TOP

Abasaddaaka abaana basse omulala e Ntinda

By Musasi wa Bukedde

Added 5th May 2016

Wabula ku Lwokubiri nabadde ku mulimu ne bankubira essimu nti Junior bamuzudde mu kabira okumpi n’oluzzi mu Butuukirwa Zooni.

Ntinda1 703x422

Bya EDWARD LUYIMBAAZI

LAWRENCE Mwanje omutuuze mu Kalinaabiri Zooni I e Ntinda - Kigoowa mu Munisipaali y’e Nakawa, amaze wiiki emu ng’anoonya mutabani we Junior Lubwama, 6.

Wadde nga yaloopa ku poliisi bw’abuliddwaako omwana agambibwa okutwalibwa abasajja babiri abaamusanga ng’azannya ne bato banne, era nayo n’eggulawo omusango ku fayiro nnamba SD:60/27/04/2016, Mwanje yali asinga kulowooleza mu nnyina Rozious Asiimwe, gwe yayawukana naye mu 2012 nti ye yageze nga taliiwo n’amubbawo.

Musajjawattu, yawunze ku Lwokubiri bwe baamukubidde essimu nti omwana we amubuzeeko okumala wiiki yasaddaakibwa ne bamusokoolamu ebitundu ebimu.

Abatuuze b’e Ntinda Kigoowa baaguddemu ekikangabwa bwe baagudde ku mulambo gw’omwana wa mutuuze munnaabwe ng’asaddaakiddwa n’okusalwako ebitundu by’omubiri ebimu.

MWANJE ATTOTTOLA: Ku makya ku Lwokusatu lwa wiiki ewedde, omwana wange yali azannya ne banne ku muliraano mbu ne wajja abasajja babiri ne bamuyita, ne bamutwala. Banne nti, baagezaako okumugaana okugenda n’abasajja bano n’abalemerako nti bajja kumukomyawo.

Bino baabingamba nkomyewo okuva ku mulimu ku12:00 ez’akawungeezi ne ntandikirawo omuyiggo gwa Junior nga nsuubira oba alina w’ali n’ambula.

Nakubirako nnyina (Asiimwe) essimu nga ndowooza oba yali amukimye kyokka n’annyombesa nti nve mu kumuzannyisa n’ambuuza ensonga lwaki owuwe gwe nkuba ebisiraani? Wano we nagendera ku poliisi y’e Ntinda ne nzigulawo omusango.

Wabula ku Lwokubiri nabadde ku mulimu ne bankubira essimu nti Junior bamuzudde mu kabira okumpi n’oluzzi mu Butuukirwa Zooni.

Bangambye nti mutabani wange omulala, Geoffrey Walusimbi ye yagudde ku mulambo gwa munne bwe yabadde agoba embwa.

Yamaze kulaba bigatto bya ssandaka ne T-Shirt emmyuufu bye yali ayambadde lwe yabula nga bisuuliddwa okumpi ne gye yabadde ayita ‘embwa enfu’.

Batuuze bannange oluvannyuma baagenze ku poliisi y’e Ntinda eyazze ne yeekebejja omulambo gwa Junior n’ezuula ng’omutwe gwe gwasalwako busalwa, ebitundu bye eby’ekyama byakeculwako ne bitwalibwa ate era nga baamubaaga ne bamuggyamu ensigo ne bagitwala.

ABEEBYOKWERINDA BOOGEDDE: Atwala poliisi y’e Ntinda, Swaibu Taban agambye nti tebannaba kubaako muntu yenna gwe bakwata ku butemu buno nti kyokka baatandikiddewo okubayigga n’okuzuula abali emabega waabwo.

Atwala ebyokwerinda e Kalinaabiri, Rosco Mukuye yavumiridde ekikolwa ky’okusaddaaka omwana ono n’anenya ne Asiimwe okulekawo abaana be mu ddya ate n’atafaayo kudddako mu maka ago kubalambula.

Yagasseeko nti omuntu eyasaddaase omwana ono kirabika tali wala nnyo kubanga ekiwuduwudu kyasangiddwa kumpi n’amaka ga kitaawe.

Yasabye nnannyini kabira omwasangiddwa omulambo okukasaawawo kubanga kafuuse ka bulabe abazigu mwe batemulira abantu n’abayaaye okukommontera enjaga.

NNYINA KY’AGAMBA: Asiimwe yagambye nti mu 2014 yajja n’alaba ku baana era n’abasanga nga bali mu mbeera nnungi n’awakanya eky’oweebyokwerinda nti okunoba ewa Mwanje kya kyavuddeko okusaddaaka omwana.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Benitez22 220x290

Benitez munyiivu olwa Newcastle...

Newcastle yeggyeeko omutendesi Benitez oluvannyuma lw'endagaano ye okuggwaako.

Oketchinstructinghisstudentswebuse 220x290

Oketch obwavu abugobye na kukola...

Mu kukola fulasika z'embaawo mwe nfuna ssente

Wanikaamaguluwebuse11 220x290

Bw'oyamba omuntu azirise nga tonnamutuusa...

By'olina okukola okuyamba omuntu azirise nga tonnamutuusa wa musawo okumutaasa obuzibu obuyinza okumutuukako

Lan1 220x290

Mbogo ne Kibuli beddizza ez'amasomero...

Mbogo ne Kibuli beddizza ez'amasomero mu Badminton

Gr2 220x290

Abagambibwa okutta owa Mobile Money...

Abagambibwa okutta owa Mobile Money babazizza e Zzana