TOP
  • Home
  • Emboozi
  • Abaserikale ba Obote banswanyuula kibooko - Tofiri Malokweza

Abaserikale ba Obote banswanyuula kibooko - Tofiri Malokweza

By Dickson Kulumba

Added 3rd May 2016

Yaηηamba nti, ‘tooka..lalakini’ bwentyo nga nva mu mmotoka nga nneeyala, ssebo kazzukkulu kange ako nga kampisaamu kibooko.

Tofiri1 703x422

Kaggo eyawummula Malokweza

Bya DICKSON KULUMBA

OLUNAKU akavubuka lwe kanswanyula kibooko nga kambuuza wa Kabaka wange gy’ali sirirwerabira,’ Kaggo eyawummula Tofiri Kivumbi Malokwezza bw’atandika emboozi y’Olubiri e Mmengo lwe lwalumbibwa toyagala kuseguka.

Agamba: Okulumbibwa kw’Olubiri lwa Bbaffe mu 1966 olwali amatendo era mwe tweyagaliranga, kwakolebwa omuntu eyalujjangamu, Apollo Milton Obote.

Kyatukuba encukwe kuba emmundu zaavuga mu Lubiri wadde, eno ewange e Nabweru tetwaziwulira naye abaali okumpi n’Olubiri baatunyumiza engeri amasasi gye gaasekamu.

Twatambulanga twekanga, nga tosobola kutuuka ku Lubiri lwenyini kuba enkeera bwe nagendayo abaserikale baali beetawula era saatuuka.

Twali tulowooza nti bijja kuggwa mangu kuba baali bakutte awatakwatika mpozzi ng’omusajja yali amaliridde!

Mu nnaku ezaddirira nagendako e Makindye okuliraana kkooti n’akatale ka Namasole kuba nalinayo emirimu, okutuuka natuuka kyokka okudda mu kibuga kwalema, ne nneewogoma awo ku lw’e Salaama.

Buli we wayitanga nga bali mu kutya n’ekiyongobero era endowooza eyali mu bantu nga bagamba nti Kabaka osanga baali bamusse. Oluvannyuma ng’emmundu zisirise nadda awaka e Nabweru.

Mu wiiki y’emu eyo nasalawo okugendako e Mukono naye olunaku olwo sirirwerabira. Yonna gye twayitanga ng’olowooza bali mu lumbe ng’abatambula batono ddala. Tuba tuyingira Mukono ne tusanga abaserikale ku kkubo erigenda ku disitulikiti.

Nali nsoma mawulire ga Uganda Eyogera ne batuyimiriza ne batandika okubuuza ddereeva wange kajjogijjogi w’ebibuuzo mu Luswayiri. Banziggyako amawulire ne bagavungavunga awo ne batuta tugende.

Twali twakatambulako katono okwambuka ku kkubo erigenda ku Bp. Tucker, ne tusanga obwana obuto nga 30 nga bubagalidde emmundu.

Bwatuyimirizza era akamu ne kajja ku ludda lwange ne kambuuza nti, ‘Muzeeyi Kabaka yiiko wapi, namuddamu nti sema sema.

Yaηηamba nti, ‘tooka..lalakini’ bwentyo nga nva mu mmotoka nga nneeyala, ssebo kazzukkulu kange ako nga kampisaamu kibooko.

Yaηηamba nti ‘Aya kwenda’ olwo awo nali nnindirira kimu ssasi ne nvaawo nga nzenna mbalagalwa ne tweyongerayo.

Mu kudda twali ku buzibu nga tulina kusaliinkiriza naye nga ne gye tusalinkiriza tutyayo. Ensi yali ku bugubi ng’evuddemu nnannyiniyo era bannange tusaanye okwegendereza emikwano gye tukwana kubanga teyandibadde Mukoddomi wa Buganda n’akola ekyo.

Embeera yabijjira abantu abeetolodde Bulange ng’abaserikale babagobayo era entambula yali nzibu. Abantu bayingiramu omutima omubi n’okubeera abamalirivu ku mbeera ez’enjawulo. Waaliwo okutya ng’okwogera nti oli Muganda ng’oba ku bunkenke.

Oluvannyuma twawulira essanyu nga tuwulidde nti Kabaka waffe yatuuka bulungi e Bungereza era gy’ali mulamu bulungi.

ENGERI EBYENFUNA GYE BYAKYUKAMU

Teebereza gavumenti y’Obwakabaka eyalina obuweereza bw’ekola eri abantu baayo, erina abakozi be yakozesanga- byonna byavaawo.

Abaami baggalirwa, ettaka lyanyagibwa n’okutuusa eno likyabanjibwa, enteekateeka y’enkulaakulana y’ebitundu mu Buganda n’edda emabega.

Abantu baggweebwako eddembe nga tebakyeyagala, olwo abantu ba Buganda emirimu gya gavumenti eya wakati nga tegibasaanira okuggyako abo abalondobeddwamu.

Embeera eno yaleetawo enkola y’obunyazi nga kumpi emisana abanyazi bajja ne bakutwalako ebibyo. Obutale bw’ebirime bwatandika okukendeera olw’ebigendererwa Obote bye yalina eri abantu b’ekitundu kino.

Ebitundu ebirala ebya Uganda nabyo byakosebwa, abakulembeze baabwe ne baggyibwako, eggwanga lyonna ne libeera ku bunkenke.

Kye nsaba empisa zaffe tusaanye okuzikuuma kuba ze zaaleetera abaamawanga amalala okutwegomba.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Salawo 220x290

BUKEDDE W’OLWOMUKAAGA AFULUMYE...

Bobi Wine alaze ky’agenda okuzzaako kyokka poliisi nayo erabudde aba People Power ku kugondera amateeka. Mulimu...

Giroud2 220x290

Besiktas eswamye Giroud okumuggya...

Giroud, yali omu ku bazannyi abaayamba Bufalansa okusitukira mu World Cup mu July wabula mu Chelsea, ennamba etandika...

Herreranerojo1 220x290

Abazannyi 4 ogwa ManU ne Wolves...

Rojo tannatereera bulungi buvune wabula okudda kwa Phil Jones kwakuggumiza ManU.

Meeyassenoganomumyukawekansalakaggwangaayogeramulukiikolwampigitowncouncil 220x290

Kirumira bamubbuddemu oluguudo...

Abakiise batenderezza Kirumira omwana waabwe enzaalwa y’e Mpambire mu Mpigi Town Council okubeera omusaale mu kutunda...

Omuvubukaabaddeyefuddeomulalungalikukabangaliyapoliisiempigi 220x290

Yeefudde omulalu n’ayingira ofiisi...

Omuvubuka ono yasoose kwesuula mu kidiba ky’ebbumba mu kabuga k’e Mpigi kyokka poliisi y’e Mpigi n’emunnyululayo...