TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Omwana eyafi iridde ku muliraano akwasizza kitaawe

Omwana eyafi iridde ku muliraano akwasizza kitaawe

By Musasi wa Bukedde

Added 17th May 2016

Omwana eyafi iridde ku muliraano akwasizza kitaawe

Mu1 703x422

POLIISI y’e Iganga ekyukidde jjajja w’omwana eyafi iridde ku muliraano n’emukwata ne bawala be abato.

Bino byabadde Nabidongha mu Proper Zone mu munisipaali y’e Iganga, omwana Abdul Karim Buto, ow’emyaka ebiri, bwe yafi iridde mu kinnya ekyalekebwa kyasamye ku muliraano.

Abadde mutabani wa Bashir Buto ne Beatrice Tibata nga yalabiddwa omu ku batuuze eyabadde alima okumpi n’amaka ga Anthony Mwotaivu, jjajja w’omwana (azaala nnyina) ku Lwokutaano. Ewa Mwotaivu we wali ekinnya omwagudde omwana.

Ssentebe w’ekyalo, Mohammad Waiswa yategeezezza nti Ali Buto (jjajja w’omwana) abadde akaayanira ettaka ne Mwotaivu. Bawala ba Buto (amannya gasirikiddwa kuba tebanneetuuka) be baggyeeyo omulambo, era wano Mwotaivu w’akibassizaako nti beekobaanye okutta omwana bamusibeko omusango.

Omwogezi wa poliisi mu Busoga East, James Mubi yagambye nti ne Mwotaivu bamugguddeko gwa kulagajjalira kinnya kye.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Liv1 220x290

Ssente za Pulezidenti zitabudde...

Ssente za Pulezidenti zitabudde aba taxi b’e Kamwokya.

Jip1 220x290

Ekyabadde mu kutuuza Bisopu w'Abasodokisi...

Ekyabadde mu kutuuza Bisopu w'Abasodokisi e Gulu

Mot2 220x290

Muganda wa Ssemwanga naye bamukutte...

Muganda wa Ssemwanga naye bamukutte ku by’okufera ssente

Pak2 220x290

Mike Mutebi ne Misagga bandibonerezebwa...

Mike Mutebi ne Misagga bandibonerezebwa

Web2 220x290

Ne mu kusoomoozebwa tewava ku Katonda...

Ne mu kusoomoozebwa tewava ku Katonda