebuggwawo alonze olukiiko lw’ettaka...

ssebuggwawo alonze olukiiko lw’ettaka ne kkooti ya LC III

Hop2 220x290

Ettaka ly’e Kiruddu litabudde Mmengo...

Ettaka ly’e Kiruddu litabudde Mmengo n’Omulangira