TOP
  • Home
  • Busoga
  • Ow’emyaka 20 akoze katemba ng’afumbirwa owa 75

Ow’emyaka 20 akoze katemba ng’afumbirwa owa 75

By Musasi wa Bukedde

Added 6th May 2016

Omwana yalwala era Jacqueline n’amutwala mu ddwaaliro okujjanjabwa wabula nga talina ssente. Muzeeyi yali akola ku kaabuyonjo y’eddwaaliro era mu kunyumyamu n’omuwala gwe yasooka okweyitira “Muzzukulu” yazuula ebizibu bye yali atubiddemu n’atandika okulabirira omwana mu ddwaaliro era enkolagana n’enywera okukkakkana nga basazeewo okutta ekyama.

Nandego1 703x422

Kiwedde! omuwala andi mu ttaano. Jowayi ng’aloola ne bbebi we nga yaakamwanjula.

Bya EMMANUEL BALUKUSA

OMUWALA ow’emyaka 20 eyafumbiddwa Muzeeyi ayogedde ekyamulesezzaawo abavubuka n’asalawo okufumbirwa ow’emyaka 75.

Waabaddewo okukubagana empawa ku mukolo gw’okwanjula ng’abamu bagamba nti omuwala Jacqueline Nandego 20, yabadde akola nsobi okufumbirwa bakira gwe boogerako nga “jjajjaawe” Jowali Weizoba.

Abamu baakitadde ku Irene Namubiru ng’ono ye jjajja w’omuwala eyamukuza oluvannyuma lw’abazadde b’omuwala okufa; nga bagamba nti y’eyasenzesenze omuzzukulu okufumbirwa omusajja omukadde.

 owali ngakumba ne mwana muwala acqueline Jowali ng’akumba ne mwana muwala Jacqueline.

 

NKOOYE ABAVUBUKA ABAKWABUZI – OMUWALA:

Jacqueline nga kati ye “Khanifa” yagambye nti, yayingidde obufumbo buno nga takakiddwa muntu yenna.

Yaggumizza nti omusajja y’eyamwezuulira n’amusiima era n’asalawo okumuleeta mu bakadde; ate n’omusajja n’atamuyiwa era n’ajja mu kwanjula okwabadde ku kyalo Bujowali mu Njeru Town Council mu Buikwe.

Bukedde bwe yabuuzizza omuwala ekyamutuusizza okusalawo okugenda ne Muzeeyi, yazzeemu nti abadde akooye abavubuka abaafuuka abakwabuzi.

Okuli n’omuvubuka eyamuzaalamu omwana kyokka n’asuulirira obuvunaanyizibwa bw’okumulabirira.

Omwana yalwala era Jacqueline n’amutwala mu ddwaaliro okujjanjabwa wabula nga talina ssente. Muzeeyi yali akola ku kaabuyonjo y’eddwaaliro era mu kunyumyamu n’omuwala gwe yasooka okweyitira “Muzzukulu” yazuula ebizibu bye yali atubiddemu n’atandika okulabirira omwana mu ddwaaliro era enkolagana n’enywera okukkakkana nga basazeewo okutta ekyama.

Jacqueline yagambye nti yazudde nti Muzeeyi afaayo ate amanyi omukwano era waakumulabirira ekiseera kyonna Katonda ky’anaamuwangaaza. Yagambye nti mwetegefu okuzaalira Muzeeyi abaana.

Muzeeyi Jowali amaze emyaka 11 nga talina mukazi oluvannyuma lw’eyali mukazi we okufa. Yalina abaana bana kyokka abasatu baafa n’asigaza omwana omu omuwala era kati wa myaka 14, nga yayogedde naye n’amumatiza ku ky’okufuna ‘maama muto’!

 jajja womuwala amubiru ngazinira ku mukolo gwamuzzukulu we Jjajja w’omuwala Namubiru ng’azinira ku mukolo gwamuzzukulu we.

 

Jjajja Namubiru ng’ali wamu n’omuko Mohammed Weizoba wamu ne Ssenga w’omuwala Ruth Namulugo baabiibizza nga basanyukirako Jacqueline okufuna omubeezi ataamutawaanye.

Baamwetoolozza oluggya enfunda ssatu ng’akalombolombo akakolebwa ku bawala Abasoga okubategeeza nti mu nnyumba mwe bamuggya temukyali kifo kye era alina kunywerera ku musajja amututte.

Okwanjula kwawagiddwa abasuubuzi mu katale ka Nile Open Space Market e Jinja gy’akolera omulimu gw’okuyonja abaakulembeddwa Sheikh Saidi Kirya.

Abako baatonye ebintu ebisaamusaamu okuli emigaati esatu, emiti gya ssabbuuni esatu, pakiti z’amajaani 20, omunnyo obuveera busatu ne sukali kiro ssatu wabula ab’oludda lw’omuwala baabisiimye wadde nga byalabise ng’ebitono!

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Deb2 220x290

Omwana eyabuziddwawo asattizza...

Omwana eyabuziddwawo asattizza abazadde

Got2 220x290

Aba bbanka enkulu abaakwatiddwa...

Aba bbanka enkulu abaakwatiddwa bagguddwaako emisango 2

Mim1 220x290

Engeri muwala wa Mirundi gye yafudde...

Engeri muwala wa Mirundi gye yafudde ng’azaala

Pop1 220x290

‘Poliisi yaakazuula emmundu ssatu...

‘Poliisi yaakazuula emmundu ssatu

Kat1 220x290

Eyasse owa Mobile Money bamukutte...

Eyasse owa Mobile Money bamukutte amasasi ne gavuga