TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Abaakuba "crime preventer" ne bamubbako pikipiki poliisi ebakutte

Abaakuba "crime preventer" ne bamubbako pikipiki poliisi ebakutte

By Henry Kasomoko Henry Kasomoko

Added 1st May 2016

Abaakuba "crime preventer" ne bamubbako pikipiki poliisi ebakutte

Kif1 703x422

POLIISI ekutte abavubvuka  babiri abagambibwa okukuba omusirikale w'ekyalo ne bamubbako pikipiki e Wandegeya.

Abavubuka bano okuli,  Edwine Emwoti ng’ono yeyita First half ne  Alex Balemezi  eyeyita  Junior be bakwatiddwa  poliisi  ya Kimwanyi  nga  kigambibwa nti  baludde nga banoonyezebwa  poliisi  ku misango gyokukuba  omusirikale we kyalo ( Crime preventer) e Wandegeya  amanyiddwa nga Fred Mukuuma   ne bamubbako ne  piki ye  eye kika  kya  Bajaj UAK234B gye yali akolerako emirimu gye.

Abavubuka  bano oluvannyuma lwokukwatibwa  poliisi yababuuzizza  wa gyebasa  piki ya Mukuuma  ne bagitegeeza  nga bwebagigabira  mu kama waabwe Adam Kalule  agambibwa nti yakulira  ekibinja  kino ekya one minute, wabula  Kalule  olwabadde okutegeera nga abamu ku bavubuka abakozesa mu bubbi bwebabagombyemu obwala  kwekwemulula n'adduka.

Baguddwako omusango gwobubbi ku fayiro nnamba 16/29/04/2016.  Akulira  poliisi ya Kimwanyi  AIP Lonah Kamugisha yategeezezza  nti  bakola  kyonna  ekisoboka okulaba nga  bakwata  Kalule  asobole okubalagirira  wa gye batunda  piki yomusirikale waabwe.

Olw'obuwanguzi poliisi bwetuseeko oluvannyuma lw'okuma ebbanga nga babanoonya kibawadde amaanyi  agokunoonya  ono eyadduse ng’esaawa yonna wakukwatibwa naye annyonnyole . Yagambye nti abavubuka bano bakwongerwayo mu kkooti bavunaanibwe emisango gy’obubbi n'ogwokukuba  omusirikale  waabwe.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ziika1 220x290

Ssaalongo yalese eddaame ekkabwe!...

SSAALONGO Erisa Ssendaaza Semuwubya olwafudde, mikwano gye gy’abadde yateresa eddaame lye ne baliggyayo ne balisomera...

Maaso 220x290

Abadde yaakayimbulwa bamuttidde...

OMU ku bamenyi b’amateeka aboolulango mu Kawempe abadde yakaligibwa emyaka esatu mu kkomera e Luzira oluyimbuddwa...

Laha 220x290

Baze ambuzeeko kati wiiki bbiri...

OMWAMI wange yambulako kati wiiki bbiri nga simulabako kyokka yandekera omwana omuto nga ne ssente sirina.

Ssenga1 220x290

Omukazi alabika yandoga obusajja...

OMUKAZI bw’aba nga yanzita obusajja, nsobola okufuna eddagala? Sirina manyi ga kisajja bulungi ate nga gaali mangi...

Pansa 220x290

Stecia Mayanja ddala muzito oba...

HAJATI Faridah Mubiru manya Stecia Mayanja owa Kream Production ennaku zino alina engeri gy’agezze ate nga ne Sharia...