TOP

Abayizi 70 balidde obutwa

By Musasi wa Bukedde

Added 3rd May 2016

Kigambibwa nti abayizi baamaze okulya ekyeggulo ne bagenda okusoma ekiro kyokka baagenze okuvaayo nga bataawa ng’embuto zibaluma era baasunze bweru nga baddukana.

Butwa1 703x422

Abayizi nga bajanjabibwa mu ddwaaliro e Mubende.

Bya MUSA KABOGGOZA

ABASOMESA mu ssomero lya Kitenga e Mubende baasattidde oluvannyuma lw’abayizi okusesema n’okuddukana ne baggwaamu amaanyi nga kigambibwa nti baalidde butwa.

Abayizi abaasinze okukosebwa baabadde 70, nga baddusiddwa mu ddwaaliro e Mubende nga bali mu mbeera mbi.

Kigambibwa nti abayizi baamaze okulya ekyeggulo ne bagenda okusoma ekiro kyokka baagenze okuvaayo nga bataawa ng’embuto zibaluma era baasunze bweru nga baddukana.

Abawala be baasoose okulumizibwa ne bategeeza ababalabirira ng’abaasoose okubeera ababiri baagenze okulaba ng’omuwendo gw’eyongera buli ddakiika eyitawo.

Baabadde bakyali ku bawala baagenze okuwulira nga n’abalenzi batandise okusesema n’okuddukaana nga kino kye kyabalowoozesezza ntio emmere gye baalidde yandibaamu obutwa.

Baddusiddwa mu ddwaaliro e Mubende ng’abaasinze okukosebwa kuliko; Iryn Natukunda, Juliet Nakalembe, Moreen Nakintu, Vadan Wokulira, Thomas Byaruhanga , nga bonna ba siniya yakuna.

Omukulu w’essomero, Godfrey Luswata yagambye nti balinze alipoota y’abasawo okumannya ekituufu ekyalwazizza abaana.

N’agamba nti ebyogerwa nti butwa tanabikakasa kubanga abamu ku bayizi abaalidde emmere tebalina mutawaana gwonna.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lampholders3webusenew 220x290

Omulimu gwe nasomerera mwe nayiiyiza...

Nakolerera okuva mu kukozesebwa era mu myaka ena nnali nneekozesa ku mulimu gwe nasomerera.

Funayo1 220x290

Leero mu mboozi z'Omukenkufu tukulaze...

WIIKI ewedde nawandiise ku birime by’osobola okulima n’ofunamu ssente mu nkuba eno etonnya. Ekimu ku bye nakonyeeko...

Wereza 220x290

‘Abakyala mukomye okwetonaatona...

AKULIRA ekibiina ky’abakyala abafumbo mu bulabirizi bwe Namirembe ekya Mother’s Union, Josephine Kasaato akuutidde...

Twala1 220x290

Abakyala n’abavubuka e Wakiso Gavt....

GAVUMENTI ewadde abakyala n’abavubuka ba Wakiso Town Council mu disitulikiti ya Wakiso ssente z’okwekulaakulanya...

Omukoziwekitongolengapakiraebyamaguziebitalikumutindo 220x290

 Abasuubuzi b’e Masaka beezoobye...

“Abasuubula ebintu bino mubamanyi era mmwe mubakkiriza nga babawadde enguzi bwe mumala n emwefuulira ffe abatalina...