TOP

Poliisi ekutte ababbisa emmundu

By Moses Nsubuga

Added 18th May 2016

Onyango yagambye nti, poliisi yasooka kukwata Festo Tumushabe ng’ono ye yalonkoma banne era ne bazuula emmundu ttaano okuli n’eyabbibwa ku poliisi y’e Nalukolongo ng’omuserikale gwe baagiggyako baamusanga akuuma.

Abbisa1 703x422

Poliisi ekutte ababbisa emmundu

Bya Eria Luyimbazi ne Moses Nsubuga

POLIISI ekoze ekikwekweto n’ekwatta abasajja mukaaga, emmundu ttaano, amasasi 30 n’ebyambalo ebiringa eby’ekijaasi bye babadde bakozesa okutigomya abatuuze b’e Bunga, Kansanga n’ebintu ebiriraanyeewo.

Abaakwatiddwa bateeberezebwa okuba nga bebennyigira mu kubba Abachina be babbako obukadde 539 nga baasooka kubba obukadde 309.

Omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano, Patrick Onyango yagambye nti, ekitongole kya poliisi ekya Flying Squad kye kyakutte abasajja bano. Abaakwatiddwa kuliko; George Kawooya ow’e Nakulabye mu Zooni 9, Elias Kafuuma 52 ow’omu Ndeeba, Isma Mutebi, Festo Tumushabe, Peter Kawuki ne Ashraf Kivumbi.

Onyango yagambye nti abasajja bano bateeberezebwa okuba nga be baali mu lukwe lw’okubba kkampuni z’Abachina ezigula enuuni ng’emu baagibbako obukadde 309 ate endala ne baginyagako obukadde 230.

Obunyazi bwonna baabukolera mu mmotoka nnamba UAH 210X nga balina n’emmundu ng’obunyazi bw’aliwo mu January w’omwaka guno. Ababbi era baanyaga emmotoka y’ekika kya Regius nnamba UAQ 092X gye baasuula e Bulenga.

Onyango yagambye nti, poliisi yasooka kukwata Festo Tumushabe ng’ono ye yalonkoma banne era ne bazuula emmundu ttaano okuli n’eyabbibwa ku poliisi y’e Nalukolongo ng’omuserikale gwe baagiggyako baamusanga akuuma.

Yagambye nti ebyambalo by’amagye n’ebyuma eby’empuliziganya poliisi yabizudde oluvannyuma lw’okugenda mu maka ga George Kawooya abadde yeeyita omujaasi wa UPDF, nga mu nnyumba ye baazuddeyo yunifoomu nnya, leediyo za poliisi n’ebintu ebirala eby’ekijaasi Onyango yagambye nti Elias Kafuuma eyakwatiddwa y’omu ku baawamba omukozi wa ttivvi ya BBS, Robert Mwanje gwe baanyagako akakadde k’ensimbi.

Yagambye nti poliisi yakizudde ng’abasajja bano abaakwatiddwa bonna bakolagana kuba Kafuuma eyasembyeyo okukwatibwa ku musango gw’okubba Mwanje bwe baamutuusizza mu kaduukulu nga banne bamumanyi era bamulumirizza okwenyigira mu bubbi mu kitundu ky’e Kansanga ne Bbunga.

Onyango agamba nti bonna abaakwatiddwa baggguddwaako ogw’obubbi n’okusangibwa n’ebintu bya Gavumenti ku fayiro nnamba CRB 406/2016 ne CRB 013/2016. Yasabye abantu abalina kye bamanyi ku basajja bano okutuukirira poliisi basobole okugiyambako.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Aube2 220x290

Aubameyang agugumbudde abakulira...

Kitaawe, Pierre Aubame yazannyirako Gabon emipiira 80 era n’abeerako ne kapiteeni waayo wabula mu makkati ga wiiki...

Mourinho2 220x290

‘Abateebi banjiyeeyo mu maaso ga...

ManU, eyabadde yeesunze obuwanguzi, egudde maliri ne Wolves (1-1), ttiimu eyaakasuumuusibwa okujja mu Premier....

Ony 220x290

Abapoliisi abalabikidde mu katambi...

Poliisi ekutte basajja baayo bana abalabikidde mu katambi nga batulugunya omuvubuka wa 'people power' e Kajjansi...

Cho 220x290

Chozen Blood ayabulidde ekibiina...

Chozen Blood ayabulidde ekibiina kya 'Team No Sleep' agamba ebintu tebitambudde bulungi.

Kirumiranew5 220x290

OKUTTA KIRUMIRA: Basonze olunwe...

AMAGYE geekenneenyezza obujulizi ku kutemula Kirumira ne bagattako ne bye bakung'aanyizza mu bantu abaasoose okukwatibwa...