TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Okuziika omwana wa Nabbaale kwakumalawo obukadde 300

Okuziika omwana wa Nabbaale kwakumalawo obukadde 300

By Joseph Mutebi

Added 19th May 2016

“Mutabani wange tusazeewo okumuziika mu kitiibwa era entaana ye, egenda kukolebwa nga ey’omugenzi Zzimwe era yaakumalawo obukadde 10. Ssente zonna ziweereddwaayo omugagga Mansour Matovu Yanga mmemba wa Kwagalana,” Nabbaale bwe yategeezezza.

Nabbale1 703x422

Bya JOSEPH MUTEBI

OKUZIIKA mutabani w’omugagga Nabbaale eyafiiridde mu Buyindi kuteereddwaamu obukadde 300 okukola ku buli kalonda yenna eyeetaagisa. Nnyina w’omugenzi John Bosco Ssenyomo 33, Muky. Nabbaale yategeezezza eggulo nti talina ky’ayinza kukolera mutabani we okuggyako okumuwerekera mu kitiibwa.

“Mutabani wange tusazeewo okumuziika mu kitiibwa era entaana ye, egenda kukolebwa nga ey’omugenzi Zzimwe era yaakumalawo obukadde 10. Ssente zonna ziweereddwaayo omugagga Mansour Matovu Yanga mmemba wa Kwagalana,” Nabbaale bwe yategeezezza.

Yagambye nti aba Uganda Funeral Services be yawadde omulimu gw’okukola ku by’okuziika nga baaguze ssanduuke ya bukadde 10, ng’eddwaaliro omugenzi mwe yafiiridde lyasasuddwa obukadde 100 nga zaaweereddwaayo ekibiina kya Kwagalana.

Okutambuza omulambo ku nnyonyi n’okukola ku misoso gyonna byakoleddwaako ekitebe kya Uganda mu Buyindi ne ofiisi y’omumyuka wa Pulezidenti Edward Ssekandi nga byamazeewo obukadde 50.

Sarah Nkonge, omu ku bakulidde okulaba ng’abakungubazi balya n’okunywa okutuuka ku Lwokutaano lwe banaaziika e Kalisizo yagambye nti bino byonna byakumalawo obukadde 90, nga baatandise okusaasaanya nga bagula emmere n’enva.

Ebyokwerinda okuli amagye ne poliisi ne kkwaaya ssatu ezinaayimba okubeesabeesa abaku ngubazi, biteereddwaamu obukadde 40.

Mu kiseera kye kimu Nabbaale yagambye nti, enteekateeka z’okukomyawo omulambo gwa mutabani we ziwedde era waakujjira mu nnyonyi ya Ethiopian Airlines nga waakutuuka ku kisaawe ky’ennyonyi e Ntebe ku ssaawa 7:00 ez’emisana olwaleero.

Omulambo gwa kutwalibwa butereevu mu maka ga Uganda Funeral Service e Bukoto gukolebweko okutuuka ku ssaawa 12.00 ez’akawungeezi guggyibweyo gutwalibwe mu Klezia ya St. Javira e Bunnamwaya.

Ku ssaawa 4:00 ez’ekiro ng’okusaba kuwedde, baakumutwala asule mu maka ga nnyina e Bunnamwaya mu Kikumbi Zooni gye banaamuggya ku Lwokutaano bamutwale mu Lutikko e Lubaga basome mmisa n’oluvannyuma bagende okuziika.

OLUMBE OLWASSE OMUGENZI:

Ssenyomo baakizuula nti akwatiddwa obulwadde bwa kansa w’omu byenda mu 2011 era ne bamutwala e Buyindi n’alongoosebwa gye baamusalirako ekitundu ku kyenda.

Mu 2012 bamuzzaayo ne bagamba nti awonye. Mu 2014 yaddayo ate mu 2015 baamugamba nti kansa yamusigalamu era yeetaaga obujjanjabi obw’amaanyi bw’abadde afuna okutuusa okufa.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lev1 220x290

Omuyimbi Abel Chungu Musuka mutaka...

Omuyimbi Abel Chungu Musuka okuva e Zambia ali mu ggwanga.

Bamboowebuse 220x290

Newumbe ekyama yakizuula mu mabanda...

Bwe nalaba amabanda nga mangi ewaffe e Mbale ne nnoonyereza kye nyinza okugakolamu ne nfuna ssente era nazuula...

Roja 220x290

Slick Stuart ne DJ Roja bogedde...

Slick Stuart ne DJ Roja bakafulu mu kutabula ekyuma mu ggwanga balaze ebibafudde ba Dj ab’enjawuulo.

Na1 220x290

Ebya Don Nasser bibi.

Don Nasser bomwonoonedde! akwattiddwa poliisi ku misango gy'obufere.

Mushroomharvestingwebuse 220x290

Asigala awaka lima obutiko weegobeko...

Omukyala akooye okutoolerwako n'okulangirwa ssente z'akameeza weekwate okulima obutiko tojja kwejjusa