TOP
  • Home
  • Buganda
  • Katikkiro Mayiga wakukyala e Manchester mu May

Katikkiro Mayiga wakukyala e Manchester mu May

By Musasi wa Bukedde

Added 25th April 2016

Bannayuganda abali e Manchester beesunze Katikkiro Mayiga Bya Musasi waffe Abantu mwenna ababeera mu ssaza lya Ssaabasajja ery’e Bungereza ne Republic of Ireland muyitibwa okwetaba ku mukolo ogw’ebyafaayo ogwokukyaza Katikkiro Charles Peter Mayiga e Manchester ku Lw’okubiri nga 17th May 2016.

 

 


Bannayuganda abali e Manchester beesunze Katikkiro Mayiga Bya Musasi waffe   Abantu mwenna ababeera mu ssaza lya Ssaabasajja ery’e Bungereza ne Republic of Ireland muyitibwa okwetaba ku mukolo ogw’ebyafaayo ogwokukyaza Katikkiro Charles Peter Mayiga e Manchester ku Lw’okubiri nga 17th May 2016.

Omukolo guno, gugenda kubeera ku Parrs Wood High School (Hall One), Wilmslow Road, Manchester, M20 5PG, okutandika ku ssaawa kkumi n’emu ez’akawungeezi (5pm).  

Katikkiro Mayiga agenda kuwerekerwako: Omwana w’Engoma, ba Minisita ba Kabaka Charles Bwenvu ne David Sekyeru,Abakungu ba Buganda Land Board abakulembeddwa agikulira  Kyewalabye Male David nga bano bagenda kusomesa ku nkuuma y’ettaka ey’omulembe, Abasuubuzi abeegattira mu Buganda Twezimbe nga bakulembeddwa Omukungu John Fred Kiyimba Freeman, Bannamawulire ba Buganda Broadcasting Services (BBS Terefayina eyaffe) ne Radio y’obujajja CBS, n’abalala bangi nga bonna balina obubaka obw’enjawulo bwe beetikidde abantu ba Ssaabasajja mu Bungereza naddala ab’e Manchester n’ebitundu ebiriraanyeewo.

Okuyingira kwa bwereere. 

Okusinziira ku mukungu wa Ssaabasajja atwala Manchester n’ebitundu ebiriranyeewo, Enock Mayanja Kiyaga, omukolo guno gugenda kutambulira ku mulamwa ogugamba nti “Emiti Emito, Buganda Ey’enkya” era ng’abaana n’abavubuka bateekateeka okwolesa ebitone omuli: amazina amaganda, amasoga n’amalala, ebitontome, okulanya awamu n’empaka z’okuyimba Ekitiibwa kya Buganda. Eby’okulya n’okunywa ttomooni. 

Omukungu Kiyaga yakubirizza  abantu ba Ssaabasajja bonna mu Bungereza, okuleeta abaana bonna basobole okulaba Katikkiro waabwe, awamu n’okuwulira obutereevu obubaka bw’anaaba abeetikidde. 

Omukolo guno gusuubirwa okugatta Bannayuganda bangi ddala okuva mu bitundu eby'enjawulo omuli Greater Manchester, Liverpool, Sheffield, Birmingham, Coventry, Leeds, Derby, London n’ebitundu ebirala byonna mu Bungereza, Republic of Ireland ne Bulaaya.   E Manchester awagenda okubeera emikolo, abatuuze mu kiseera kino bali mu keetalo nga beetegekera okukyaza Kamalabyonna era bamwesunze nnyo.

Kwo okutendekebwa mu mazina amaganda n’amasoga, katemba n’ebitontome kugenda mu maaso era  nga kubeerayo buli weekendi ku kitebe ky’ekibiina ekigatta Bannayuganda mu Manchester (UCOMM) ku Surcon House, Copson Street M20 3HE Withington Manchester era ng’enteekateeka zino zikulirwa Mw. James Bateeze, Muky. Wampamba Aidah ne Mw. Edward Kayondo-Kayemba, ate nga ye Mw. Martin Pande y‘atendeka abazinyi b’amazina amasoga.  

Omukungu Kiyaga yagambye nti watekeddwawo akakiiko akateesiteesi k’omukolo guno nga kaliko Omuwandiisi Isaac Jakira; Omuwanika Allan Ssemanda; Ssabakunzi Joel Kasagga Nyanzi; eby’entambula Mustafa Ahmed Kawooya; Welfare Yahya Kakembo ne Nnalongo Ritah Mugabo, eby’okwerinda Ronald Kamugisha; eby’endya n’okunywa Rajab Bbosa ne Ivan Ssonko-Lutaaya; eby’okusanyusa abagenyi James Bateeze ne Dennis Jjemba.  

Abalala kuliko Rehema Nnabukeera Kawooya, Sylvia Bateeze, Christopher Boma, Cliffe Ndahiro Kyobe, Fredrick Mubiru, Maggwa Paul Kale, Khalid Ayub, Jaffer Gava, Abdukarim Kabanda Mzee, Mustafa Ntambi, ne Ronald Wampamba.  

Kiyaga yagambye ab’e Leeds nabo beekozeemu omulimu nga bakulemberwa Dr. William Bukulu, n’abe Liverpool nabo bali mu keetalo nga bakulemberwa Pastor Daniel Kavuma ng’amyukibwa Hajj Swaib Ssemakula.   Wangaala ayi Ssaabasajja Kabaka.

 

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Zaina2webuse 220x290

Obwakondakita bwamponya ennaku...

Okukola obwakondakita nga ndi mukazi kinnyambye okulabirira abaana bange ate n'okuyiga bwe bakolagana n'abantu...

Zikiza 220x290

Bakutte abalala 2 ku muliro ogwasse...

ABASERIKALE ba poliisi nga bakolaganira wamu n’abeekitongole kya ISO bakutte abantu abalala babiri ku by’omuliro...

Lundaenkookongaoyagalasosikubangaabalalabalundawebuse 220x290

Biibino ayagala okulunda enkoko...

Biibino ebintu 5 ebivaako abalunzi b'enkoko okufiirizibwa, bw'obiyiga n'obissa mu nkola ng'omaze okuyingiza ssente....

Kaweesi3 220x290

Museveni atumizza bambega ba Bungereza...

Pulezidenti Museveni atumizza bambega ba Bungereza aba Scotland Yard bazuule ekituufu.

Omuvubukaasimwefrancesngaasibaomuzindalokupikipikiogulangaamakufulugewebuse1 220x290

Nagaana obwavu okunsinza amaanyi...

Bwe nalaba okutuula awamu tekuyingiza kimala ne nsalawo okunoonya abaguzi nga ntembeeya bye ntunda.