TOP

Omuko talabise okwanjula ne kuyiika

By Musasi wa Bukedde

Added 2nd May 2016

Katemba yagudde ku kyalo Busaabala mu ggombolola y’e Nabbaale mu disitulikiti y’e Mukono, Hajji ne Hajjati abaabadde banjuza muwala waabwe, bwe baalinze omuko n’atalabikako n’oluvannyuma ne yeekwaka ng’aggyeeko n’essimu.

Habiba1 703x422

Kaadi eyayise abagenyi

Bya AMON MUKASA

OKUVA mu January, Hajji Ediriisa Kivumbi, abooluganda n’emikwano gye babadde mu nkungaana za kusonda ssente z’okwanjula kwa muwala we, Habiba Naluyinda okwategekebwa okubaawo nga April 30, 2016.

Enkiiko zonna, abantu ababadde bazituulamu ng’olumala okuyisaayisa amaaso mu bajeti, beebuuza kimu nti, “Eno bajeti ya kika ki eteriiko ayitemu ya byakunywa, tenti n’endongo?”

Olwo ‘omugole’ Naluyinda ng’asituka mu ssanyu n’atangaaza nga daalingi we bwe yasuubiza okubireeta byonna.

 adinah abirye ssenga womugole ngasobeddwa Madinah Babirye, ssenga w’omugole ng’asobeddwa

 

Mu lukiiko olwasembyeyo ku Ssande ya May 24, Madiinah Babirye, ssenga wa Habiba, eyatwalira mwannyina (Kivumbi) ebbaluwa emusaba okukkiriza Habiba ayanjule mwanamunne mu maka ge, yakkaatirizza nti, “Bannange, omwami waffe okwetema okukola ku bintu bino teyagenderera kuyisa mu kika kyaffe maaso yanoonya kutuwonya situleesi ya kunoonya bintu bino ng’afa kimu tunyumirwe omukolo gwa Habiba.”

Kye bataamanya, nti omuko gwe baludde nga beebugira n’okubasuubiza buli kalonda akwatagana n’okutegeka, yali mufere agenda okubakonkomaza nga talabiseeko ku lunaku lwa kwanjula n’oluggya lwabwe n’alukuba ekisiraani!

Katemba yagudde ku kyalo Busaabala mu ggombolola y’e Nabbaale mu disitulikiti y’e Mukono, Hajji ne Hajjati abaabadde banjuza muwala waabwe, bwe baalinze omuko n’atalabikako n’oluvannyuma ne yeekwaka ng’aggyeeko n’essimu.

 waka awaabadde wagenda okubeera omukolo ansi ye kkaadi eyabadde eyita abagenyi ku mukolo Awaka awaabadde wagenda okubeera omukolo. Wansi ye kkaadi eyabadde eyita abagenyi ku mukolo.

 

Bino byabaddewo ku Lwomukaaga mu maka g’omugenzi Yusuf Ssonko Muteegomba, Habiba Naluyinda bwe yabadde agenda okwanjula, Abdul Wahabu Kaligo mu maka ga bakadde be, Hajji Ediriisa Kivumbi n’atalabikaako nga n’ebintu bye yabasubizza talina ky’aweerezza.

SSENGA W’OMUWALA ANYUMYA: Madiinah Babirye eyabadde alina okwambaza omuko ekimuli yagambye nti, “Ku ssaawa nga 6:00 ku Lwokuna zaatuuse nga tetulina kintu na kimu kye tulaba kw’ebyo omuko bye yatusuubiza okuweereza.

Wano we twamukubiridde essimu n’atusaba tumusindikire omuko omu (mwannyina Habiba) basisinkane ku Kaleerwe, bagule ebintu.

Twamusindise nga bagenda boogeraganya ne mukoddomi we (Wahab) ku ssimu kyokka yakanze kumulinda okutuusa ssaawa 2:00 ez’ekiro nga tamulaba n’atukubira ne tumusaba atuukeko ewuwe e Bukoto.

 zimu ku nku ezaabadde ezokufumba ebyassava byomukolo Ezimu ku nku ezaabadde ez’okufumba ebyassava by’omukolo.

 

Eno naye yatuuseeyo nga mu muzigo mw’abadde asula ne Habiba yasenguseemu ne tumulagira akomewo eka. “Wahab answazizza nnyo ewa mmwannyinaze n’abeekika. Yasooka kukyala n’atugumya nga buli kimu bw’agenda okukikolako omwali, okuweereza mmotoka bbiri ey’omugole n’eya taata, ente, ttanka y’amazzi, entebe n’ebintu ebirala.

Ayinza atya okutukonkomaza kyokka n’aggyako n’essimu?” Babirye bwe yeebuuzizza mu nnyiike.

Yagasseeko nti Wahab yabatimba nnyo bbula kuba yabawa n’ekiragiro nti omukolo gwe agwagalako abayimbi Stabua Natooro ne Haruna Mubiru nti era tebeeraliikirira ensimbi z’okubasasula yali waakuziweerereza wamu n’ezitegeka omukolo kuba yali agenda kuwerekerwako ebikonge bya poliisi okuli, Gen. Kale Kayihura ne Andrew Felix Kaweesi.

OMUKO ABAFERA OGUSEMBAYO: Ekiro ku Lwokutaano, omuko Wahab nti yakubidde Habiba essimu ng’abuuza nti, “Ekkubo lyammwe eryo teriseerera nnyo? Mumbuulire oba liseerera ebintu mbiweerereze ku mmotoka ez’amaanyi ku makya ennyo.” Bino Habiba yabifuuye ssengaawe ne kitaawe ne baguma nti omukolo ddala gugenda kubaawo era enkeera ku Lwomukaaga baayongedde okwemalira ku kuyooyoota awaka ng’amaaso bwe gabali mu luguudo okulinda mmotoka ezireeta ttenti n’ebyokulya.

Amaanyi gaabaweddemu bwe zaaweze ssaawa 3:00 nga tebalina kye balaba kiva wa muko ate nga ne ssimu ye bwe bagikuba teriiko.

Hajji Kivumbi yali ayise abantu bamwanirizeeko abako be yalagira okutuuka ku ssaawa 6:00 nga bano baaweze ku ssaawa 4:00 ez’oku makya era nga buli bakira ajja atunula mu kusoberwa olw’obutabaawo ttenti.

 bagole nga bwe bafaanana Abagole nga bwe bafaanana

 

TAATA YEETONDEDDE ABATAKA: Hajji Kivumbi nga yenna munyiikaavu yagambye nti tamanyi Allah ky’alisasula Wahab okumuswaza n’amufuula ekisekererwa mu bantu kyokka n’asaba abooluganda n’abataka bamusonyiwe olw’omukolo ogutaabaddewo.

Ye ‘omugole’ Habiba kyamususeeko ne bamusibira mu kisenge ng’amaziga gamuyitamu era abaabadde bazze ku mukolo abatali ba munda nnyo tebaamulabyeko.

Hajji Kivumbi yagumye masajja n’assaawo omuntu ku luggya nga buli muntu ali mu kkanzu ne ggomesi olutuuka bamutegezza ng’omukolo bwe gusaziddwaamu.

Amateeka kye gagamba Munnamateeka Jude Mbabaali yannyonnyodde nti mu mateeka, bazadde b’omuwala balina eddembe okuwawaabira omusajja ono okuboonoonera ssente ze baakozesezza okutegeka ebintu ebitali bimu wamu n’ebiseera ate n’okubaswaza mu bantu. Omusango bwe gumukka mu vvi, aliwa okusinziira ku nsala y’omulamuzi abeera mu mitambo gy’omusango.

Mbabaali yannyonnyodde nti okwanjula buba bufumbo obutongole mu mateeka obutasaanye kuzannyisibwa ng’omusajja ono bwe yakoze era ng’abantu abamaze omukolo gw’okwanjulwa bayinza okugenda mu maaso ne beewandiisa eri omukungu wa gavumenti avunaanyizibwa ku by’okuwandiika obufumbo ne beeyongera okunywera mu mateeka.

Eddiini y’obus iraamu ky ’eyogera ku nsonga eno Akulira Abatabuliiki, Sheikh Yahaya Mwanje yagambye nti mu Busiraamu, omusajja ng’ono aba talina bwesigwa kuba abeera amenye endagaano gye yakola n’omuwala wamu n’abazadde okukola omukolo guno.

Yayongeddeko nti Obusiraamu busooka kutunuulira nsonga ezimugaanyi okutuukiriza obweyamo bwe yakola era n’okuba nti yatumye omubaka okutegeeza be kikwatako ekyamulemesezza okutuukiriza obuvunaanyizibwa.

Sheikh Mwanje yagambye nti kikulu nnyo omusajja aba tasobodde kugenda waabwe wa mukazi n’abatumira omuntu n’abannyonnyola ebiguddewo kubanga ekizibu kigwawo essaawa yonna era ono bw’akikola tassibwako musango.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Twala 220x290

Engeri omusuubuzi w’ewa Kisekka...

ABAZIGU abeebijambiya balondodde omusuubuzi ow’amaanyi ne bamutemula. Bamuttidde ku ggeeti y’amaka ge nga yeggulira...

Rowee 220x290

Musaayimuto wa Arsenal ataddewo...

Rowe yali mu ttiimu ya Bungereza ey'abatasussa myaka 17 eyatwala World Cup.

Ki 220x290

Ebya Kirumira poliisi ebiyingizzaamu...

EBY’OKUTEMULWA kwa Muhammad Kirumira Poliisi ebiyingizzaamu Bukedde bw’eyise abasasi baayo basatu okukola Sitatimenti...

Ggwanika1 220x290

Ab'eddwaaliro ly'e Kamuli batubidde...

Poliisi y’e Kamuli n’abakulira eddwaliro ly’e Kamuli batubidde n’omulambo ogw’omukazi eyabadde olubuto olukulu...

Eddwalirolyebutengahealthcentreiv 220x290

Eddwaaliro ly'e Bukomansimbi lisaliddwaako...

Abatuuze b'e Bukomansimbi bali mu katuubagiro olw'eddwaliro erisinga obunene mu disitulikiti eno okusalibwako amasannyalaze...