TOP

Mwebale kulwanyisa nseekeezi - Museveni

By Musasi wa Bukedde

Added 16th May 2016

PULEZIDENTI Museveni atenderezza ebitongole by’ebyokwerinda olw’okulwanyisa ze yayise enseekeezi n’emitego gy’abamu ku be yavuganya nabo ku Bwapulezidenti.

Sevo1 703x422

Pulezidenti Museveni (ku kkono) e Kololo ku Lwomukaaga. Owookusatu ku ddyo ye Katumba Wamala, Kayihura ne Byabasaija. Ate wakati ye Janet Museveni.

Bya PASCAL KWESIGA

PULEZIDENTI Museveni atenderezza ebitongole by’ebyokwerinda olw’okulwanyisa ze yayise enseekeezi n’emitego gy’abamu ku be yavuganya nabo ku Bwapulezidenti.

Ku mukolo ogw’enjawulo gwe yategekedde ebitongole by’ebyokwerinda mu kisaawe e Kololo ku Lwomukaaga, Pulezidenti yagambye nti abalabe be baali bategese okukola ebikolobero bingi omuli; obutemu, okwokya ebizimbe, enguzi n’emize emirala egitakkirizibwa mu kulonda kyokka bo (abeebyokwerinda) baakoze butaweera ne bagifufuggaza.

 baserikale omuli aba  abaamakomera ne poliisi nga batema ddansi e ololo Abaserikale omuli aba UPDF, abaamakomera ne poliisi nga batema ddansi e Kololo.

 

“Mulaze nti amawanga g’Afrika bwe galuhhammizibwa obulungi galina obusobozi okwekolera ku byokwerinda byago,” Pulezidenti bwe yategeezezza mu ssanyu n’agattako nti, “Okukuuma obutebenkevu mu ggwanga si mulimu ogubaweebwa omuntu ssekinnoomu wabula Konsitityusoni ne Bannayuganda bonna.”

“Mbayise wano e Kololo okubeebaza omulimu amatendo gwe mukoze. Eno y’emu ku nteekateeka za NRM n’ekiruubirirwa eky’okuzimbira eggwanga eggye ery’amaanyi liremenga okulaajaaniranga ekitongole ky’Amawanga Amagatte (UN) okulidduukiriranga mu nsonga z’obutebenkevu,” Museveni bwe yajjukizza abagenyi be.

 motoka za poliisi ezikozesebwa mu kukuuma obutebenkevu zaayoleseddwa Mmotoka za poliisi ezikozesebwa mu kukuuma obutebenkevu zaayoleseddwa.

 

TETUJJA KUBONGEZA MISAALA

Museveni yagambye nti mu kuzimba eggye ery’amaanyi, Gavumenti yakola okusalawo okukambwe naye nga kwa magezi, bwe yeewala okwongeza abeebyokwerinda emisaala.

“Mu 1964, abajaasi baali bafuna emisaala emisava wamu n’emmotoka kyokka olutalo bwe lwabalukawo, lwe baakitegeera nti mmotoka zaali tezirina mugaso. Bannange, ffe katugende mpolampola, katusooke tumere amannyo aganaaluma. Singa twakwata kkubo lya bannaffe, tetwandibadde na ‘byuma’ bya maanyi,” bwe yategeezezza.

 hameleone yabacamudde ne bamusitula mu bbanga Chameleone yabacamudde ne bamusitula mu bbanga.

 

Ku mukolo guno, yalaze ebyokulwanyisa eby’omulembe ebyaguliddwa amagye ne poliisi omwabadde mmamba n’emmotoka ezikozesebwa poliisi mu kukkakkanya abeekalakaasi.

Yalabudde nti, “Bw’ogezaako okutaataaganya Uganda, oba owedde,” bwe yakkaatirizza. Ku mukolo guno, abaserikale baasaze endongo wakati mu kusaakaanya era abayimbi okuli Jose Chameleone, Bebe Cool ne Catherine Kusasira baabacamudde.

Ekiseera kyatuuse ne basitula Chameleone mu bbanga ng’eno bwe bamubuusabuusa nga ttena wamma ne nkulabira.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kadas 220x290

Bannayuganda abasuubulira e Juba...

SIPIIKA Rebecca Kadaga agambye nti akitegeddeko nti gavumenti ya South Sudan eyagala kweddiza katale akaazimbibwa...

013 220x290

Okuwandiika aba LDU kutandika Lwakubiri...

OKUWANDIIKA abaserikale ba LDU mu Kampala n’emirirwano abagenda okwongera okunyweza eby’okwerinda mu ggwanga ...

Davidkyagambiddwamatovungayogerakumukolo 220x290

Bannakyaggwe mweyongere okuzaala...

SSEKIBOOBO Alex Benjamin Kigongo alagidde Bannakyaggwe okuzaala, n'okubugiriza Kabaka ng'alambula bulungi bwa nsi...

Kccawinssupercup 220x290

KCCA emezza Vipers n'esitukira...

Mike Mutebi yagambye nti sizoni eno alina essuubi ly'okukumba ebikopo byonna.

Seminti5 220x290

Mmotoka ya seminti endala etomedde...

LOOLE ya seminti endala eyingiridde ey'omusenyu ku luguudo lw'e Masaka ddereeva waayo n'afiiriwo ate abalala 5...