TOP

Bbanka eboye ebintu bya Jomayi

By Musasi wa Bukedde

Added 4th May 2016

Ensonda zaategeezezza nti Jomayi yeewola obuwumbi bubiri n’obukadde 400 okuva mu Centenary Bank mu July 2013 n’asasulako kyokka mu kiseera kino abanjibwa 1,298,523,892/=

Jomayi1 703x422

Ekimu ku bizimbe bya Jomayi (mu katono) ebyaboyeddwa.

 

EBYA Jomayi bibi. Ettaka n’ekizimbe okuli ofiisi za kkampuni e Kampalamukadde n’ebitundu eby’enjawulo nga Mukono ne Nalumunye bbanka ebiboye lwa bbanja.

Bawannyondo ba kkooti aba kkampuni ya Auctioneers & Bailiffs, Commission & Estate Manager Agent, Rent and Debt Collectors, Receivers Process Services baategeezezza nti baafunye ebiragiro okuva mu Bannamateeka ba Kampala Associate Advocates abakola ku lwa bbanka, okutunda ebintu bya JOMAYI ku nnyondo olw’okulemwa okusasula ebbanja.

Bannyonnyodde nti ettaka eriri ku poloti 20 Kampalamukadde okuli ekizimbe ekiyitibwa Yiga Chambers, Kyaggwe Block 184 poloti: 1600,1802, 1637, 1598, ne 1599 erisangibwa e Buligombe Mukono.

Eddala liri ku Busiro Block 349 plot 519 e Nalumunye ne Kyaggwe Block 184 nga liri mu mannya ga Jomayi Property Consultants lyakutundibwa ku nnyondo oluvannyuma lw’ennaku 30 okuva ekirango kino lwe kyafulumye nga April 25, omwaka guno era abaliko baaweereddwa ennaku 14 okulyamuka.

Ensonda zaategeezezza nti Jomayi yeewola obuwumbi bubiri n’obukadde 400 okuva mu Centenary Bank mu July 2013 n’asasulako kyokka mu kiseera kino abanjibwa 1,298,523,892/=

David Egesa avunaanyizibwa ku kutangira kkampuni ya Jomayi Property Consultants okugwa mu buzibu yategeezezza nti ebyo ebyafulumiziddwa byakugezaako kwonoona linnya lya kkampuni kyokka bakyabyetegereza okuzuula obutuufu bwabyo.

Yagumizza bakaasitoma baabwe nti bizinensi y’okugula n’okutunda ettaka bakyagitambuza bulungi. Joseph Yiga Magandaazi ye nnannyini kkampuni ya Jomayi Property Consultants erudde ng’etunda ettaka mu bitundu eby’enjawulo mu Kampala n’emiriraano wamu ne mu bitundu by’eggwanga ebirala.

Bawannyondo baategeezezza nti JOMAYI bw’aba asobola okusasula mu nnaku 30 ezaamuweereddwa basobola okusazaamu enteekateeka y’okutunda ebintu bye ku nnyondo kyokka bwe ziggwaako ng’abalina ssente babyegulira.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Yop2 220x290

Production beetisse ekyemizannyo...

Production beetisse ekyemizannyo mu Vision Group

Nan1 220x290

OLuyimba lwa tukiggale lutabudde...

OLuyimba lwa tukiggale lutabudde Carol Nantongo ne Racheal Namiiro

Seb2 220x290

Leero mu mboozi y'omukenkufu tukulaze...

Leero mu mboozi y'omukenkufu tukulaze engeri gy'oyinza okukozesaamu butto w'ekinzaali okulwanyisa alaje

Kab3 220x290

Ebyabaddewo ng'aba Poliisi bagobwa...

Ebyabaddewo ng'aba Poliisi bagobwa mu palamanti

Fub2 220x290

Entalo ezibadde mu ssomero ery'ayidde...

Entalo ezibadde mu ssomero ery'ayidde e Rakai