TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Poliisi eragidde Abaawo b'ekinnansi okukomya okukola ebikwekweto

Poliisi eragidde Abaawo b'ekinnansi okukomya okukola ebikwekweto

By Joseph Mutebi

Added 27th April 2016

Poliisi eragidde Abaawo b'ekinnansi okukomya okukola ebikwekweto

Ba1 703x422

POLIISI  eyingidde mu nkayana z’abasawo b’ekinnansi  oluvannyuma lw’abakulira ebibiina bya basawo 40  okutwala okwemulugunya kwabwe gye bali nti waliwo akabiina akamu akayitiibwa “Nakazadde Uganda N’eddagala Lyayo” akabatulugunya nga kakola ebikwekweto mu bitundu ebimu ng’ate tebabamanyi.

“Buli basawo ba kinnansi lwe batandiika okwerumaluma nga buli kibiina kiraaga nti kye kikulira binnewabyo n’abafere bafuna omukisa ne bakozesa embeera eno okubeerimbikamu ne banyaga abantu nga babasuubuzi ensi n’eggulu bwe gaana nga balagira abazadde ababeyumira  okussaddaaka abaana baabwe ne bamaliriza nga balina kubasiiba gwa buttemu”. Bwatyo aduumira poliisi n’omuntu wa bulijjo mu Kampala n’emkiriraano bweyategeezezza

Mwebaze yasabye ebibiina byonna bifune olunnaku bakungaane beronddemu olukiiko lw’abasawo abatuufu abanakola ebikwekweto kisobozesse poliisi okukwata abatta abantu mu bitundu by’e ggwanga eby’enjawulo.

Bino Mwebaze yabyogeredde mu lukungaana lw’abasawo b’ekinnansi abakulembeerwa Sylvia Namutebi [ Maama Fiina]  aba Uganda N’eddagala N’obuwangwa Bwaffe  abakungaanidde ku ofiisi zabwe  eggulo ku Nabunya mu Kampala.

Yayongeddeko nti  mu kiseera kino ekituufu abasawo b’ekinnansi bangi mu Uganda naye abafere be babasinga obungi era ng’ate bw’obeera tofunye basawo bannabwe abatuufu era abakugu kizibu okubawula era kino kikalubiriza poliisi okukwata abafere bano era ky’ova olaba ng’ekissaddaka baana kizemu buto okweriisa enkuli.

Yagambye nti Maama Fiina owa Uganda N’eddagala N’obuwanggwa Bwaffe  ategeke olunnaku mu bwangu ayitte olukiiko nga ne poliisi mweri basale amagezi era n’asaba abakola ebikwekweto bayimirize kubanga wadde balina e bbaluwa gye bagamba nti yavudde wa Ssabaduumizi wa poliisi balina okusooka okugyekanya oba ntuufu si kulwa nga bafere oba bawubisa mu kamawe.

Yabasabye bamuwe ebbaluwa eno mu buwandike nga bemulugunya ku kibiina kya Nakazadde olwo agitwale ewa mukama we Gen Kayihura okukakkasa ekituufu kuyo n’okumubulira emivuyo gye balimu egigenda mu maaso.

Akulira ekibiina ekigatta abanoozi  b’eddagala mu ggwanga lyonna,  Jamil Lutakoome Mukwaya yategezezza  poliisi  nti  buli muntu gwe bakata ng’asaddase omuntu basooke bamuguleko gwa buttemu kubanga mu busawo teri mukolo gukolebwa namusaayi gwa muntu abo baba battemu.

Yasabye  poliisi okwongera okuyiga abantu abava mu mawanga ag’enjawulo n’abasawo abeteekako amanya agakanga bababulire bye bakola batambulira ku buwangwa ki wano mu Uganda oyinza okwesanga  ng’abamu balina emize egyo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Fot2 220x290

Emizannyo gy'abamusaayi muto gyengedde...

Emizannyo gy'abamusaayi muto gyengedde

Kib2 220x290

Sipiika Kadaga azzeemu okukola...

Sipiika Kadaga azzeemu okukola emirimu gye

Sab2 220x290

Kabaka Mutebi ayozaayozezza obwa...

Kabaka Mutebi ayozaayozezza obwa Kabaka bwa Ghana okutuuka ku myaka 20

Got1 220x290

Omusawo bamusse agenze kuziika...

Omusawo bamusse agenze kuziika e Masaka

Gab2 220x290

Ebya dokita gwe basse bikyalanda...

Ebya dokita gwe basse bikyalanda