TOP

Poliisi egaanyi Balimwezo okuggulawo omusango

By Musasi wa Bukedde

Added 27th April 2016

Poliisi egaanyi Balimwezo okuggulawo omusango

Ba1 703x422

Balimwezo ng’akutte okugulu okwamenyese.

MEEYA wa Nakawa omulonde Ying. Ronald Balimwezo, poliisi ya Jinja Road emulemesezza okuggulawo omusango gw’okumutulugunya.

Balimwezo yakedde ku poliisi okuggulawo omusango gw’okumutulugunya n’okumukuba amazzi n’afuna obuvune n’okumenyeka okugulu kwe okwabalema kwakozesa okutambula.

Yagambye nti poliisi okumutulugunya yali n’abakulembeze abaalondebwa mu Kampala nga bagenze ku kitebe ky’akakiiko k’ebyokulonda ku Lwokutaano lwa wiiki ewedde nga beemulugunya olw’okulwawo okubassa mu mawulire ga Gavumenti amatongole (Gazette).

Yagambye nti ekigendererwa kyabwe tekyali kibi kyokka poliisi yasooka butabafaako wabula oluvannyuma n’etandika okubasindiikiriza nga kwetadde n’okubakubamu amazzi era mu kudduka okugulu kw’akozesa okutambula ne kumenyeka.

Abaserikale baagambye nti balina okusooka okufuna olukusa okuva mu bakama baabwe nga tebannaggulirawo Balimwezo fayiro. Laura Kanushu, akulira bannamateeka mu kitongole ekigatta abaliko obulemu yategeezezza nti ensonga bajja kuzongerayo

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kip2 220x290

Leero mu mboozi y'omukenkufu tukulaze...

Leero mu mboozi y'omukenkufu tukulaze engeri gy'oyinza okufuna mu kulima Levander

Pap2 220x290

Aba P7 babalaze ebinaabayamba okuwangula...

Aba P7 babalaze ebinaabayamba okuwangula

Top2 220x290

Abafera abantu okubatwala ku kyeyo...

Abafera abantu okubatwala ku kyeyo bakwate

Tip2 220x290

Omukozi w’awaka abuzeewo ne bbebi...

Omukozi w’awaka abuzeewo ne bbebi wa muliraanwa

Lab2 220x290

‘Ppaaka Enkadde efuuse kiraalo...

‘Ppaaka Enkadde efuuse kiraalo kya nte