TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Museveni alabudde abatiisatiisa abawagizi ba NRM : "Abanaakwatibwa mujja kukyejjusa"

Museveni alabudde abatiisatiisa abawagizi ba NRM : "Abanaakwatibwa mujja kukyejjusa"

By Muwanga Kakooza

Added 16th February 2016

Museveni era azzeemu okulabula abatiisatiisa abawagizi be bajja kukyejjusa . ‘’Akabwa akasiru kaboggolera enjovu,’’ Museveni bw’alabudde. Agambye nti abayigganya abawagizi be abamu babatomera ne bodaboda n’okubakolako ebikolwa ebirala kyokka bajja kukijjamu enjawulo nga bakwatiddwa.

Kololo00 703x422

Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni ng'ayogerera mu lukung'aana lwe olufundikidde kampeyini mu kisaawe e Kololo

PULEZIDENTI Museveni agaanyi poliisi okuddamu okuyoola abantu mu bikwekweto by’obwa kirereese ebyakazibwako erya ‘’ayido’’.

Museveni era asuubizza okuzimbira abasuubuzi mu Kampala ebizimbe eby’ebbeeyi entono bawone bannyini bizimbe ababanyunyunta n’okubasaba ssente z’obupangisa mu ddoola, n'asuubiza n’okwongera okuzimba obutale okusenguliramu abatembeeyi abaagobwa ku nguudo.

Museveni abyogeredde ku lukung’ana lwe olusembyeyo e Kololo  mu Kampala  ng’akuba kampeyini mw’akungidde abantu okulonda : ‘’Omusajja omukulu ow’enkofiira (Museveni)  n’abantu abakutte bendera ya NRM.

"Bwe mumala okulonda temuvaawo akalulu mukakuume okutuusa lwe banaakabala mumanye ebivuddemu,’’ Museveni bwe yagambye ebbiina ly'abawagizi ba NRM mu kisaawe e Kololo.

Museveni era azzeemu okulabula abatiisatiisa abawagizi be bajja kukyejjusa .

‘’Akabwa akasiru kaboggolera enjovu,’’ Museveni bw’alabudde. Agambye nti abayigganya abawagizi be abamu babatomera ne bodaboda n’okubakolako ebikolwa ebirala kyokka bajja kukijjamu enjawulo nga bakwatiddwa.

Yalabudde abalya ssente za gavumenti be yayise emmese n’agamba agenda kuleeta obukodyo obubakwata . N’agamba nti Jennifer Musisi abadde akoze nnyo okulwanyisa ‘’emmese’’ naye eddagala ly'akozesa kkambwe nnyo lyetaaga okujungulumuuko.

Abamu ku babbi bano anokoddeyo abalya ssente z’amalwaliro ne gatasobola kuyamba bulungi bantu ba bulijjo.

Asuubizza okubunyisa amazzi ga ttaapu ebbeeyi esobole okukendeera wamu n’okwogera ne bannyini bizimbe baleme kusaba nnyo bantu ssente za kaabuyonjo.

Asuubizza okuzimba obutale e Kasubi, n’ebitundu ebirala kiyambe abasuubuzi okufuna we bakolera.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Baby 220x290

Eyanzaalamu n'annemya emisomo anneefuulidde...

NZE Judith Kyampiire 22, mbeera mu Good Hope Makerere Kavule mu Munisipaali y’e Kawempe.

Ssenga1 220x290

Maze omwaka mulamba sirwala

NNINA emyaka 27 naye maze omwaka gumu nga sirwala era sifuna lubuto. Osobola okunfunira ku ddagala ne ntandika...

Ronaldo 220x290

Ronaldo yandikomawo ku mupiira...

Ronaldo okutuula ogwa Young Boys olwo akomewo ku gwa ManU.

Pavon 220x290

Arsenal etandise enteeseganya ne...

Pavon yazannyira Argentina mu World cup mu June omutindo gwe ne gucamula ttiimu nnyingi.

Twala 220x290

Engeri omusuubuzi w’ewa Kisekka...

ABAZIGU abeebijambiya balondodde omusuubuzi ow’amaanyi ne bamutemula. Bamuttidde ku ggeeti y’amaka ge nga yeggulira...