TOP

Eyabba emmotoka ya Mirundi alonkomye b’abba nabo

By Musasi wa Bukedde

Added 13th May 2016

Omusango gw’okubba takisi Tamale Mirundi yaguggulawo ku fayiro nnamba SD: 37/05/12/2015 ku poliisi e Mulago.

Mirundicar1 703x422

Frank Mugisha avuuga emmotoka eziba zibbiddwa okutuuka e Busia ku nsalo.

Bya SHAMIRAH NABIDDO

DDEREEVA eyaluse olukwe okubba takisi ya Tamale Mirundi ne yeekukuma, omwanawe afudde kibwatukira ne bamukwata ng’azze okuziika era oluvuddeyo n’alonkoma banne banyaga nabo

Mu December w’omwaka oguwedde, Moses Ssebandeke yabuzaawo takisi nnamba UAX 203B eyali emuweereddwa nga ddereeva ne yeekukuma, kyokka yavuddeyo ng’omwana we afudde n’abuulira poliisi engeri gye banyagamu mmotoka ne bazitunda e Kenya n’amawanga amalala n’ababuulira ne banne baabadde anyaga nabo.

Omusango gw’okubba takisi Tamale Mirundi yaguggulawo ku fayiro nnamba SD: 37/05/12/2015 ku poliisi e Mulago.

 akim ali ku kkono ne oseph anyezaki Hakim Sali (ku kkono) ne Joseph Banyezaki.

 

Be yaloopye kuliko; Keiru Mutwalibu ddereeva wa takisi mu Kisenyi, Steven Kaka eyali akolera ku payini ewa Sebuufu, Brain Wandera eyeeyise omusomesa e Kenya ng’abeera ku nsalo e Busia ng’emmotoka ze babba y’azinoonyeza akatale e Kenya n’okusasula ababbi.

Mu kunoonyereza kwa poliisi yakutte ne Joseph Banyenzaki, eyabbye emmotoka ya Benson Kabaleme ow’e Kannungu, nga baagibbidde Mbarara ne babakwatira e Busega mu Kampala. Joseph Banyenzaki mutabani wa George Banyenzaki omubalirizi w’ebitabo e Mbarara nga guno mulundi gwakubiri nga bamukwatira mu bubbi bw’emmotoka.

Omulundi ogwasooka yabba kabangali ya kitaawe UAP 512G nga poliisi yagizuula emaze okuyingira e Kenya. Banyenzaki bwe yakwatiddwa yategeezezza nti abba ne mukwano gwe Hakim Ssali.

Akulira okunoonyereza ku buzzi bw’emisango ku poliisi y’e Mulago, Moses Bumba yagambye nti ekibinja kino kinene ng’obukodyo bwe bakozesa bwe bumu nga n’emmotoka ze babba basinga kuzitunda Kenya n’amawanga ag’omuliraano.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

131736705311775037218421032422864993791094n 220x290

Omusajja gwe baakwatidde ewa Kirumira...

Francis Mayengo omusuubuzi wa sipeeya e Lubowa ku lw’e Ntebe okumpi ne Roofings yakwatiddwa bambega ba poliisi...

Unai 220x290

Emery asonze ku muzannyi gw'agenda...

Banega, muwuwuttanyi era Arsenal yeetaagayo omuzannyi anaaggumiza amakkati.

Supremenew 220x290

Ndirangwa asabye poliisi esookenga...

Ndirangwa agambye nti singa poliisi ekwata omuntu ng’emaze okumunoonyerezaako obulungi ku musango gwe babeera...

Ntebe18 220x290

Ekibaddewo ku kudda kwa Bobi Wine...

Ekibaddewo ku kudda kwa Bobi Wine okuva ku kisaawe e Ntebe okutuuka e Magere mu makaage

Mick 220x290

Mutabani wa Michael Schumacher...

Mick mu kiseera kino avugira mu Formula Three nga yaakawangula empaka za mirundi 6 ku 10