TOP

Gavumenti eyise Putin owa Russia ku kulayira

By Joseph Makumbi

Added 10th May 2016

Omukolo gujja kuggulwawo n’okwogera kwa ssentebe w’akakiiko k’ebyokulonda, Ying. Badru Kiggundu ng’ayanjulira abantu Pulezidenti eyawangula akalulu akaakubwa nga February 18.

Putin 703x422

Pulezidenti Putin

ABAKULEMBEZE b’amawanga 13, be basuubirwa okwetaba ku mukolo gw’okulayiza Pulezidenti Museveni ku Lwokuna nga May 12.

Abakulembeze abaayitiddwa okubeerawo kuliko; Robert Mugabe owa Zimbabwe, Jacob Zuma owa South Afrika, Teodoro Obiang Nguema Mbasogo owa Equatorial Gueinea, Kabaka Letsie III owa Lesotho, Salva Kiir Mayardit owa South Sudan, Pombe Magufuli owa Tanzania, Ibrahim Boubacar Keïta owa Mali, Faure Gnassingbé owa Togo, Idriss Déby owa Chad, Mulatu Teshome owa Ethiopia, Kabaka Mswati owa Swaziland, Xi Jinping owa China, Muhammadu Buhari owa Nigeria, ne Vladimir Putin owa Russia.

Okusinziira ku Frank Tumwebaze Kajiji, minisita w’ensonga z’Obwapulezidenti ne Kampala eyayanjudde enteekateeka z’omukolo guno yagambye nti, amawanga okuli Rwanda, India, Japan, Girimaani zigenda kuweereza abakungu okuva mu Gavumenti era nga basuubira n’ababaka okuva mu Gavumenti eziri mu mukago gw’obuvanjuba bwa Afrika n’abaliko ba Pulezidenti nga Ali Hassan Mwinyi owa Tanzania ne Mwai Kibaki owa Kenya.

Tumwebaze yagambye nti, omukolo gugenda kutandika ku ssaawa 1:00 ey’oku makya abagenyi abayite batandike okutuuka okuli n’ababaka ba Palamenti abakadde n’abapya ne bannabyabufuzi bonna okuli n’abavuganya ku bwapulezidenti omuli ne Dr. Kizza Besigye ne bannaddiini.

Pulezidenti Museveni ne mukyala we Janet Kataha Museveni baakutuuka ku ssaawa 4:40 ez’oku makya abagenyi bonna nga bamaze okutuuka ne Ssaabalamuzi Bart Katureebe agenda okukulemberamu omukolo ng’amaze okutuuka.

Omukolo gujja kuggulwawo n’okwogera kwa ssentebe w’akakiiko k’ebyokulonda, Ying. Badru Kiggundu ng’ayanjulira abantu Pulezidenti eyawangula akalulu akaakubwa nga February 18.

Ajja kuyita Ssaabalamuzi okulayiza Pulezidenti omulonde era olunaamala okulayizibwa Ssaabalamuzi ajja kulaga w’alina okuteeka omukono ku birayiro.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bobiwine 220x290

Babakutte n'emijoozi gy'abawagizi...

Eggulo abavubuka ba DP bakwatiddwa n’emijoozi egisoba mu 500 ne giyoolebwa okumpi ne ofiisi zaabwe nga kigambibwa...

Pala0 220x290

Boogedde ebikankana mu kuziika...

DR. David Mugimu eyafudde ng’alumiriza abaserikale okumunyagako obulindo bw’ensimbi, eggulo yaziikiddwa e Kagganda...

Occc 220x290

Abagagga 36 baggyiddwaako abaserikale...

ABAGAGGA mu bitundu bya Kampala, Wakiso, Mukono, n’awalala baggyidwaako abaserikale abaabaweebwa eyali akulira...

Nyimba 220x290

Balaze embalirira y’ensimbi z’emisinde...

KATIKKIRO Charles Peter Mayiga yeebazizza minisitule y’ebyobulamu olw’okukwata obulungi ebintu Obwakabaka bye bwagiwa...

Mknsamia4 220x290

Omubaka gwe yazaalamu omwana n'agaana...

Omubaka wa palamenti agaanye okuwa obuyambi omuwala gwe yaggya mu bbaala n’amuzaalamu omwana-yeekubidde enduulu...