TOP

Owa bodaboda asse bbebi wa muganzi we

By Ali Kizza

Added 10th May 2016

Ono ye mwana yekka Oliver Nabuule gw’abadde alina era baamusaze ng’alaba! Yafubye okulwana okumutaasa kyokka bba, Bosco Kabugo, n’amusinza amaanyi era n’atuukiriza eky’okutta omwana ono ow’omwaka ogumu n’ekitundu.

Nabuule1 703x422

Lukwago ne keeki y’amazaalibwa ge gye buvuddeko. Akambe kano k’akutte, Kabugo ke yakozesezza okumusala obulago.

  Bya ALI KIZZA NE VINCENT KATO

OMWANA Moses Lukwago ng’ali ku kabaga k’amazaalibwa ag’omwaka ogumu, baamukuba ekifaananyi ng’akutte akambe; wabula nnyina teyamanya nti akambe ako ke kagenda okukozesebwa okutta Bbebi ono!

Ono ye mwana yekka Oliver Nabuule gw’abadde alina era baamusaze ng’alaba! Yafubye okulwana okumutaasa kyokka bba, Bosco Kabugo, n’amusinza amaanyi era n’atuukiriza eky’okutta omwana ono ow’omwaka ogumu n’ekitundu.

Kabugo yasoose kuwera nga bw’agenda okukola akatiisa. Yaggadde oluggi era n’abaka mukazi we Nabuule, 18, ne batandika okweriga.

Yaggunze Nabuule ku ttaka era mukaziwattu, Kabugo kwe kubuukira omwana n’amuwalula ng’amutwala mu ntebe eziri mu ddiiro lyabwe. Yamugalamizza mu ntebe n’abaka akambe n’atandika okusala.

 kaadi ya abugo eya bodaboda eraga siteegi ye Kkaadi ya Kabugo eya bodaboda eraga siteegi ye.

 

Nabuule yawulidde omwana akaaba nnyo, eby’okweziribanga n’abisiba ku mpagi n’ajja, okutuuka wali nga bba Kabugo afutubbadde ku mwana amusala.

Yaleekaanye nga bw’agezaako okukwata bba emikono kyokka n’amuweereza ensambaggere ezaamusudde era olwavudde ku ttaka yadduse nga bw’aleekaana okuggula oluggi nga bw’ayita baliraanwa kyokka nga Kabugo asibyeko ekkufulu.

Omusajja obwedda asala omwana nga bw’awereekerezaako ebigambo nti; “Nnina kumala kuyiwa musaayi gwa muntu, okufuna emirembe mu nsi!”

Olwakakasizza nti omwana afudde, olwo Kabugo kwe Kulumba Nabuule. Yazzeemu okumulwanyisa, eky’omukisa abantu we baatuukidde ne batandika okukoona omulyango n’eddirisa.

Kabugo yalabise ng’atidde era akambe ke yabadde akutte ke yakozesezza okwesala obulago.

Amaanyi gaamuweddemu mpola olw’omusaayi omungi ogwabadde gumuvaamu era Nabuule n’anoonya ekisumuluzo okuggulawo oluggi. Okutuuka ku mwana nga n’omulambo gunnyogoze!

Nabuule bw’aba attottola ebyabaddewo, yeevuma ekyamunobya ewa John Bosco Luzze (taata w’omwana eyattiddwa) n’afumbirwa ewa Kabugo. Omwana yayanguyirwa okwegazaanyiza ewa Kabugo ow’Enkima kubanga ne Luzze wa Nkima.

Kabugo naye yayanguyirwa okutegeeza abamu ku baliranwa gy’abeera mu Kikajjo Central (mu ggomboloa y’e Nsangi mu Wakiso) nti oyo omwana wuwe bwoya.

 abuule maama womwana eyattiddwa Nabuule, maama w’omwana eyattiddwa.

 

OMUSAJJA ABADDE TAVA MU MASABO

Nabuule yagambye nti yafumbirwa Kabugo mu December 2015 era babadde baakamala emyezi mukaaga gyokka wadde nga babadde tebeeyanjulanga mu bazadde.

Ku ludda lw’omukazi, Kabugo abadde amanyi Ssenga wa Nabuule yekka, abeera ku kitundu kye kimu mu Kikajjo. Omusajja yatandika eby’okweraguza n’okuleeta abasamize awaka nti bamukolere ku mpewo z’ekika ezimutawaanya.

Yagenda okuwulira ng’ate Kabugo nti Nabuule ye yaleeta ebisiraani awaka nti era okuva lwe yamuwasa, ssente zibula. Yakimussaako nti ewaabwe (mu bazadde ba Nabuule) baamusindikira eddogo.

Abamu ku ba bodaboda, b’abadde akola nabo ku siteegi ya Pentagon mu Ndeeba, baagambye nti Kabugo yasooka kwemulugunya nti okuva lwe yafuna omukazi omulala (Nabuule) takyafuna bakaasitooma era n’atandika okutambula amasabo ne pikipiki n’atandika okugissaamu eddagala n’okusibako ensiriba.

Abakugu mu byenfuna bagamba nti bodaboda tezikyavaamu ssente kuba bangi nnyo abazirimu okusinga ku bwetaavu obuliwo. Kabugo oboolyawo kwe kulowooza nti waliwo abamuloga, nga yeerabidde nti n’enfulumya ya ssente ng’olina omukazi ow’omwana, eyawukana ku y’ekiwuulu.

Nabuule yagambye nti olutalo olw’amaanyi lwatandise ku Ssande ekiro: Zaabadde ssaawa 2:30 ez’ekiro omwami n’akomawo era olwatuuse awaka n’ahhamba takyanneetaaga akooye eddogo ly’ewaffe n’andagira mmuviire.

Yansibidde ebweru kwe kumusaba omwana wange n’ahhamba tagenda kumumpa era yalabye nnemeddeko nnyo kwe kunkasukira akasweta nti oyo ye mwana gwe mba hhenda naye kuba ono (gwe yasse) yafuuka wuwe, talina kitaawe mulala.

Nnayise nnannyini nnyumba ne mmunnyonyola ensonga zange wabula ne bagezaako okwogera ne Kabugo n’alemera mu nnyumba ne bandagira nsooke mmuleke. Nange kwe kugenda ewa ssenga wange atuliraanye, gye nasuze.

Nakedde ku makya ku ssaawa 12:30 (eggulo) ne nzira awaka okulaba omwana kyokka saasanzeewo muntu. Baliraanwa be bandeetedde omwana ne bahhamba nti omwami yamubalekedde ekiro ng’agenda kubanga bwe yalabye ng’enze nti naye n’agenda, teyasuze waka.

Wano omusajja we yatuukidde n’atusibira mu nju n’atandika obutemu. Ismail Matovu, amyuka ssentebe w’ekyalo, yategeezezza nti Kabugo okweraguza kye kyavuddeko obuzibu.

Kabugo yatwaliddwa mu ddwaaliro e Mulago ng’akuumibwa poliisi. Aduumira poliisi y’e Nsangi, Henry Kisubi, yagambye nti Kabugo yagguddwaako ogw’obutemu ku SD:08/09/05/16.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Seb1 220x290

Beefudde abasawo ne bamufera obukadde...

Beefudde abasawo ne bamufera obukadde 15

Gab1 220x290

Omutaka Gabunga awummuzza basajja...

Omutaka Gabunga awummuzza basajja be

Pip1 220x290

Aba People Power bongedde okwenyweza...

Aba People Power bongedde okwenyweza

Lat1 220x290

Enkungaana za Bobi Wine zirinnyiddwamu...

Enkungaana za Bobi Wine zirinnyiddwamu eggere

Ch16 220x290

Ebyaviiriddeko Rema akuding'ana...

Ebyaviiriddeko Rema akuding'ana ne Evans