TOP

Gavt. eweze Ttivvi okuweereza ebya Besigye obutereevu

By Musasi wa Bukedde

Added 6th May 2016

Ekiragiro kino we kyajjidde, aba FDC babadde bamaze ebbanga nga bakunga abantu baabwe okweyiwa mu Kampala n’eyo yonna gye bali okutongoza kampeyini y’okulemesa pulezidenti Museveni okulayira era nga kaweefube ono yabadde wa kutandika Lwakuna lwa wiiki eno

Muhwezi1 703x422

Abaserikale mu bitundu by’e Kinnawattaka.

Bya Basasi baffe

GAVUMENTI eweze TV zonna obutaddamu kuweereza bintu bya Dr. Kiiza Besigye ebikwata ku kwekalakaasa obutereevu n’erabula nti nnannyini Ttivvi yenna aneewaggula ajja kubonerezebwa.

‘Kino kiragiro, tewa TV yonna essa essa Bessigye n’aba FDC obutreevu ku lutimbe nga ali mu kwekalakaasa kimenya mateeka’, minisita avunaanyibwa ku by’amawulire Maj. Gen Jim Muhwezi bwe yategeezezza.

Kino kyaddiridde ekiragiro ekyafulumizibwa omumyuka wa Ssaabalamuzi Steven Kavuma ekyawera ebikolwa bya FDC byonna eby’okwekalakaasa n’okugezaako okulemesa pulezidenti Museveni okulayizibwa nga May 12, 2016 e Kololo.

 Minisita Muhwezi mu lukiiko lwa Bannamawulire eggulo

Bannannyini mikutu gya mpuliziganya gyonna omuli ne leediyo n’abo abagikolako balabuddwa obutakkiriza muntu yenna kusinziira ku mikutu egyo n’akunga abantu beekalakaase Maj. Gen. Muhwezi yatuuzizza olukungaana lwa bannamawulire ku Media Centre ku Lwokuna nga lwetabiddwaamu baminisita okuli Fred Ruhindi nga ye Ssaabawolereza wa gavumenti n’omumyuka we Mwesigwa Rukutana.

Ssaabaduumizi wa poliisi Gen. Kale Kaihura wamu n’akulira ekitongole ekirungamya ebifulumira ku mikutu gy’amawulire Yinginiya Godfrey Mutabazi nabo baalwetabyemu ne babaako bye bannyonnyola.

Minisita Ruhindi yannyonnyodde nti ekiragiro kino kyakoleddwa kukuuma Bannayuganda nga bali mu ddembe n’okukakasa nti emikolo gy’okulayiza Museveni eyalondebwa abantu mu mateeka tegitaataaganyizibwa nga aba FDC bwe bali mu kukunga.

Minisita Rukutana yatangaazizza nti gavumenti ntuufu okukugira omuntu yenna agezaako okweyambisa eddembe lye mu ngeri ekosa abalala era kino kyeyakoze mu kugaana Besigye ne banne obutakozesa mikutu gya mpuliziganya kuleetawo bwegugungo mu ggwanga.

Ekiragiro kino we kyajjidde, aba FDC babadde bamaze ebbanga nga bakunga abantu baabwe okweyiwa mu Kampala n’eyo yonna gye bali okutongoza kampeyini y’okulemesa pulezidenti Museveni okulayira era nga kaweefube ono yabadde wa kutandika Lwakuna lwa wiiki eno.

Ekyabaddewo w


 

abula mu bitundu eby’enjawulo, abamu ku bawagizi ba FDC baagezezzaako okwekalakaasa kyokka poliisi eyabadde eyiiriddwa buli ne balemesa era bangi ku bo ne bakwatibwa. 

 

E Kasangati ewa Dr. Besigye, poliisi yakedde kumusalako nga tasobola kufukuma mu makage era mwe yasiibye olunaku lwonna Amaka ga Erias Lukwago nago gaazingiddwaako n’alemesebwa okufuluma wadde yabadde asabye abasirikale bamukkirize agende alabe omusawo kubanga yabadde teyeewulira bulungi olw’okusula mu kaduukulu ku Lwokubiri lwe baamukwata.

Okusaba kwe abaserikale baakugaanyi nga bagamba nti bw’aba awulira bubi akubire omusawo we essimu ajje amujjanjabire awaka naye nga tabamukkirizza kufuluma.

Mu Kampala wakati, poliisi yakutte abavubuka 10 abaabadde beekalakaasa netegeeza nti bano egenda ku bsasimba mu kkooti ebavunaane okumenya ekiragiro ekyagaanyi okwekalakaasa awantu wonna.

Abaakwatiddwa kukiko Ferdinand Lutta, Moses Ankunda, Ambrose Mukwaya, Otheno Gitta, Tadeo Okwong n’abalala.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omwanangaluaekikajjyo11webuse 220x290

Endabirira y'amannyo g'omwana eneegakuuma...

Okuziyiza amannyo g'omwana okulwala mu bukulu otandika mu buto okugayonja n'okugajjanjaba.

Katereggangalagaapozatundawebuse 220x290

Okutunda apo nkuguzeemu embuzi...

Nasooka kusiika capati e Iganga ne nzija e Kampala okutunda apo mwe nfuna 200,000/- omwezi era nguzeemu embuzi...

Sserunkuuma2webuse 220x290

Ebbumba eryenyinyalwa abasinga...

Bulikye mmumba nkijjuukirirako maama eyambeererawo mu bulamu kyokka n'atabaawo kugabana ku ntuuyo ze.

Kap2 220x290

Agambibwa okusobya ku w’emyaka...

Agambibwa okusobya ku w’emyaka 78 bamulagidde yeewozeeko

Muv1 220x290

Ebizibu ebizze bigwa e Rakai ebitalyerabirwa...

Ebizibu ebizze bigwa e Rakai ebitalyerabirwa Kennedy Kyakuwa