TOP

Emirimu 50 egisinga okusasula mu Uganda

By Musasi wa Bukedde

Added 1st May 2016

Emirimu 50 egisinga okusasula mu Uganda

Mi1 703x422

John Ssenyondo ddereeva ku siteegi ya Gayaza mu Ppaaka enkadde.

MU Uganda kituufu mulimu ebbula ly’emirimu, kyokka ate waliwo n’emikisa gy’emirimu lwakuba abamu tebannagikozesa. N’abagitandise emirimu egimu gigwa olw’ensonga ezitali zimu ng’okubulwa obudde obugirondoola, okukwata obubi ensimbi, obutafaayo ku bakasitoma n’ebirala.

Nga tujaguza olunaku lw’abakozi tutunuulidde emirimu 50 egisinga okusasula mu Uganda.

OKULUNDA ENKOKO:Bw’obeera n’ebiyumba, okutuusa enkoko 500 okubiika weetaaga obukadde musanvu okumala emyezi mukaaga. Nga wayise omwaka gumu n’ekitundu bw’ozitunda kapito wo aba avaayo.

Bwe zitandika okubiika buli lunaku oba ofuna ttule 14, ku 8,000/-, gye mitwalo 11. Buli lunaku zirya emmere ya 72,000/- ekitegeeza oba osobola okufissaako 38,000/- buli lunaku nga ggwe ozeekoleramu.

OKUVUGA TAKISI: Gerald Ndaazo nga muvuzi wa takisi ku siteegi y’e Ntebe agamba: Takisi ezisinga za bagagga abasula abagoba emisaala buli mwezi oba olunaku lumu mu wiiki nga kisinziira ku ntegeeragana wakati w’omugagga ne ddereeva. Abasinga bagaba mitwalo 40 omwezi, bw’ogattako ddereeva waakiri 15,000/- buli lunaku aba afuna emitwalo 85 omwezi. Takisi eno olunaku ewanirira n’abalala okuli kondakita, maneja n’abalala.

BODABODA: Edward Mwanje owa bodaboda mu Industrial Area agamba: Owa bodaboda olunaku olulungi afuna 60,000/-, ekitegeeza nti bw’akola ennaku 26 ku 30 eziba mu mwezi aba akoze 1,560,000/-. Bw’eba nga yiye n’akozesaako 1,000,000/- okukozesa mu byetaago bye n’okuterekera pikipiki aba asobola okutereka emitwalo 50.

OKUSIIGA ENJALA: Okusiiga kwava dda abantu we baali bakumanyidde nga kati abali mu bifo ebirungi omuntu asobola okunnyuka ne 70,000/- olunaku.

Omukyala okusiiga enjala n’okukuuta ebigere ziba wakati wa 15,000/- ne 20,000/- bw’akola ku bantu 10 olwo aba takoze 200,000/- olunaku. John Ssenyondo ddereeva ku siteegi ya Gayaza mu Ppaaka enkadde.

OKUSUUBULA EMMERE EY’EMPEKE Hannington Kasule nga musuubuzi w’ebirime e Kiboga, agamba: Kasooli naddala sizoni ya December bw’oba omuguze ku 400/- n’atuukkira mu sitoowa ku 450/- ebiseera ebisinga agenda okutuuka mu May aba atuuse ku 800/- ne 850/- amagoba gasinziira ku buungi bwa kasooli gw’oba watereka.

OKUKANIKA MMOTOKA Ekimu ku bintu abantu bye basinga okukolera mu bulamu okugula mmotoka kiri ku mwanjo, kino kye kimu ku bifuula omulimu guno okuba nga guvaamu nsimbi kuba bw’ogigula era erina okufa.

Titus Muteesasira makanika wa mmotoka ku Good Way Auto Garage e Mulago bw’agamba:

EGYA OFIISI Abakola mu ofiisi abasinga bafunira wakati wa 1,000,000/- ku bukadde 3,000,000/-, wabula ebitongole ebisinga byongerezaako ssente ez’enjawulo. Wabula waliwo n’emirimu emirala omuntu gy’oyinza okukola n’ofunamu.

Naye kyandibadde kirungi okusooka okwebuuza ku bantu abagirimu okusobola okwanguyirwa mu kugitandika.

Okusiika capati Saluuni Okusala embaawo Ekibira Okusiika Cipusi Okulima obutunda Okulima ennyaanya Okulunda embizzi Abaamawulire Okulunda ente z’amata Okusuubula amagi Obwakanaabe Okusuubula ettaka

Ekibanda kya zzaala Essomero Okusuubula endibota Okutunda amasimu Okusuubula amata Okutunda engoye Ekirabo ky’emmere Okutunda ekigere Mobile Money Kaabuyonjo z’olukale Eddagala ly’ebirime Amaduuka g’eddagala Obulwaliro bw’obwannannyini Okwokya ebyuma Okuzimba n’okusereka Abatunzi Obuyimbi Katemba Okusuubula ebirime Okutunda amawulire Atema ennyama Abatunda mmotoka Okutunda amafuta Okutunda engatto Obuvubi Okutunda emmere y’ebisolo Okubajja Okutunda ebibala Ebikozesebwa ku masomero Ebizimbisibwa

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Hib1 220x290

Omulamuzi atabukidde abakakiiko...

Omulamuzi atabukidde abakakiiko k'ebyettaka e Lwengo

Reb2 220x290

Maneja w’ebbaala ya Casablanca...

Maneja w’ebbaala ya Casablanca asindikiddwa ku limanda

Deb1 220x290

Abakola ebimansulo e Kyetora balabuddwa...

Abakola ebimansulo e Kyetora balabuddwa

Museveni703422 220x290

Pulezidenti agenda kuwa ab’ebibanja...

PULEZIDENTI Museveni agenda kukwasa ab’ebibanja 300 ebyapa by’ettaka mu disitulikiti y’e Nakaseke mu kaweefube...

Give 220x290

Beti Kamya agobye takisi n’abatundira...

Minisita wa Kampala, Beti Kamya agobye mbagirawo aba takisi, bodaboda, abatembeeyi n’abatundira ku nguudo z’omu...