TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Felix Kaweesi akomezeddwaawo mu Kampala akulire eby'okulonda n'aweeebwa ebiragiro ebikakali

Felix Kaweesi akomezeddwaawo mu Kampala akulire eby'okulonda n'aweeebwa ebiragiro ebikakali

By Joseph Mutebi

Added 17th February 2016

Mu kulaba ng’abaserikale be tebakola nsobi, Kayihura eggwanga alyawuddemu ebitundu 10 mu buli kimu n’asindikayo musajja we enkwatangabo ku biragiro bye bimu bye yawadde Kaweesi eby’okulaba nga Bannayuganda bayita mu kulonda nga tewali buzibu bwonna.

Kaweesi1 703x422

Felix Kaweesi ng’annyonnyola bannamuwulire. EKIF: JOSEPH MUTEBI

MU kaweefube w’okulaba ng’ekibuga Kampala kitebenkera mu biseera by’okulonda, omuduumizi wa poliisi mu ggwanga, Gen. Kale Kayihura akomezzaawo Andrew Felix Kaweesi ku buduumizi bwa Kampala n’emiriraano.

Mu kulaba ng’abaserikale be tebakola nsobi, Kayihura eggwanga alyawuddemu ebitundu 10 mu buli kimu n’asindikayo musajja we enkwatangabo ku biragiro bye bimu bye yawadde Kaweesi eby’okulaba nga Bannayuganda bayita mu kulonda nga tewali buzibu bwonna.

Kaweesi aweereddwa ebiragiro ebikakali bisatu okuli;

1 Buli muserikale mu Kampala n’emiriraano talina kukola kintu kyonna nga tamwebuuzizzaako. Boofiisa bonna mu Kampala buli alina ky’ayagala okukola alina kumala kumwebuuzaako.

2 Okuwa boofiisa abali mu kitundu kye ebiragiro ebinaayamba poliisi okuyita mu mbeera etaaleke nga waliwo omuntu anyigiriziddwa.

3 Alina okulaba nga buli kigenda mu maaso akimutegeeza (Kayihura) mu bwangu ne basalawo eky’okukola.

Abalala be bawadde obuvunaanyizibwa bwe bumu kuliko; Grace Turyagumanawe (Mbale), Asuman Mugenyi (masekkati ga Buganda omuli Luweero Masaka ne Mityana), Benson Oyo Nyeko (Arua ne Moyo), Edward Ochom (Gulu ne Kitgum), Andrew Sorowen (Karamoja), Ahammed Wafuba (Teso ne Soroti), Lemi Tunomugisha (Busoga omuli Jinja , Kamuli Iganga n’ebirala), Haji Moses Balimwoyo (Fort Portal, Mubende ne Kasese), ne Henry Tuhakirwa (Ankole omuli Mbarara).

Mu kiseera kye kimu poliisi efulumizza amateeka agagenda okugobererwa abapoliisi mu bifo by’okulonda.

Okulaba nga beeyisa bulungi mu bifo mwe basindikiddwa okukuuma, okubeera n’obutabo ne kamera okuwandiika ebigenda mu maaso mu bifo bino kubanga bigenda ng’obujulizi mu kkooti singa wabaawo agenda mu kkooti.

Okuwa bakama baabwe amawulire mu bitundu bye balimu mu budde okusinziira ku kiba kigenda mu maaso.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Liv1 220x290

Ssente za Pulezidenti zitabudde...

Ssente za Pulezidenti zitabudde aba taxi b’e Kamwokya.

Jip1 220x290

Ekyabadde mu kutuuza Bisopu w'Abasodokisi...

Ekyabadde mu kutuuza Bisopu w'Abasodokisi e Gulu

Mot2 220x290

Muganda wa Ssemwanga naye bamukutte...

Muganda wa Ssemwanga naye bamukutte ku by’okufera ssente

Pak2 220x290

Mike Mutebi ne Misagga bandibonerezebwa...

Mike Mutebi ne Misagga bandibonerezebwa

Web2 220x290

Ne mu kusoomoozebwa tewava ku Katonda...

Ne mu kusoomoozebwa tewava ku Katonda