TOP
  • Home
  • Agebwelu
  • Gavt. ya Uganda etwaliddwa mu kkooti lwa kukyaza Bashir owa Sudan

Gavt. ya Uganda etwaliddwa mu kkooti lwa kukyaza Bashir owa Sudan

By Musasi wa Bukedde

Added 18th May 2016

GAVUMENTI etwaliddwa mu kkooti lwa kuleka Pulezidenti wa Sudan, Omar Hassan Ahmad Al Bashir kuyinaayinira mu Uganda kyokka nga kkooti y'ensi yonna emunoonya olw'emisango gy’okutulugunya n’okutta abantu.

Sudan 703x422

Omar Bashir

GAVUMENTI etwaliddwa mu kkooti lwa kuleka Pulezidenti wa Sudan, Omar Hassan Ahmad Al Bashir kuyinaayinira mu Uganda kyokka nga kkooti y'ensi yonna emunoonya olw'emisango gy’okutulugunya n’okutta abantu.

Nga May 12, 2016 Pulezidenti Bashir y’omu ku bakulembeeze abajja mu Uganda okuyozaayoza Pulezidenti Museveni okuwangula akalulu k’obwapulezidenti ku mukolo ogwali ku kisaawe e Kololo.

Balooya abakolera mu kkampuni ya Legal Brains Trust LTD bagamba nti Bashir okujja mu Uganda n'okutuuka okumuleka okuyinaayina kirabisa Uganda ng’ensi ewagira ebikolwa ebyettemu era ne basaba kkooti eyise ekiragiro ekigaana Bashir okuddamu okujja mu Uganda okutuusa ng’emisango egimuvunaanibwa giwedde.

Kkampuni eno ng’ekulembeddwaamu agikulira Eron Kizza egamba nti Uganda yateeka omukono ku ndagaano y’e Roma eyatondawo kkooti y’ensi yonna (ICC) era nga kigikakatako okugondeera ebiragiro byonna ebibeera bisaliddwaawo kkooti eno.

Bashir okukyala mu Uganda yabadde alina okukwatibwa n’aweebwayo mu mikono gya kkooti y'ensi yonna.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Liv1 220x290

Ssente za Pulezidenti zitabudde...

Ssente za Pulezidenti zitabudde aba taxi b’e Kamwokya.

Jip1 220x290

Ekyabadde mu kutuuza Bisopu w'Abasodokisi...

Ekyabadde mu kutuuza Bisopu w'Abasodokisi e Gulu

Mot2 220x290

Muganda wa Ssemwanga naye bamukutte...

Muganda wa Ssemwanga naye bamukutte ku by’okufera ssente

Pak2 220x290

Mike Mutebi ne Misagga bandibonerezebwa...

Mike Mutebi ne Misagga bandibonerezebwa

Web2 220x290

Ne mu kusoomoozebwa tewava ku Katonda...

Ne mu kusoomoozebwa tewava ku Katonda