TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Poliisi eboye empapula z'okulangirira Besigye ku bwa Pulezidenti

Poliisi eboye empapula z'okulangirira Besigye ku bwa Pulezidenti

By Musasi wa Bukedde

Added 10th May 2016

Empapula zino zibadde ziraga nti Besigye yawangula akalulu n’ebitundu 52 ate Museveni 44,kubaddeko n’ebigambo ebigamba nti “ we worn we were not declared ,we were denied to go to court,our audit demand not listened to,Swearing in is here” n’ebirala bingi.

Fdc2 703x422

Empapula ezaakwatiddwa nga zisibiddwako ng'ebizibiti

BYA RONALD MUBIRU

Poliisi ezinzeeko ekitebe kya FDC e Najjanakumbi n’ebalemesa okukuba empapula ezibadde zigenda okukozesebwa mu kulangirira Dr. Col. Kizza  Besigye ku bwa Pulezidenti bwa Uganda nga 12 May 2016 ku Lw’okunna mu kisaawe e Nakivubo.  

Bino bibaddewo ku ssawa emu ey’okumakya poliisi ng’ekulembeddwamu Andrew Kaggwa adduumira poliisi mu Kampala South ne basajja be bwe bazinzeeko w’offiisi za FDC n’etandika okwaza buli wamu okutuusa lw’egudde ku kisenge mwesanze omusajja Sperito Mpuuga ng’ali ku mulimu gw’okulaba ng’akuba empapula ezirangirira obuwanguzi bwa Besigye.

Empapula zino zibadde  ziraga nti Besigye yawangula akalulu n’ebitundu 52 ate Museveni 44,kubaddeko n’ebigambo ebigamba nti “ we worn we were not declared ,we were denied to go to court,our audit demand  not listened to,Swearing in is here” n’ebirala bingi.  

kyuma ekibadde kikozesebwa mu kukuba ebiwaandiiko ekisangiddwa mu sitoowa ya Ekyuma ekibadde kikozesebwa mu kukuba ebiwaandiiko ekisangiddwa mu sitoowa ya FDC

 

 Mu kizimbe omubadde mukolerwa emirimu gino musangiddwamu ekyuma ekibadde kikozesebwa okukuba empapula zino n’obutiba  wamu n’ebibokisi by'empapula ezibadde zirindiridde okukubwa.

Empapula zino zasangiddwa nga zikwekeddwa mu ngalama wagulu n’obutiba obubadde bukozesebwa gye zibadde zigenda okuggibwa batandike okuzigabira abantu mu bitundu by’eggwanga ebyenjawulo.            

Mu kwaza kuno poliisi ekutte abassajja babiri okuli Sperito Mpuuga abadde akola omulimu gw’okukuba empapula zino ne Bonefance Lokoli ng’ono abadde akola ng’omukuumi ku kitebe kya FDC e Najjanakumbi babayambeko okwongera okufuna obujulizi bane ababadde emabega we kintu kino.            

Andrew Kaggwa addumira poliisi mu Kampala south akakasizza nga bwe bamazze ebanga baketta ebikolebwa ku kitebe kya FDC wabula Leero bagudde ku mpapula eziraga nti akalulu kabibwa ate endala nga ziyita abantu bagende mu bungi e Nakivubo nga 12.  

 Andrew ategezezza nti bagenda kwongera okukola okunoonyereza okwamaanyi okuzuula abanene mu FDC ababadde emabega we kintu kino  nabo bakwatibwe.

“Kuno kulya mu nsi lukwe kubanga bamala dda okulangirira Pulezidenti Museveni era tugenda wa Ssabawambi wa gavumenti etubuulire ekituufu eky’okukolera abakwatiddwa” Andrew Kaggwa bwategezezza.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

3f74e568a3684a1eac5d6d555644365318 220x290

Magufuli alagidde abaddukanya ekidyeri...

OMUWENDO gw’abantu abaafiiridde mu kidyeri mu nnyanja Nnalubaale gwongedde okulinnya! Pulezidenti wa Tanzania John...

Sevo 220x290

Ab'e Rubirizi basabye Museveni...

ABAKULEMBEZE b’omu disitulikiti y’e Rubiriizi basabye Pulezidenti Museveni okukoma ku bajaasi ba UPDF okukendeeza...

Budgetkasaijaweb 220x290

Bawera kusimbira kkuuli enteekateeka...

ABABAKA ku kakiiko ka palamenti akavunaanyizibwa ku byobulimi bawera kusimbira kkuuli enteekateeka z’okuyisa embalirira...

Kola 220x290

Mukolerere obukadde bwammwe - Minisita...

MINISITA omubeezi ow’ebyenguudo Gen. Edward Katumba Wamala akubirizza abantu okukolerera obukadde bwabwe nga bakyalina...

42312484102150760182472974931861717081653248n 220x290

Bobi Wine eby’okutulugunya abantu...

BOBI Wine ne banne eby’okubatulugunya babitutte mu kibiina ky’amawanga amagatte (UN ), era boongedde okukungaanya...