TOP

Palamenti eyingidde mu by’abanene ababbira mu Poliisi

By Ahmed Mukiibi

Added 28th April 2016

AKAKIIKO ka Palamenti akavunaanyizibwa ku byokwerinda kayingidde mu nsonga za ofiisa wa Poliisi eyavuddeyo n’obujulizi obulumiriza abanene mu Poliisi nti bakolagana n’ebibinja by’ababbi.

Mugarura1 703x422

Mugarura eyakoze lipoota ku bubbi buno

AKAKIIKO ka Palamenti akavunaanyizibwa ku byokwerinda kayingidde mu nsonga za ofiisa wa Poliisi eyavuddeyo n’obujulizi obulumiriza abanene mu Poliisi nti bakolagana n’ebibinja by’ababbi.

Akulira akakiiko kano, Benny Namugwanya Bugembe yategeezezza nti Minisita w’Ensonga Ez’omunda, Rose Akol n’omuduumizi wa Poliisi, Gen. Kale Kayihura, balina okweyanjula mu Palamenti bannyonnyole kye bamanyi ku ky’abakungu ba poliisi abakolagana n’ababbi era bababuuze ne kye bagenda okukola okumalawo ekizibu ekyo.

“Tuludde nga tubiwulira mu ng’ambo nti abamu ku bofiisa ba Poliisi bakolagana n’abamenyi b’amateeka.

Ng’akakiiko ka Palamenti twali twalagira dda Minisita anoonyereza ku nsonga eno era atuwe lipoota” Namugwanya bwe yagambye n’agattako nti, “Kati ke tufunye lipoota okuva ku ofiisa yennyini owa Poliisi, tugenda kuyita Minisita ne IGP batunnyonnyole kuba kiwaawaaza amatu, abandirwanyisizza ababbi n’abatemu ate abamu ku bo ne bakolagana nabo okugabana omunyago.”

Yagambye nti gye buvuddeko bwe baasisinkanye Minisita Akol, omumyuka we James Baba n’omumyuka wa IGP, Martin Okoth-Ochola, omubaka Muwanga Kivumbi yalumirizza nti abamu ku babbi okuli; Kifeesi, Kijambiya, B13 n’ebibinja ebirala ebisoba mu 10 birina abanene mu Poliisi ababibikkirira.

Bino biddiridde ofiisa wa Poliisi ku kitebe kyayo e Naggulu, ASP Steven Mugarura okukola lipoota enkakali gye yaweerezza IGP Kayihura ng’alaga abamu ku banene mu Poliisi bwe bakolagana n’ebibinja eby’abibbisa emmundu.

Basinga kunyaga ssente mu supamaketi, ku mobile money, okubba emmotoka, okusaasaanya ebicupuli n’okwefuula abakola ddiiru ez’ebyobusuubuzi ne bafera abasuubuzi. Ne bwe bawawaabirwa, emisango gifutyankibwa aba poliisi abakolagana nabo.

Ezimu ku mmundu ezikozesebwa zibaweebwa bakungu ba poliisi era nga zinyagibwa ku ba poliisi ab’amadaala aga wansi.

 

ABABBIBWA BAWADDE OBUJULIZI:

1. ESAU TURYAMUREBA, Makanika e Namungoona: Nnalina emisango e Fort Portal kyokka abasajja banniimisa we nkolera e Namungoona nga bali mu Premio omu n’ahhamba nti mupoliisi era ne bandagira okulinnya emmotoka nti neetaagibwa ku poliisi.

Banvuga okuyita e Kawaala ne tugwa ku Northern Bypass olwo ne bahhamba nti bantwala ku RRU (kati SIU) e Kireka kwe kutandika okubeegayirira nga ntidde emiggo olwo ne mbawa 40,000/- ze nnalina, ne bantwala ku poliisi ya Jinja Road.

Eno, eyali atwala poliisi eno yantegeeza nti mponye kubanga abasajja abo babamanyi babbi kyokka nga waliwo abaserikale ba poliisi be bakolagana nabo.

2. GODFREY KYEYUNE, dayirekita wa Nakawuka Milling Investments Ltd, Nateete: Abasajja abo banziba obukadde 52. Baakolagana ne mukwano gwange eyategeera nti nnina ssente ku akawunti n’abatemyako nti bwe bandeetera ddiiru ng’eri mu kusuubula kasooli, bajja kuba banfunye. Bantuukirira era ne bansomera ddiiru y’okugula kasooli e Ibanda.

Twalinnya emmotoka okugenda tusasule kasooli era twasisinkana omu ku bo ng’ayambadde T-saati y’ebibomboola by’amagye ne Piisito mu kiwato.

Twagenda ku Lwamukaaga era bwe tutuuka e Fort Portal ne bangamba nsooke nzigye ssente mu bbanka kubanga lwali Lwamukaaga ate nga bbanka egenda kuggalawo.

Ssente naziggyayo ne tutuula mu mmotoka yaabuyonjo, omu yasikayo emmundu n’andagira okubawa ssente bwe mba njagala obulamu.

Saalina we hhaanira oba okukuba enduulu ne mbawa ssente ne banzigya mu mmotoka ne bandeka awo. Naddukira ku poliisi ne nziggulawo ogw’okubbibwa ku fayiro CRB 1117/14 era abantu abo okuli Musinguzi (ayogerwako mu lipoota ya ASP Mugarura) baakwatibwako kyokka baateebwa nga tewali wadde ekibakoleddwaako, tebazza wadde ennusu ku ssente zange ze baatwala!

3. MICHAEL ARINAITWE, muvuzi wa sipeeso e Kireka: Nalina Ipsum UAM 584R. Lumu, mu 2013, omusajja yajja ku siteegi e Kireka n’antegeeza nti yali alina Abazungu b’agenda okukima ku kisaawe e Ntebe. Yangamba nti tusooka Bugoloobi ku Silver Springs okufunira

Abazungu aw’okusula wabula bwe twatuukawo n’agamba tulindeko, okutuusa obudde lwe bwaziba n’ekyaddako, omusajja kunteeka ku mudumu gwa mmundu n’asimbula emmotoka yange n’agibba. Nnagulawo omusango ku poliisi y’e Kireka.

Nga wayise ebbanga, omusajja yankubira n’antegeeza nti emmotoka ngyerabire nnooonye ssente ngule ndala kyokka ekyanneewuunyisa, yampita linnya lyange!

Okumubuuza erinnya lye, yantegeeza nti, ‘Nze Musinguzi eyatwala emmotoka yo.” Nagendako ku RRU (SIU) okulipootinga olw’amasimu ge yali ankubira era bwe baamukubira essimu yagikwata ne boogera nga bamugamba nti ‘Musinguzi lwaki tozza mmotoka ya musajja’, olwo ye n’abagamba nti “Bw’abeeera ayagala emmotoka ye, atuwe obukadde buna tumulagirire weeri.”

Oluvannyuma nnabawulira bagamba nti bano ababbi tetulina kye tusobola kubakola kuba waliwo lwe twabakwata, abakulu ne batukubira ne balagira bateebwe n’olwekyo okubakwata kumala biseera.

Baamaliriza bampadde magezi ga kunoonya bukadde 4 ezansabiddwa omubbi, bwe mba njagala emmotoka. Ebyo nnamanya nti bigaanye, emmotoka ne ngivaako.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Myu 220x290

Akatale k’obumyu kagguse

OBUMYU kimu ku bintu ebirimu ssente wabula abalunzi abamu bagenze babuvaako okubulunda olw’akatale akatono bwe...

Rolls1 220x290

Isaac Nasser yeeyiyeemu Rolls Royce...

ABAVUBUKA batandise okwetegekera amasappe ga Ssekukkulu. W’osomera bino g’omuvubuka Isaac Nasser ayingizzaawo...

Rolls1 220x290

Isaac Nasser yeeyiyeemu Rolls Royce...

ABAVUBUKA batandise okwetegekera amasappe ga Ssekukkulu. W’osomera bino g’omuvubuka Isaac Nasser ayingizzaawo...

Golola1 220x290

Golola akoze omubiri n’atiisa abawagizi...

OMUKUBI w’ensambaggere Moses Golola ‘Of Uganda’ kuno okutendekebwa kwaliko kwandimufuula omulema.

Ssape1 220x290

Ab’e Kamuli baliko DPC ow’amasappe...

Naye bw’aba agenda ku mikolo naddala nga guliko abanene alina engeri gye yeesabikamu n’afanaanira ddala Sam Omala...