TOP

‘Sejusa yagaana okutuwa akawunti y’omusaala’

By Alice Namutebi

Added 5th May 2016

AMAGYE galumirizza Gen. David Sejusa nti ye yeeremesezza okufuna omusaala kubanga yagaana okuwaayo akawunti kwe baba bamuteera ssente.

Sejusadavidb 703x422

Ssejjusa lwebaamuleeta ku kkoti gye buvuddeko

 

AMAGYE galumirizza Gen. David Sejusa nti ye yeeremesezza okufuna omusaala kubanga yagaana okuwaayo akawunti kwe baba bamuteera ssente.

Kati tebamanyi musaala gwe we bayinza kuguteeka. Brig. Ramathan Kyamulesire, akulira ebyamateeka mu UPDF yagambye nti, ssente za Sejusa bazirina nnyingi naye bakyabuliddwa engeri gye bazimuwaamu kubanga baamusaba dda akawunti ye kyokka n’agaana okugibawa.

Kyamulesire okwogera bino yabadde asabiddwa omulamuzi wa kkooti Enkulu Margaret Oguli annyonnyole lwaki Sejusa tafuna musaala.

Kyamulesire yagambye nti yadde Sejusa mujaasi azze aweereza mu bifo eby’enjawulo omuli ofiisi y’Obwapulezidenti n’omubaka w’amagye mu Palamenti era ng’ebbanga lyonna omusaala abadde aguggya mu Palamenti ne mu ofiisi ya Pulezidenti naye engeri gye yavaayo babadde tebamanyi ng’eri gye bamutuusaako musaala gwe gw’ateekeddwa okufuna mu magye.

Kyamulesire era yannyonnyodde kkooti nti, Sejusa tannatuuka ku myaka Genero gy’alina okuwummulirako kubanga wa myaka 62 ate nga Genero ateekwa kuwummulira ku myaka 65.

Omulamuzi Oguli yamu mubuuzizza ku Gen. Mugisha Muntu eyawummula nga tannaweza myaka 65, Kyamulesire n’addamu nti ensonga ezo Gen. Katumba Wamala y’ayinza okuzinnyonnyola.

Bino biri mu musango Sejusa mw’avunaanira amagye okumugaana okugannyuka ate nga yabasaba mu butongole.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kap1 220x290

Abadde yefuula omusawo n'abba abalwadde...

Abadde yefuula omusawo n'abba abalwadde mu ddwaliro Poliisi emukutte

Jingo1 220x290

Embaga za ba ssereebu; Eya Rebecca...

BW’OBALABALAMU embaga za basereebu, eya Joel Isabirye ne Rebecca Jjingo yekyasinze okumenya likodi.

Mentees4webuse 220x290

Abawala abazaala nga tebanneetuuka...

Abazaala nga tebanneetuuka e Kamuli basomeseddwa emirimu eginaabayamba okulabirira abaana ababazaalamu be babalekera...

Blick002 220x290

Blick ayagala kuwangula mpaka z'e...

Blick agamba nti ssinga awangula empaka z'e Hoima, kyakutangaaza emikisa gye egy'okusitukira mu ngule y'eggwanga...

Rdcwemukonokuddyofredbamwinengakwasageorgentulumeekirabokyesaawaekyamuweereddwaokumwebazaolwemirimugyewebuse 220x290

Ab'e Mukono baanirizza CAO ne RDC...

Ekitebe kya disitulikiti y’e Mukono kyanirizza CAO omuggya ssentebe wa LC V n'amulabula obuteesembereza ba ng’ambo...