TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Amateeka 19 g’oyinza okumenya olwaleero agajja okukusibya

Amateeka 19 g’oyinza okumenya olwaleero agajja okukusibya

By Edward Sserinnya

Added 18th February 2016

Wabula waliwo amateeka g’okulonda g’oyinza okuba nga tomanyi, agayinza okukusiba enkalu n’omalira ne mu kkomera ssinga teweegendereza.

Yaga1 703x422

Omulonzi ng’asuula akalulu ke. Ffenna tulonde okuggumiza demokulaasi mu ggwanga.

LEERO nga February 18 lwe tulonda Pulezidenti n’ababaka ba Palamenti. Okulonda kusuubirwa okutandika ku ssaawa 1:00 ey’oku makya kukomekkerezebwe ku ssaawa 10:00 ez’olweggulo.

Wabula waliwo amateeka g’okulonda g’oyinza okuba nga tomanyi, agayinza okukusiba enkalu n’omalira ne mu kkomera ssinga teweegendereza.

Kikulu okumanya amateeka agafuga ekifo ekironderwamu. Gano ge gamu ku mateeka n’ebibonerezo nga bwe birambikiddwa mu mateeka g’okulonda Pulezidenti n’ababaka ba Palamenti;

1. Omuntu yenna eyeesimbyewo ku bwapulezidenti asobola okuvaamu ekiseera kyonna, kino akikola mu buwandiike eri akakiiko k’ebyokulonda n’ateekako omukono. Ssinga obukonge bw’akalulu buba bwafuluma dda, omuntu n’avaamu ggwe agolola ku kifaananyi kye ako akalulu tekabalwa.

2. Eyeesimbyewo talina kukozesa lulimi lukuma mu bantu muliro oba olutiisatiisa, oba ebigambo ebisiga obukyayi. Ssinga gumusinga awa engassi ya 2,400,000/- oba okusibwa emyaka etaano oba byombi.

3. Omuntu yenna azuulibwa ng’alina pokopoko gw’asaasaanya n’ekigendererwa ky’okusiiga enziro abantu baleme okulonda eyeesimbyewo yenna ng’akozesa ebigambo, obuyimba oba obuwandiike. Kino ayinza okukikola ng’ayita mu ddiini, ekikula, eggwanga n’ebirala aba azzizza omusango, atanga 1,440,000/- oba okusibwa emyaka esatu oba byombi.

4. Okutegeka n’okutendeka obubinja okutabula okulonda n’eddembe ly’abalala okubalemesa okulonda n’okuleetawo embeera y’obunkenke, n’okulowoozezza omulonzi bw’aba agenda okulonda nti obulamu bwe buli mu matigga, bw’okwatibwa osibwa emyaka esatu oba okutanzibwa 1,440,000/- oba byombi. Okugeza ssinga otiisa omuntu nti ssinga ogenda n’olonda ojja kutuusibwako obulabe manya ekyo kye kibonerezo ekikulindiridde.

Olunaku lw’okulonda

5. Ekifo omulonderwa kirina kuba nga kyetadde okugeza ng’ekisaawe, ssinga kiba kisoboka kulina okubaako emiryango ebiri - oguyingiza n’ogufulumya abantu nga bamaze okulonda. Walina okuba nga wanguyiza abalina obulemu n’abakadde okutuukawo.
Mu kifo kino omulonzi tolina kuyingira na kintu kyonna gamba ng’akasawo, kuba oyinza okukakozesa okubba obululu.

6. Ssinga essaawa z’okulonda ziggwaako ne ziwera ssaawa 10:00 ez’olweggulo, abantu abali ku layini bokka be bakkirizibwa okusuula akalulu, ajja ng’essaawa zino ziyiseeko takkirizibwa kugenda ku nnyiriri kulonda.

7. Okulonda kwa kyama, tewali muntu yenna alina kulaba muntu gw’olonda ne bw’aba omu ku balondesa naye takkirizibwa kukulingiriza ng’olonda. Ssinga okwatibwa ng’olingiriza omuntu okulaba gw’alonda oba ozzizza omusango, osasula engassi ya 480,000/- , okusibwa omwaka gumu oba byombi.

Omuntu amaze okulonda olina okuva mu kifo awalonderwa n’okyesuula waakiri mita 20. Abalonzi balina okukola layini emu. Wabula abakyala ab’embuto, abalwadde, abalina obulemu n’abakadde ennyo bano bayisibwawo mangu ne balonda ne bagenda.

Okozesa ekkalaamu oba ekinkumu, ng’omaze okulonda balina okukuteekako bwino, omuntu atalina mikono basobola okuteeka ku kifo ekirala eky’omubiri okulaga nti amaze okulonda.

8. Tolina kulonda wadde okugezaako okulonda emirundi egisukka mu gumu, bw’otuuka ku nnyiriri balina okukukebera engalo zonna okukakasa nti tonnalondera mu kifo kyonna. Ssinga obaako n’engeri gy’olemesa oba okubuzaabuza n’ekigendererwa ky’okwagala okulonda emirundi ebiri, ne gukusinga osibwa emyezi mukaaga oba okuwa engassi ya 240,000/- oba byombi.

9. Omuntu talina kulondera mu kifo erinnya lye we litali, ssinga akola olukujjukujju n’alondera mu kifo ekyo oba okubaawo engeri akola ku by’okulonda gy’amuyisaawo ogwo guba musango, osibwa omwaka gumu, okusasula 480,000/- oba byombi.

10. Omuntu ssinga abaako olukujjukujju lw’akola n’alondera mu linnya eritali lirye ng’awaayo ebiwandiiko ebitali bituufu, avunaanibwa. Bwe gukusinga osibwa omwaka gumu oba okuwa engassi ya 480,000/- oba byombi.

Omuzibe, ataasoma oba omukadde ennyo asobola okuyambibwako owa famire ye ng’alonda ssinga ye kennyini asaba obuyambi buno. Oba okuyambibwako omuntu aba aliwo abalondesa gwe baba balabye ne bakkiriza oba ye gwe yeerondedde. Kyokka omuntu alina okuyambako omulundi gumu gwokka, takkirizibwa kuddamu kuyamba muntu mulala yenna. Agenti w’eyeesimbyewo oba alondesa takkirizibwa kuyamba muntu.

11. Ssinga wabaawo amenya etteeka eryo, oba omuntu okwefuula alina obwetaavu okuyambibwako kyokka ng’abadde tabwetaaga, bwe gumusinga asibwa omwaka, okuwa engassi ya 240,000/- oba byombi.

Erinnya ly’omuntu ssinga liba lyawandiikibwa bubi okugeza nga mulimu ennukuta ebulamu, akkirizibwa okulonda ng’amaze okuwaayo ebimwogerako ne kikakasibwa nti ddala ye nnyini mannya ago. Ate omukazi nga yayongerako erinnya okugeza erya bba ng’okuwandiisa kwaggwa dda oyo naye akkirizibwa okulonda.

12. Omuntu yenna talina kubeera na kissi okugeza emmundu oba ekirala kyonna mu buwanvu obwesudde kiromita emu okuva mu kifo awalonderwa, okuggyako ng’akikola mu mateeka oba ng’alina ofiisi gy’akolamu emukkiriza okuba nakyo. Omuntu asingibwa omusango guno atanzibwa 480,000/- oba okusibwa omwaka oba byombi.

13. Ku lunaku lw’okulonda, omuntu yenna atandika okuleekaanira waggulu oba okukwata ekizindaalo n’atandika okusuusuuta omu ku beesimbyewo ng’amaloboozi gatuuka mu kifo awalonderwa, avunaanibwa ssinga gumumegga asibwa omwaka oba okutanzibwa 480,000/- oba byombi.

14. Mu kifo awalonderwa tewalina kubaawo kifaananyi oba kabonero konna akalina akakwata n’omu ku beesimbyewo. Tolina kujja nga weetimbye oyo gw’owagira oba okwambala essaati eriko ekifaananyi kye. Ssinga gukusinga, osasula 480,000/-, okukusiba omwaka oba byombi.
Obululu bulina okubalibwa mbagirawo ng’okulonda kwakaggwa, ssinga obudde buziba ng’okubala obululu tekunnaggwa akulidde eby’okulonda avunaanyizibwa okuleeta ekitangaala ne bubalibwa mu maaso g’abakiikiridde abeesimbyewo. Oluvannyuma buli bululu bwa muntu busibibwa bwokka n’obufudde bwokka.

15. Omuntu yenna akwatibwa ng’akola ekintu kyonna ekisikiriza omuntu okumulonda wabula nga tayise mu kumumatiza wabula okumuwa ebintu nga ssente, obulabo nga ssabbuuni oba ssukaali n’ebirala. Kuno kutwalibwa ng’okugulirira abalonzi, akwatibwa ng’akikola avunaanibwa bwe gumusinga asibwa emyaka esatu oba okuwa engassi ya 1,440,000/- oba byombi.

16. Omuntu akukusa omuntu n’alonda kyokka ng’akimanyidde ddala nti oyo omuntu talina bisaanyizo bironda oba okufulumya amawulire amakyamu ku omu ku beesimbyewo okugeza nti yafudde, yavuddemu oba okumuteekako obulwadde ng’ekigendererwa kyo kya kuwuddiisa balonzi balonde omulala gw’oyagala musango. Bwe gukusinga osasula 960,000/-, okukusiba emyaka ebiri oba byombi.

17. Ssinga akulidde ekifo awalonderwa alemwa okuwaayo ebivudde mu kulonda eri akulira ebyokulonda mu disitulikiti eyo mu budde obugere nga talina nsonga eri mu mateeka emulwisizza aba amenye tteeka. Asibwa omwaka, okuwa engassi ya 480,000/- oba byombi.

18. Omuntu ssinga alondera mu bugenderevu mu kifo w’atalina kulondera oba n’alonda omulundi ogusukka mu gumu mu kifo ekyo avunaanibwa, bwe gumusinga asibwa emyaka etaano, engassi ya 2,400,000/- oba byombi.

19. Omuntu alondera mu linnya ly’omulala, si nsonga oli nnyini lyo mulamu oba yafa. Osibwa emyaka etaano, okutanga 2,400,000/- oba byombi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mm 220x290

Kkampuni zisaze omusolo ku ‘Mobilemoney...

KKAMPUNI z’amasimu zitandise okussa mu nkola etteeka ly’okukendeeza gwa ‘mobile money’ (Airtel money, Africel Money...

Monicangalagaobutungulubwatunda500webuse 220x290

Ekigwo ekimu tekyandobera kuddamu...

Omulimu gw'okufumba bwe gwanzigwako tekyandobera kutandika kulimira wafunda era kati nasituka dda sirina agoba....

Skull 220x290

Bamukutte n’akawanga

OMUSAJJA eyasangiddwa n’akawanga k’omufu gamumyuse. Abatuuze baamulinye akagere ne bamukwata n’ekisawo mwe yabadde...

Muhangi3 220x290

Muhangi akkirizza okusisinkana...

OMUGAGGA Charles Muhangi awadde abasuubuzi abakolera ku bizimbe bya Qualicel(Horizoni city) ne Nabukeera (Bazannya...

Zaina2webuse 220x290

Obwakondakita bwamponya ennaku...

Okukola obwakondakita nga ndi mukazi kinnyambye okulabirira abaana bange ate n'okuyiga bwe bakolagana n'abantu...