TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Bankubye ssasi si ttiyaggaasi - Lt. Gen. Tumukunde

Bankubye ssasi si ttiyaggaasi - Lt. Gen. Tumukunde

By Benjamin Ssebaggala

Added 1st March 2016

Gen Henry Tumukunde agambye nti ye nga Gen. asobola bulungi okwawula essasi ku kakebe ka ttiyaggaasi n’akakasa nti poliisi yamukubye essasi mu kugulu.

Genhenrytumukundeinfortportal 703x422

Lt. Gen. Tumukunde ng'aliko by'annyonnyola. Ku kkono ky'ekiwundu ky'agamba nti lyabadde ssasi eryamukubiddwa so ssi kakebe ka ttiyaggaasi

Gen Henry Tumukunde agambye nti ye nga Gen. asobola bulungi okwawula essasi ku kakebe ka ttiyaggaasi n’akakasa nti poliisi yamukubye essasi mu kugulu.

Tumukunde yabadde mu kavuyo mu kiro ekyakeesezza eggulo ku Kagote SDA Hall e Fort Portal bwe baabadde babala obululu bw’omubaka w’abavubuka.

Mu kulonda kuno, Mwine Mpaka Rwamirama mutabani wa Minisita Bright Rwamirama yabadde attunka ne Amanya Tumukunde mutabani wa Tumukunde.

Aduumira poliisi mu bitundu bya Rwenzori, Denis Namuwoza yategeezezza nti Tumukunde yakubiddwa kakebe ka ttayaggaasi era ne ku makya eggulo omwogezi w’amagye Paddy Ankunda yakedde kutegeeza nti Tumukunde yabadde akubiddwa kakebe ka ttiya ggaasi.

“Nze ndi Gen. nsobola okwawula essasi ku kakebe ka ttiyaggaasi, lino lyabadde ssasi era baalikubye butereeve ne linnyingira mu kugulu” Tumukunde bwe yannyonnyodde Bukedde eyamusanze ku Kalya Courts in Fort Portal.

Okulonda kuno  kwawanguddwa Mwine Mpaka Rwamirama. 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abamukubasuubuzingabakunganyaembiddemukifokyamatookegebattikanga 220x290

Ekirwadde ekikwata ebitooke kitiisizza...

Ekirwadde kino kisensera ekikolo ky'ekitooke era kw’omanyira nti kikwatiddwa ekirwadde kino endagala zaakyo ziwotookerera...

Abamukubasentebengabalimulukiikoenakulabye1 220x290

Bassentebe ba LC1 ne 2 bakukkulumidde...

Stephen Nsereko ssentebe w’ekibiina ekigatta bassentebe b’ebyalo n’emiruka mu Kampala yategeezeza nti gavumeti...

Omusajjangasimuulaengatozomulangiraherbertkimbugwe2 220x290

Bayiiyizza obukodyo bw’okuggya...

Abamu ku bagenyi abaabaddewo mwe mwavudde abasajja babiri abaakutte obutambaala nga buli munnabyabufuzi asituka...

Ssengalogonew 220x290

Emyezi ebiri sigenda mu nsonga...

Ndi muwala wa myaka 21. Nneegatta oluvannyuma ne ng'enda mu kalwaliro ne ngula empeke okwetangira okufuna olubuto...

Matovu002 220x290

Abasajja abanoonya embooko z'abakazi...

Twagala abakazi abeetegefu okukola obufumbo ate nga bamamyi omukwano