TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Eyabbye amatooke bamukutte ne bye yabba mu kkanisa

Eyabbye amatooke bamukutte ne bye yabba mu kkanisa

By Musasi wa Bukedde

Added 17th May 2016

Poliisi y’e Mukoko ng’ekulembeddwaamu Cpl. Mirian Oge, yakkakkaanyizza embeera, Ssewanyana n’abatwala mu maka ge e Matanga mu kufuuza, baazudde ebikompe n’engoye z’obusumba Rev. John Byanyimba ow’ekkanisa y’e Mukoko ababbi gye baamenya mu January w’omwaka guno ne babbamu ebintu.

Casock1 703x422

Rev. Byanyimba (Owookubiri ku ddyo), ng’alaga engoye z’ekkanisa ezabbibwa.

Bya JOHN BOSCO SSERUWU

OMUSUUBUZI eyakwatiddwa olw’okubba amatooke, abatuuze bamukubye ne bamwogeza gy’atereka ebibbe ne basangayo ekikompe n’engoye z’ekkanisa ezabbibwa.

Charles Ssewannyana, omusuubuzi w’amatooke e Mpugwe mu Masaka, abatuuze b’e Kasebuti e Bukulula mu Kalungu baamwekengedde ng’avuga bodaboda ng’amatooke gawandagala ne basalawo okumuwondera.

Abatuuze nga bakulembeddwaamu ssentebe wa LCI, Julius Mujuzi baafunye pikipiki ne bamugoba nga kwe batadde n’okukuba enduulu, era abatuuze baamuzingizza ne Mike Katongole eyabadde avuga.

 sewanyana eyakwatiddwa Ssewanyana eyakwatiddwa.

 

Baababuuzizza gye baabadde baggye amatooke agaabadde gagwa mu kkubo nga tebafaayo kugalonda ne balemwa okubabuulirayo era wano we baatandikidde okubakuba.

Poliisi y’e Mukoko ng’ekulembeddwaamu Cpl. Mirian Oge, yakkakkaanyizza embeera, Ssewanyana n’abatwala mu maka ge e Matanga mu kufuuza, baazudde ebikompe n’engoye z’obusumba Rev. John Byanyimba ow’ekkanisa y’e Mukoko ababbi gye baamenya mu January w’omwaka guno ne babbamu ebintu.

Mu bizibiti ebirala ebyazuuliddwa mulimu, emifaliso, ttivvi, eggaali, engoye, obutebe bwa pulasitiika, bbaatule z’emmotoka, ppaasi nga byonna byatikkiddwa ku mmotoka ne bitwalibwa ku poliisi y’e Mukoko. Cpl. Ogen yagambye nti Ssewanyana baamusanze n’ekisawo nga kijjudde ebyuma ebyeyambisibwa mu kumenya amakufulu n’agamba nti poliisi ekyamunoonyerezaako.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Wab1 220x290

Obukodyo bw’okozesa okulwanyisa...

Obukodyo bw’okozesa okulwanyisa obuggya mu baana

Mal1 220x290

Malokweza ayogedde ebimuwangaazizza...

Malokweza ayogedde ebimuwangaazizza emyaka 90

Kad1 220x290

Maama wa Patrick Kaddu musanyufu...

Maama wa Patrick Kaddu musanyufu olw'omwana we okuteeba ggoolo eyatutte Cranes mu AFCON

Ken1 220x290

Ssentebe w'ekinnawattaka agobeddwa...

Ssentebe w'ekinnawattaka agobeddwa ku bukulembeze mu bunnambiro!

Seb2 220x290

Ababaka bakomezzaawo eby'enfa ya...

Ababaka bakomezzaawo eby'enfa ya Nebanda