TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Ssemaka akutte mukazi we n’omuzimbi ki ekyazzeeko ?

Ssemaka akutte mukazi we n’omuzimbi ki ekyazzeeko ?

By Musasi wa Bukedde

Added 8th May 2016

Ssemaka akutte mukazi we n’omuzimbi ki ekyazzeeko ?

Jon1 703x422

Sseguya, Joan Lule (wakati) ne Annet Nabirye gwe baakwatira mu bwenzi.

ISSA Sseguya, omutuuze ku kyalo Namugongo mu Kira Munisipaali, yafuna obutakkaanya ne mukyala we Annet Nabirye obumaze emyaka munaana lwa kumukwata n’omusajja omulala ayitibwa Mukwasi.

Mu kiseera ekyo baalina omwana wa myezi esatu. Era kino kyamuleetera okwekengera omwana kwe kumuleeta ku pulogulaamu Taasa Amaka go. Mukwasi yali muzimbi wa waka, kyokka Issa yamusanga ali ku mukazi we beegadanga!

Sseguya agamba: Nkolera wala, newankubadde nga nkomawo awaka buli lunaku. Okukwata mukyala wange namusanga n’omusajja ku nnyumba y’omuliraano we baali bazimba ennyumba.

Mu kuzimba sayiti eyo, nnyiniyo yansaba okumuterekeranga ebintu abazimbi bye bakozesa mu kikomera kyange kuba nze nali muliraanwa we nga talina w’abitereka.

Kino nakikkiriza wabula kyali tekitegeeza mukozi we amaka gange kugafuula gage. Mukwasi yali omu ku bazimbi, naye nga sayiti esemberedde okuggwa, abazimbi abamu baagenda kyokka ye n’asigala kye namanya oluvannyuma nti nnyini nnyumba yali amuleseewo amukuumireko ekizimbe kye.

Ndi musajja maneja wa mupiira era nnina abaana abazannya akapiira eyo e Namugongo be nteekamu ssente. Ndowooza bwe nagendanga ku kapiira, nga ne Mukwasi eno asigala azannya akapiira ne Nabirye.

Ekiseera kyatuuka nga Mukwasi afuuse muntu wa waka nga ne bwe mmusanga mu kikomera kyange simulinaako mutawaana kubanga n’abaana bange bagendayo ewuwe era nga mikwano gye, kumbe yali asala lukwesikwesi lwa kuganzizaako mukazi wange, ndowooza ng’ayita mu kukola olukwanokwano ku baana!

NNEEKENGERA MUKWASI Lumu mba ndi mu nnyumba, Mukwasi n’ajja ku makya okunona ekitiiyo ng’alina ebintu by’agenda okukola. Ku kye nalaba ndowooza kuno kwali kwekwasa, yalina misoni ndala.

Bwe nawulira eddoboozi nalingiza mu ddirisa, kuba omukyala yali bweru ng’ayoza. Tebandaba, nagenda okulaba nga Mukwasi aliko obugambo bw’ayogera naye saabuwulira, wabula ηηenda okulaba atambula ayolekera ggeeti, naye ng’agenda tagenda nga bw’omanyi omuntu omukwano gwe gusibye enteegateega.

 musawo ngeteekateeka seguya okumuggyako omusaayi Omusawo ng'eteekateeka Sseguya okumuggyako omusaayi

 Bwe yatuuka ku ggeeti n’akyuka ng’olaba ebirowoozo byonna bisigadde gy’ava (ewa Nabirye)! Nasirika naye ng’omutima guηηamba wandibaawo ekigenda mu maaso. Lumu nakomawo ku ssaawa 8:30 emisana ne nkuba eηηombe nga tewali aggulawo kikomera, kwe kuzikiza mmotoka nnyingire ndabe ogubadde!

Munda nasangamu baana abaali batudde nga bazannya byabwe. Bwe nababuuza nnyaabwe gy’ali, nga tebamanyi. Ssaabamalirako biseera ne nfuluma okutandika omuyiggo gwa mukazi. Omutima gwaddukira ewa muliraanwa, okulaba nga waliwo siripa z’ewange wange. Mba ndi awo njiiya eky’okukola ηηenda okulaba ng’oluggi baluggula, era Mukwasi ye yaggulawo. Kwe kumbuuza mu ngeri ey’okutya nti, ‘Okola ki wano?’ nze kwe kumubuuza nti ye kiki ekiri mu nju omwo? Nagezaako okwagala okuyingira era wano waaliwo akanyoolagano.

Bwe twayingira mu nnyumba nga mpise n’abantu abalala, okukebera Nabirye ne tumusanga mu kisenge ekimu. Ate nali namulabula dda ku Mukwasi, kuba nali mmaze okusanga omwana enfunda nga nnya ng’atwalira Mukwasi emmere, nagezaako okumukwata ne mmulagira obutadduka. Kuba amazima wadde baali mu nju nga beggalidde nali simusanze mu kikolwa, ate nga bonna baali mu ngoye zaabwe.

Namugoba n’agenda, yagenda wa mukwano gwe era Mukwasi ne bamusiba ku poliisi. Wabula oluvannyuma nasalawo babate. Kye nva nasazeewo omwana wange Hakim Ssembuya okumutwala ku musaayi, nkakase oba wange nneme kufa ate bamukaayanire nga musajja mukulu. NABIRYE KY’AGAMBA Kituufu Sseguya yankwata era seegana, ate siyinza kugamba nti nalina ensonga yonna entwala mu bwenzi kubanga buli kimu baze akimpa.

Kale ku olwo nali ntutte lyanda lya ssimu ya muliraanwa wange ewa Mukwasi, amucajingireko. Bwe natuuka eyo Mukwasi n’ankwata omukono n’ansika. Enduulu saazikuba! Bwe twatuuka eyo ne tubeera naye. Kyokka okunsika nali mmaze okumuwa eryanda nga ηηenda n’ampita ne nkomawo olwo kwe kunsika omukono.

 Wabula nze nali sibyagala! Emmere gye naweerezanga Mukwasi baali bansasula okubafumbira, baaliwo babiri ne munne omulala. Kituufu baze yandabulako ku bya Mukwasi naye yandabula kumuwa emmere kyokka nange nali saagala kumugamba nti nali mbafumbira nga bampa ssente. Kye nkakasa ye omwana wa mwami wange Sseguya, naye ssinga kisangibwa ng’omwana si wa baze kye mmusaba kunsonyiwa, omwana agende ewa kitaawe omutuufu! Sseguya agamba: Ssinga omwana aba nga si wange, Mukwasi ajja kukola akakalu okulabirira omukyala n’omwana we.

Waakiri nja kubaako kye mbawa batandikireko ne bba kuba ne Mukwasi naye munaku. Sirina laavu, naye mwattu nnina ekisa. Naye bwe nsanga ng’omwana wange, nninamu ekirowoozo ekisonyiwa Nabirye kubanga ekituufu Nabirye nkyamwagala kubanga maama w’abaana bange, eyamwendako yamugula wa?” Nabirye alayira nga bw’atalikiddamu!

Sseguya awolereza mukazi we Nabirye nga bw’atayenda, era gwe mulundi ogwasooka okumukwata! Pulogulaamu Taasa Amakaago eweerezebwa Joan Lule ku Bukedde Tv buli lwamukaaga ekiro. Baagenze okukebera omusaayi gw’omwana Hakim Ssembuya nga ddala kituufu wa Issa Sseguya.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Pala 220x290

Ebya Nagirinya biyingiddemu omukazi...

POLIISI eyongedde okugaziya okunoonyereza kwayo mu kutemula Maria Nagirinya, bwegguddewo fayiro ku mukyala omu...

Rermanamakula 220x290

Rema amalirizza okugula eby’omukolo...

OMUGOLE Rema Namakula akomyewo okuva e Buyindi ne mu Butuluki na ssanyu era agamba tewali ayinza kwekiika mu mukolo...

Img20190831wa0235209984377320145757 220x290

Ebikwata ku kusoma kwa Sebunya...

HAMZAH Sebunya, bba wa Rema omupya yasooka kukuguka mu by’okukebera omusaayi mwe yatikkirwa dipulooma mu November...

Manya 220x290

Omukyala asusse okumpisiza omukka...

SSENGA, Mukyala wange alina omuze gw’okumpisiza omukka ate nga guwunya bubi ddala. Tusula mu muzigo kale bw’akikola...

Gnda 220x290

Omukyala kaalaala alumya omutima...

NG’OMUKWANO bwe bagamba nti butiko tebukkatirwa nange olugero olwo nali n’alukwata bulungi era ebbanga lye nnamala...