TOP

Uhuru bamukutte lwa kubba misolo

By Samuel Balagadde

Added 3rd May 2016

Ayogerwako ng’owamaanyi naddala mu nsonga z’amassekkati g’ekibuga; kyokka ebitiibwa bino byonna, ab’ekitongole ky’omusolo ekya URA obwedda tebibatwalira budde nga bamubuuza kimu nti, “empapula eziraga nti otambuza omuceere ziri ludda wa?”

Uhuru1 703x422

Uhuru ku mpingu

Bya SAMUEL BALAGADDE ne JOSEPH MAKUMBI

SALIM Uhuru yatuuyanye ng’abeekitongole ky’omusolo bamussaako empingu. Yafubye okubategeeza nti muntu mukulu mu ggwanga atayinza kwenyigira mu kukukusa byamaguzi, nga bongera kumyumyula!

Uhuru takoma ku kubeera musuubuzi wa maanyi mu kibuga wabula ye Ssentebe wa NRM mu Kampala Central era Kansala ku lukiiko lwa Kampala Central.

Ayogerwako ng’owamaanyi naddala mu nsonga z’amassekkati g’ekibuga; kyokka ebitiibwa bino byonna, ab’ekitongole ky’omusolo ekya URA obwedda tebibatwalira budde nga bamubuuza kimu nti, “empapula eziraga nti otambuza omuceere ziri ludda wa?”

 huru Uhuru

 


ENGERI UHURU GYE YAKWATIDDWA

Abakozi ba URA baasoose kwekengera konteyina y’ebyamaguzi eyabadde ewerekerwa empapula eziraga nti yabaddemu seminti.

Moses Muwanguzi eyabadde awerekedde ebyamaguzi bwe yasomye embeera eyabaddewo n’abulawo. Baakebedde konteyina ne bazuula nti yabaddemu obusawo bw’omuceere obw’ekika kya Basmatt obwa kkiro 10 obuwerera ddala 163. Mwasangiddwaamu n’ebidomola bya butto ebya liita 20 ebibalirirwamu obukadde 15 kw’ogatta ‘Tomato Sauce” nga bikozesebwa mu kufumba.

Wabula mu ngeri ey’enjawulo, mu konteyina baasanzeemu ttayiro ezikolebwa e Dubai.

Konteyina eyabadde eteekeddwa okusasulirwa obukadde 119, baabadde bagisasuliddeko obukadde 46 zokka kubanga seminti eyabadde alagiddwa wa ssente ntono bw’ogeraageranya n’omuceere gwa Basmatt n’ebyamaguzi ebirala ebyabaddemu.

Aba URA nga bakyanoonya Muwanguzi, ate Uhuru we yajjidde nti n’abategeeza nga bwe yabadde amanyi nnnannyini byo era nga yabadde n’enteekateeka ezimugulako eby’amaguzi ebyo. Wabula ebintu byefudde, Uhuru n’akwatibwa n’ateekebwako empingu.

Uhuru eyabadde mu jjiini eya bbulu n’essaati eya bbulu erimu obukuubo nga takubye kikalu yalabise ng’atidde nnyo, ng’alaba abasajja bamyumyula empingu!

Ebigere ebyabadde mu ngatto ekika kya ‘kkanvaasi’ nabyo byatandise okukankana ng’alaba embeera eyongera okumubijjirira. Ebyabadde bigenda mu maaso Uhuru yabadde takyabitegeera.

Agnes Nabwire akulira ebikwekweto mu URA yagambye nti Uhuru bwe yalabye bitabuse n’abategeeza nti ebyamaguzi ebyo tabirinaako kakwate konna nti era n’eyabireese talina ky’amumanyiiko, olwo kwe kumukaliramu n’akwatibwa ayambeko mu kuzuula abali emabega w’okukukusa ebyamaguzi ebyo.

Yasoose kusibibwa ku poliisi y’e Busitema gye yaggyiddwa n’aleetebwa ku poliisi ya Kiira Road mu Kampala akawungeezi k’Olwokutaano.

Amasimu gaatandise okuyiting’ana era enkeera ku Lwomukaaga n’ayimbulwa ku kakalu ka poliisi.

UHURU ANNYONYODDE

Uhuru owa Uhuru Restaurant efumba omuceere era ng’atera n’okuweebwa ttenda y’okuliisa abantu ku mikolo gya NRM n’egy’eggwanga, yakolokose aba URA olw’engeri gye yakwatiddwa awatali kumala kunoonyereza.

Yasoomoozezza aba URA baleete bwino akakasa nti ye nnannyini byamaguzi ebyo, n’akibassaako nti okumukwata baagenderedde kwonoona linnya lye kubanga emisolo gye gyonna agisasula mu bwesimbu.

Yagambye nti mwetegefu n’okuwa engassi singa obujulizi buvaayo ng’alina akakwate ku byamaguzi ebyo, n’agattako nti yakwatiddwa mu ngeri etaagoberedde mateeka era etassa kitiibwa mu ddembe ly’obuntu.

Abasuubuzi naddala mu Kampala baludde nga beemulugunya ku ngeri gye bakwatibwamu ekitongole kya URA era ensonga zaabwe baaziroopa mu Palamenti, ewa Pulezidenti era ne bazoogerako ne mu nkiiko ze babadde batuulamu n’aba URA.

ABAKULEMBERA ABASUUBUZI BOOGEDDE

1 EVEREST KAYONDO Ssentebe w’ekibiina ekigatta abasuubuzi mu Kampala (KACITA): Buli lw’oggalawo bizinensi y’omuntu obeera ogaddewo n’emikisa gye okufuna ssente okukusasula omusolo gw’omubanja. Kyandibadde kya bwenkanya okuwa omusuubuzi ebbanga erimumala naanoonya ssente n’asasula omusolo kubanga abasuubuzi baffe tebasobola kudduka lwa musolo. Tuli Ntebe mu maka ga pulezidenti tumusisinkanye naye si ku nsonga za musolo wabula ku Lwokuna tulina olukiiko olulala ne URA ku Serena Hotel mu Kampala okwongera okuteesa ku nsonga z’omusolo.

2 HAJI MOHAMMAD KATIMBO (SSENTEBE WA KIKUUBO): Waliwo abantu abatayagalira ddala kusasula musolo kubanga URA bw’egamba nti obanjibwa obukadde 30 naawe n’okkiriza nti ze zikubangibwa, twakkiriziganya nti omusuubuzi aweebwa emyezi 6 okusasula ssente. Abalala baleeta kkonteyina nnamba nga balimbye nti erimu bizigo nga mulimu bintu birala be bakwata baba balina amanyanga gaabwe ge bakola.

Twakkiriziganya mu lukiiko olwasembayo nti omuntu ajja kuwa omusolo okusinziira ku bunene bw’edduuka lye. Tetunnafuna kisemberayo ddala kubanga ne ku Lwokuna tulina olukiiko olulala naye omuntu abeera akwatiddwa kisaana asooke kunoonyerezebwako abamu baba bakumpanya.

3 HAJI. MUSTAPHA SSEMULINDE (SSENTEBE PINE): URA tesomesezza basuubuzi kimala. Abasuubuzi ebitundu 60 ku 100 mu Kampala tebaasoma, tebamanyi kubala bitabo byabwe bakanya kukola olw’obutamanya bwabwe, URA yo bwejja ekozesa omukisa ogwo n’ebabinika omusolo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Deb2 220x290

Poliisi erinnye eggere mu lukiiko...

Poliisi erinnye eggere mu lukiiko lw'abavubuka e Kawempe

Teb2 220x290

KCCA egobaganye n'abakazi abakolera...

KCCA egobaganye n'abakazi abakolera ku nguudo z'omu Kampala

Lab1 220x290

Ab'oluganda lwa Kalungi agambibwa...

Ab'oluganda lwa Kalungi agambibwa okutta Kirumira basobeddwa

Cab1 220x290

Jennifer Musisi awangudde engule...

Jennifer Musisi awangudde engule e Netherlands

Santi22 220x290

Bamukakasizza ku butendesi bwa...

Solari, eyazannyirako Real wakati wa 2000 ne 2005, okuva lwe yakwata enkasi ya kiraabu eno ng'omutendesi, yaakawangula...