TOP

Omubaka Nsereko yesowoddeyo ku bw'omumyuka wa sipiika

By Muwanga Kakooza

Added 29th April 2016

OMUBAKA wa Kampala Central Mohammad Nsereko ayingidde olwokaano lw’okuvuganya ku bumyuka bwa sipiika bwa palamenti mu palamenti ey’ekkumi egenda okulayira omwezi ogujja.

Muhammadnsereko 703x422

Omubaka Nsereko ng'ayogerako eri bannamawulire

 

OMUBAKA wa Kampala Central Mohammad Nsereko ayingidde olwokaano lw’okuvuganya ku bumyuka bwa sipiika bwa palamenti mu palamenti ey’ekkumi egenda okulayira omwezi ogujja.            

Ababaka bagenda kulayira ku nnaku satu okuli May 16, 17 ne 18 n’oluvannyuma batuule beerondemu sipiika n’omumyuka we  era wano Nsereko w’aviiriddeyo okutegeeza nga bwayingidde olwokaano lw’okuvuganya ku bumyuka bwa sipiika.      

Nsereko eyajja nga “independent” mu palamenti ey’ekkumi yagambye bannamawulire nti :’’ Nyingiddewo era omulimu nkakasa ngenda kugukwata kannabwala. Ngenda kukubiriza palamenti mu ngeri etaliimu kyekuubira yenna’’.      

Yagambye nti alina obuwagizi okuva mu bibiina byonna n’obudondo bwa palamenti obutali bumu omuli n’aka Buganda mw’ava n’agamba nti asuubira ng’ekintu agenda kukitambuza bulungi.            

Kyokka yasuubizza nti asuubira kukolera wansi wa Rebecca Kadaga nga sipiika. Kadaga avuganyizibwa abadde omumyuka we Jacob Oulanya ayagala okutwala entebe ya mukama we mu palamenti ey’ekkumi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kip2 220x290

Leero mu mboozi y'omukenkufu tukulaze...

Leero mu mboozi y'omukenkufu tukulaze engeri gy'oyinza okufuna mu kulima Levander

Pap2 220x290

Aba P7 babalaze ebinaabayamba okuwangula...

Aba P7 babalaze ebinaabayamba okuwangula

Top2 220x290

Abafera abantu okubatwala ku kyeyo...

Abafera abantu okubatwala ku kyeyo bakwate

Tip2 220x290

Omukozi w’awaka abuzeewo ne bbebi...

Omukozi w’awaka abuzeewo ne bbebi wa muliraanwa

Lab2 220x290

‘Ppaaka Enkadde efuuse kiraalo...

‘Ppaaka Enkadde efuuse kiraalo kya nte