TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Ekyuma kya kkansa ekisinga obunene mu Afrika kigenda kusimbibwa

Ekyuma kya kkansa ekisinga obunene mu Afrika kigenda kusimbibwa

By Deborah Nanfuka

Added 16th May 2016

ABALWADDE ba kkansa bafunye akaseko ku matama Katikkiro Ruhakana Rugunda bw’atongozza okutandika okuzimba ekifo omunaasimbibwa ebyuma ebikalirira n’okujjanjaba abalwadde ba kkansa e Mulago.

Nanfu 703x422

Katikkiro Rugunda (mu gaalubindi) , Dr. Tumwesigye (ku ddyo), Dr. Apolo Nsibambi (mu ssuuti enjeru) mu kutongoza awagenda okusimbibwa ebyuma bya kkansa.

ABALWADDE ba kkansa bafunye akaseko ku matama Katikkiro Ruhakana Rugunda bw’atongozza okutandika okuzimba ekifo omunaasimbibwa ebyuma ebikalirira n’okujjanjaba abalwadde ba kkansa e Mulago.

Okuzimba kwatongozeddwa ku Mmande era kusuubirwa okuggwa mu myezi 12 nga kkampuni ya Roko Construction y’eguwomyemu omutwe. Dr. Rugunda yategeezezza nti omulimu gwakuwemmenta obuwumbi 25.

Ekifo kino kyakubeera n’ebisenge mukaaga era mu myaka etaano kijja kuba tekyetaagisa Bannayuganda kugenda bweru kujjanjabwa era ky’ekigenda okuba nga kye kisinga obunene mu Afrika.

Minisita ow’ebyobulamu, Dr. Elioda Tumwesigye yategeezezza nti abantu 80 ku 100 bafa obulwadde bwa kkansa nga tebafunye bujjanjabi n’asaba abantu okujjumbira okwekebeza.

Dr. Jackson Oryem akulira lya kkansa e Mulago yategeezezza nti Mulago ebadde ne bbanka emu kyokka beetaaga ebifo bya bbanka 40 olw’okwanguyirwa okutaasa abantu. Yakubirizza abantu okulya obulungi n’okwewala okufuuweeta sigala.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Pi3 220x290

Apass ajereze Kenzo ne Fik Fameica....

Apass ne Eddy Kenzo bawakana ani asinga okwesala emisono wabaluseewo olutalo lw'ebigambo

Sev2 220x290

Pulezidenti asisinkanye abagagga...

Pulezidenti asisinkanye abagagga abalwanira ebizimbe mu Kampala

Muh1 220x290

Abasuubuzi basattira olw’obukwakkulizo...

Abasuubuzi basattira olw’obukwakkulizo Muhangi bw’abataddeko

Hop2 220x290

Abayizi boogedde eyabookezza

Abayizi boogedde eyabookezza

Bah3 220x290

Don Bahat akomyewo ku maapu.

Don Bahat awangudde engule mu mpaka za baseerebu e South Africa ne yewaana “abangoba bakongojja…”