TOP

Bagogodde akatale ke Nateete

By Joseph Mutebi

Added 27th April 2016

Bagogodde akatale ke Nateete

Kat1 703x422

POLIISI  ewadde aba  KCCA  amagezi  abavunaanyizibwa okuyoola kasasiro mu katale k’e Nateete okwongeramu amaanyi naddala mu biseera bino eby’enkuba nga bagogoola emyala buli lunnaku kubanga kiyinza okuvamu ekirwadde kya koleera ne kitta abasuubuzi ne bakasitoma baabwe.

“Mu kiseera kino ng’e nkuba Efuddemba kyangu nnyo ekifo nga kino omubeera abantu abangi bwe kitaba kiyonjjo okuvamu ekirwadde kya koleera.

Era Bukedde bweyatulaga obukyafu obugenda mu maaso mu katale kano kyatukuteeko nnyo nga poliisi okugya okulaba nga tukwattira wamu okuyonja akatale kano” bwatyo omukwanaganya wa poliisi n’omuntu wa bulijjo atwala Katwe Victoria Namuli bweyategeezezza,

Bino Namuli yabyogedde ggulo mu katale k’e Nateete gye yabadde ne mukamawe David Mwebaze akulira poliisi n’omuntu wa bulijjo mu Kampala n’emiriraano eyategesse bulungi bwa nsi ono.

Basookedde mu myala gy’omu katale nga bayambibwako ba “ kulayimu puliventa” n’aba KCCA ne bagigogoola gyonna.  Bayingidde nemu middala gy’abasuubuzi gyonna egyabadde gifumbekedde  kasasiro ne bamugyayo bakira emmotoka za KCCA bwe zimutwala.

Akulira  abalongoosa akatale kano ku lwa KCCA Sagiu Muhuruzi yagambye nti poliisi kye yakoze kya manyi okubayamba  okulongoosa akatale kano naye era babasanze batandiise dda okulongoosa emyala gino ennaku nga bibbiri okwewala abantu okulwala koleera.

Ye akulira eby’okwerinda mu katale kano Sulaiman Ssembatya yawadde abasuubuzi amagezi okulabira ku poliisi kyekoze okubayambako okuyonja akatale nti nabo oluusi baveeyo bakwatize wamu ne KCCA era bakomye n’okusula kasasiro mu myala n’ebifo mwebakoleera ng’ate ebipipa bya KCCA bibawo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Benitez22 220x290

Benitez munyiivu olwa Newcastle...

Newcastle yeggyeeko omutendesi Benitez oluvannyuma lw'endagaano ye okuggwaako.

Oketchinstructinghisstudentswebuse 220x290

Oketch obwavu abugobye na kukola...

Mu kukola fulasika z'embaawo mwe nfuna ssente

Wanikaamaguluwebuse11 220x290

Bw'oyamba omuntu azirise nga tonnamutuusa...

By'olina okukola okuyamba omuntu azirise nga tonnamutuusa wa musawo okumutaasa obuzibu obuyinza okumutuukako

Lan1 220x290

Mbogo ne Kibuli beddizza ez'amasomero...

Mbogo ne Kibuli beddizza ez'amasomero mu Badminton

Gr2 220x290

Abagambibwa okutta owa Mobile Money...

Abagambibwa okutta owa Mobile Money babazizza e Zzana