TOP
  • Home
  • Busoga
  • Famire bagiwadde obutwa, omu afiiriddewo

Famire bagiwadde obutwa, omu afiiriddewo

By Musasi wa Bukedde

Added 27th April 2016

Wano mukaziwattu yagenze ng’akuba ku buli lubuto lwa mwana nga zonna zivuga nga ffene. Abamu embuto zaabadde zibeepise nga bbaluuni n’ekyaddiridde kuddukana na kusesema wakati mu kusinda.

Lwigale1 703x422

Lwigale

YAWAWAMUSE mu tulo mu ttumbi nga buli mwana alaajana nti, “Maama nfa, olubuto lunnuma…! Wano we yababuulizza nti, “Baana mmwe, mwalidde biki emisana ebibalumizza embuto?”

Yakoleezezza ettaala n’alaba ng’abaana bonsatule basitamye bawaniridde embuto amaziga gabayitamu.

Wano mukaziwattu yagenze ng’akuba ku buli lubuto lwa mwana nga zonna zivuga nga ffene. Abamu embuto zaabadde zibeepise nga bbaluuni n’ekyaddiridde kuddukana na kusesema wakati mu kusinda.

Yayise bba batwale abaana muka kalwaliro kyokka baba bakyakikiitana, nnakyala naye olubuto ne lutandika okumutokota gye byakkidde nga naye atandise okuzza “bbaalansi” n’okuddukana.

 Zubayiri ne Nasib abalidde obutwa

Ekyalo Makoka mu ggombolola y’e Namwendwa mu disitulikiti y’e Kamuli kyaguddemu encukwe ku Mmande, omukazi n’abaana be bana bwe baalidde obutwa ne kufaako omu.

Bino byabadde mu maka ga Hassan Mulambuzi 45, mukyala we, Aliziki Baidhi 37 n’abaana bwe baaliiridde obutwa mu katogo.

Kigambibwa nti omuntu omubi yalabirizza nga mu ffumbiro temuli muntu n’ayiwa obutwa mu katogo n’abulawo.

Oluvannyuma lwa Mulambuzi okukuba enduulu nga famire emutabuseeko, abatuuze bamudduukiridde ne bamuyamba okutwala abalwadde mu ddwaaliro kyokka omwana Isma Mulambuzi (5) n’afiirayo.

Abaana abalala abaasimattuse baaweereddwa ebitanda mu ddwaaliro lya Kamuli Mission Hospital (Lubaga) nga bano ye; Fajil Lwigele Waiswa14, Zubairi Mutagaya 8 ne Nasib Mulambuzi ow’omwaka ogumu n’ekitundu.

Ssentebe wa LC1, Stephen Balenzi yeewuunyizza ekigendererwa ky’omutemu nti kuba Mulambuzi talina ntalo na muntu, tanywa mwenge oba okwenyigira mu bwenzi ku bafumbo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sev3 220x290

Museveni agguddewo olusirika lwa...

Museveni agguddewo olusirika lwa NRM

Kab2 220x290

Ababadde bazze okupima ettaka emmotoka...

Ababadde bazze okupima ettaka emmotoka yaabwe bagikumyeko omuliro

Lab2 220x290

Kirya yeesozze "quarter" za Uganda...

Kirya yeesozze "quarter" za Uganda Cup n'okontola

Pop1 220x290

Okusunsula abayizi abagenda mu...

Okusunsula abayizi abagenda mu S5 kuwedde

Lop2 220x290

Ababbi balumbye ebyalo abatuuze...

Ababbi balumbye ebyalo abatuuze ne battako omu