TOP

Abemmundu bakubye 3 amasasi e Kasenge

By SHAMIM NABUNNYA

Added 29th April 2016

ABAZIGU baasoose mu wooteeri ne balya emmere, kyokka abaagibaguzizza ne babalaba n’ekisawo omwabadde ensuuluulu n’ennyondo; wabula tebaakifuddeko nga balowooza bazimbi.

Tendo1 703x422

Ronald Tendo, omu ku baakubiddwa amasasi ng’ajjanjabibwa e Mulago.

BYA SHAMIM NABUNYA, VINCENT KATO NE PROSSY KALULE

ABAZIGU baasoose mu wooteeri ne balya emmere, kyokka abaagibaguzizza ne babalaba n’ekisawo omwabadde ensuuluulu n’ennyondo; wabula tebaakifuddeko nga balowooza bazimbi.

Abatuuze tebaategedde nti be baabadde balowooza okuba abazimbi, baabadde babbi era mu kijaketi omu kye yabadde ayambadde nga mw’akwese emmundu!

 

Carol Komuhangi omu ku baakubiddwa amasasi ng’ali ku kitanda e Mulago.

 

ENGERI GYE BAABAKUBYE AMASASI

Nga bamaze okulya emmere ku ssaawa nga 10:00 ez’olweggulo baatambuddeko ku kitundu, nga bwe balinda obudde buzibe.

We baalidde emmere waliraanidde ddala awali amaduuka ga Mobile Money asatu ge baalumbye ku ssaawa nga 3:00 ez’ekiro ne bakubirawo abantu basatu amasasi ne banyaga n’ensimbi eziri mu bukadde.

Jamiru Sseriiso omutuuze mu kabuga k’e Kasenge mu Wakiso awaabadde obuzigu buno yattottodde nti: Emisana baabadde babiri wabula ekiro beegattiddwaako omusajja omulala eyaleese pikipiki (bodaboda) gye baakozesezza okudduka.

Baakoze pulaani eva dduuka ku dduuka nga banyaga era baasookedde ku lya Caroline Komuhangi. Ono yasoose kugaana kubawa ssente era tebaaluddewo ne bamukuba amasasi mu magulu, olwo zonna ezaabaddewo n’azibawa ne bagenda.

Mu bwangu obw’ekitalo baalumbye edduuka eryokubiri wakati mu kacankalano akaabadde katandise kubanga amasasi agaakubiddwa mu dduuka eryasoose abantu baabadde bagawulidde.

Ku dduuka eryokubiri baasanzeemu omuwala Sedrine Batwanga wabula ono yafubutuse n’ayita emmanju, olwo ababbi ne bayoola ze baasanze mu ‘seefu’ ne balumba edduuka eryokusatu.

Abantu baatandise okukuba enduulu nga bwe baleekaana nti “Ababbi baabo…” era ow’edduuka lya Mobile Money eryokusatu baamusanze akikiitana kusibawo ne bamulagira abawe ssente mu bwangu era ne bayoolawo ezaabaddewo.

Sseriiso 31, yagambye nti abantu baabadde bamaze okwekunga nga baweze era ababbi ne batya ne batandika okukuba amasasi mu bbanga, okwerula ekkubo we banaayita.

Abantu beeyongedde okusembera era ababbi kwe kutunuza emmundu mu bantu okukkakkana ng’amasasi gakutte abantu abalala babiri: Ronald Tendo ow’e Kasenge Central Zooni ne Asuman Tumwesigye nga naye mutuuze w’e Kasenge.

Sseriiso agamba nti yeetegerezza abasajja bano ng’omu alina emmundu ennene era obwedda ono akuumira bweru wa dduuka ate omulala ng’alina pisito era ono obwedda y’ayoola ssente mu maduuka.

Eyabadde akuNGaanya ssente era y’eyabadde n’ekisawo era mu kupapa ng’apakira ssente mu kisawo, ensuuluulu eyabaddemu yavuddemu n’egwa era teyafunye kadde kagironda n’agirekawo ne babuukira pikipiki eyabadde ebalindiridde.

Mu buvumu obw’ekitalo, Sseriiso yalonze ensuuluulu n’agoba abasajja bano era yagenze okulaba nga ‘sseefu’ gye baabadde basitudde mu dduuka eryasembyeyo ng’ewandagala egwa era nayo tebaayimiridde kugironda ne beeyongerayo ne ssente endala ze baabadde banyaze. Seefu eno gye baabasuuzizza yabaddemu ensimbi ezisukka mu 3,000,000/-.

Ku nsuuluulu eno, abatuuze kwe baategeeredde nti be basajja abaalidde emmere mu kawooteeri akaliraanye amaduuka gano era abakakolamu baawadde obujulizi nti eyo y’ensuuluulu yennyini gye baalabye n’abasajja abaaliddewo emmere.

Abantu abasatu abaalumiziddwa baatwaliddwa mu ddwaaliro. Abamu baabasoosezza mu kalwaliro akayitibwa Global e Kinaawa kyokka ne baweerezebwa e Mulago.

 sentebe wa sangi iyimba nabaserikale nga bali we baakubidde abantu amasasi Ssentebe wa Nsangi, Kiyimba n’abaserikale nga bali we baakubidde abantu amasasi.

 

Abatuuze baanenyezza poliisi okulwawo okutuuka era we yajjidde nga n’ababbi baabuzeewo dda n’omunyago ogumu!

Brian Ngobi yagambye nti poliisi y’e Kikajjo yazze kikeerezi nga n’abaalumiziddwa abandiginnyonnyodde kye baalabye baatwaliddwa dda mu malwaliro.

Ssentebe w’eggombolola y’e Nsangi, Haji Abdul Kiyimba yagambye nti ekifo ekyo kyetaagisaamu poliisi kubanga ebaliraanye eri mu Kikajjo ate ebbanga eririwo ddene era n’asaba abatuuze beekolemu omulimu bafune ekifo poliisi w’eneezimbibwa.

DPC w’e Nsangi Henry Kisubi yagambye nti bagguddewo omusango gw’obubbi obw’omutawaana n’okugezaako okutta abantu ku fayiro SD REF: 28/27/04/2016.

Abatuuze baagambye nti mu mwezi guno, baakalumbibwa ab’emmundu enfunda bbiri nga bakuba amasasi ne banyaga kyokka teri gwe baali bakutte era abamu nga balumiriza nti kyandiba nga kiva ku bigambibwa nti waliwo abapoliisi abakolagana n’ababbi okunyaga ne bagabana.

Wiiki eno, ofiisa wa poliisi ASP Steven Mugarura yaweerezza lipoota ssatu ew’omuduumizi wa Poliisi Gen. Kale Kayihura ng’awa bwino ku bakungu ba poliisi bana b’agamba nti balina ebibinja by’ababbi bye bakolagana nabyo era babiwa emmundu okutuukiriza obulungi ‘misoni’ oluvannyuma ne bagabana omunyago.

Wabula omwogezi wa poliisi mu ggwanga yagambye nti wadde mu poliisi musobola okubeeramu abaserikale ab’olubatu abava ku mulamwa ne bakola ebikontana n’amateeka kyokka tekiyinza kutwalibwa nti poliisi yonna mbi era bakola ekisoboka okukangavvula abaserikale baabwe ababeera bavudde ku mulamwa, kisobozese poliisi okutuukiriza obuvunaanyizibwa bwayo obukulu obw’okukuuma abantu, obulamu bwabwe n’ebintu byabwe sso si kutabagula mirembe.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omuvubukaasimwefrancesngaasibaomuzindalokupikipikiogulangaamakufulugewebuse1 220x290

Nagaana obwavu okunsinza amaanyi...

Bwe nalaba okutuula awamu tekuyingiza kimala ne nsalawo okunoonya abaguzi nga ntembeeya bye ntunda.

Kasibante2 220x290

Omubaka Kasibante atereezezza obufumbo...

MOSES Kasibante omubaka wa Lubaga North atereezezza amaka, bw’ayanjuddwa mu kitiibwa ku mukolo ogwetabiddwaako...

Jmcweb 220x290

Kyetume ekutudde JMC Hippos

Kyetume evudde emabega n'ewangula JMC Hippos mu Big League mu ddakiika ezisembayo

Joshuaweb 220x290

Cheptegei ataddewo likodi ng'awangula...

Joshua Cheptegei ataddewo likodi y'ensi yonna empya, ng'awangula kiromita 15 mu misinde gya 2018 NN Seven Hills...

2016manujoseshout1 220x290

Veron ayogedde lwaki ManU evumbeera...

Veron akubye ebituli mu kisanja kya Mourinho mu ManU.