TOP

Lukwago ne bameeya batebuse Mulindwa Muwonge

By Musasi wa Bukedde

Added 27th April 2016

Lukwago ne bameeya batebuse Mulindwa Muwonge

Luk1 703x422

Loodi Meeya Erias Lukwago ( wakati) ng’ali ne Emmanuel Sserunjogi (ku kkono) ne Joyce Ssebugwawo nga bava mu kkooti.

BAMEEYA ba Munisipaali za Kampala ettaano ne bakansala baabwe beegasse ku Loodi meeya Erias Lukwago ne basaba kkooti eyimirize okusala omusango munnamawulire Mulindwa Muwonge gwe yaloopa ng’ayagala abakulembeze abalonde mu kibuga basazibwemu.

Bameeya okuli owa Lubaga Joyce Nabbosa Ssebuggwaawo, owa Kawempe Emmanuel Sserunjogi , Ronald Balimwezo owa Nakawa, Nganda Mulyannyama owa Makindye, n’owa Kampala Central, Charles Musoke Sserunjogi baataddeyo okusaba kwabwe nga kwetongodde ku kwa Loodi Meeya mu Kkooti Enkulu etuula ku Twed Plaza, eggulo. Lukwago yagambye nti basabye kkooti ensonga ssatu:

1. Omulamuzi ayimirize okusala omusango gwa Mulindwa Muwonge kubanga gugenderera kugyako Bannakampala ddembe lyabwe eribaweebwa mu ssemateeka okwerondera abakulembeze mu Kampala.

2. Baagala asse ku bbali byonna ebyayogeddwa balooya ba Mulindwa Muwonge kuba byavudde ku ludda lumu nga kkooti teyawadde mukisa ludda lwabwe kwerwanako.

3. Basabye kkooti ekkirize ewulirize abakulembeze abalonde, omuwaabi baayagala basazibwemu kubanga baalondeddwa mu mateeka nga kuba kugyako bannakampala ddembe lyabwe singa omusango gusalwa.

Lukwago yategeezezza nti balindiridde kkooti kulonda lunaku ewulirireko okusaba kwabwe. Yategeezezza nti wadde waliwo bannaabweabeekubidde enduulu ewa Pulezidenti Museveni tasobola kubeesigamako kubanga ensonga ze balwanyisa ziri mu kkooti si wa Pulezidenti Museveni. “Twagala kibeere ku likodi nti kkooti teyakikoze wadde nga tugisabye etuwulirize,” Lukwago bwe yagambye.

Kino kiddiridde munnamawulire wa UBC, Mulindwa Muwonge okutwala omusango mu kkooti ng’agamba nti abakulembeze abalonde mu Kampala basaana basazibwemu kubanga etteeka mwe baalondeddwa kkadde ng’eppya teriboogerako. Kkooti yawuliriza okusaba kwe ng’omusango gusigadde gisalibwa.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kib11 220x290

Ba Kansala ku district e Kiboga...

Ba Kansala ku district e Kiboga bakubye ebituli mu budget ya District

Capture 220x290

Emitimbagano gya Vision Group gyakuvaako...

Emitimbagano gya Vision Group okuli ogwa bukedde.co.ug ne newvision.co.ug gyakuggalawo ku wiikendi eno okutandika...

Br3 220x290

Ensonga za Brian White ez'okkabasanya...

Ensonga za Brian White ez'okkabasanya abaali abakozi be zisajjuse

Kit1 220x290

Engeri akasaawe k'e Mulago gye...

Engeri akasaawe k'e Mulago gye kaalera Jimmy Kirunda

Jit1 220x290

Afiiridde mu kibanda kya firimu...

Afiiridde mu kibanda kya firimu e Mukono